TOP

Kaamulali mmutunda bweru ne nfuna ekiwera

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd October 2017

OKULIMA kaamulali mulimu ogusoboka ate nga tegukandaaliriza kuba oluvannyuma lw’emyezi esatu oba otandise okukwata ku nnusu

Kamulali1 703x422

Kibirige ng’apakira kaamulali gw’aweereza ebweru mu bookisi

Leero EDWARD SSERINNYA akuwandiikidde ku Leonard Kibirige nnannyini
Orange Farm esangibwa mu kabuga k’e Kyamuliibwa mu disitulikiti y’e Kalungu, yasalawo okulima kaamulali.


OKULIMA kaamulali mulimu ogusoboka ate nga tegukandaaliriza kuba oluvannyuma lw’emyezi esatu oba otandise okunoga.

Wabula okumufunamu olina okumulima ekiseera kyonna ne kikuwa enkizo okusanga akatale ak’enjawulo akalungi n’akabi.

Leonard Kibirige nnannyini Orange Farm esangibwa mu kabuga k’e Kyamuliibwa mu disitulikiti y’e Kalungu, yasalawo okulima kaamulali ng'omulimu era w’omutuukirako ekiseera kyonna abeera naye.

Kibirige yagambye nti, kino okukituukiriza olina okuba ng’osimba kaamulali mu mitendera n’okwekuuma ng’olina amazzi okusobola okufukirira ekiseera kyonna.

Buli May ye asimba kaamulali ky’ava anoga nga taggweesa.

Okutandika

Nnina taata omuto ng’ono ye yannyingiza mu mulimu gw’okulima kaamulali mu 2000, okuva olwo nzize mmulima buli kiseera, kyokka era okumufunamu olina okuba nti buli budde omulina.

Jjukira nti akatale ka kaamulali kali bweru wa Uganda, era bbeeyi ye esobola okukka bookisi eya kkiro nnya n’ekitundu n’etuuka ku 8,000/-, wabula kino kibaawo ng’ebiseera mu Bazungu si bya bunnyogovu, kyokka obunnyogovu bwe butandika kaamulali bookisi y’emu erinnya n’etuuka ku 45,000/-.

 ibirige ngafukirira kaamulali Kibirige ng’afukirira kaamulali

 

Okukola ssente

Nnina yiika bbiri eza kaamulali, nga zino buli wiiki nzinogamu bookisi 100, mu kiseera kino bookisi ya kaamulali egula 8,500/-, ezo ziba 850,000/- ekitegeeza nti buli mwezi nsobola okunoga bookisi 400 nga zino zivaamu 3,400,000/- kyokka kaamulali ali ku kidibo.

Wabula ng’okutandika ne November agenda kulinnya atuuke ne mu 35,000/- bookisi emu.

Ku mitwalo 85 buli wiiki mu nnimiro weetaaga okuzzaayo emitwalo 25 ku ddagala n’abakozi, ate kaamulali bw’oba olina obudde naawe osobola okwekoleramu emirimu mingi kuba emirimu gye tegyetaaga maanyi mangi nga bwe guli ku birime ebirala.

 ibirige ngasalira kaamulali Kibirige ng’asalira kaamulali

 

Obunene bw’ettaka

Ettaka kwe nkolera ziri yiika nnya, nga kuno nninako emmwaanyi ne Kaamulali n’ebitooke ebitonotono eby’emmere ey’okulya, era omulimu gwange omunene gwa kulima kaamulali ebirala mbikola ng’ennyongereza.

Wabula nnina essuubi okugulayo ettaka eddala nalyo ntandike okulirimirako kaamulali okusobola okwongera okugaziya ennimiro.

 Ennima ey’omulembe Kaamulali olina kusooka kumuyiwa beedi, nga muno amalamu omwezi gumu n’otandika okusimbuliza. Oluvannyuma lwa wiiki ssatu ng’omaze okusimbuliza agenda kuleeta ekimuli, era kasita kijja wayita omwezi gumu n’otandika okunoga kaamulali.

Kasita otandika okunoga ssinga oba osobola okufukirira n’okumuwa ebigimusa osobola okumunoga okumala emyezi 12 n’okusoba.

Kaamulali ng’omaze okumusimba olina okumussaako ekigimusa ekireeta ‘Nitrogen’ kubanga yeetaaga ekirungo kino .

Okugattako omutindo, enkwata n’akatale Sinnatandika kugattako nnyo mutindo ku kaamulali, kubanga olumunoga nga tumuteeka mu bookisi nga bamutwala ebweru kuba eyo gye bamutunda.

Wabula ekikulu wano, y’enkwata ye okuva mu nnimiro kuba olina okukakasa nti aba muyonjo ate tayatiseeko anti bw’ayatika tebamutwala.

Ate tolina kufuuyira ddagala lingi lya butwa kubanga Abazungu tebaagala butwa mu bintu bye balya, ne mu kiseera ng’onootera okukungula eggulolimu tolina kufuuyira nga banaanoga.

Mu kunoga olina okukakasa nti kaamulali ajjirako akakonda, kubanga olwo lw’atayonooneka ng’onoga.

Okukwata obulungi akatale kirungi n’osimba kaamulali mu mwezi gwa May, kuba ojja kutandika okunoga mu August ogenda okutandika November n’okweyongerayo nga Bulaaya bali mu butiti awo aba atabye ng’ofunira ddala ssente.

Wabula wano olina okwerinda n’amazzi kuba bw’otoba nago omanya bigenda kukulema, anti July omusana gumanyi okwaka ennyo n’otoyitawo.

Sizoni eno ofukirira ekiseera kitono n’ofuna enkuba n’ekutambuza ate n’otunda ku bbeeyi nnene.

Okukuuma obutonde bw’ensi Mu kulima kwange sikozesa bigimusa bizungu mu ttaka nkozesaamu ebigimusa ebyaffe ebya nnakavundira n’obusa.

Mu nnimiro ntemamu ensalosalo okulaba ng’ettaka terikulugguka okwo gattako okusimba emiti mu nnimiro yange naddala emituba okusobola okufuna obugimu n’okukola ebisiikirize ebisaanidde.

Weerinda otya ebigwa bitalaze?

Ekimu ku bizibu ebituuka ku kaamulali kwe kukubwa embeera y’obudde, kubanga olufu ssinga lugwa olungi asobola okubabuka wabula mba nfuuyira eddagala eriziyiza ekikome okusobola okumukuuma nga mulamu.

Olw’okuba nga kaamulali talina katale mu bitundu gye tubeera, ababbi kizibu okumubba ate abantu abamulima twemanyi ne mu kutunda tumanyi kati awo ne wataba buzibu ku bubbi.

Omutawaana omulala gwandibadde ku mazzi, naye ago nagakola wadde nze nkwata olupiira ne nfukirira naye nga nsobola okugabunya ennimiro yonna, ebirime byange tebisobola kukala omusana ne bwe gwaka.

 

Basobola okukwesiga okukuwola?

Mbadde sinnafuna buzibu buntwala mu bbanka kwewolayo ku ssente, kubanga amagoba ge nkola nterekako ne nsobola okugakozesa sizoni eddako, wabula sirowooza nti bwe mba njagala kufuna bbanja bagaana okulimpa, kubanga mu kaamulali nnyingiza buli wiiki.

Wabula okusinga nze ebigimusa nkozesa busa n’obukuta obuvudde mu nkoko. Abamu balowooza nti kaamulali tebamusalira, ekyo kikyamu kubanga kasita tomusalira amakoola n’amatabi agamu takuba matabi mangi kwagaagala ate jjukira nti gy’akoma okwagaagala gy’akoma okukuwa kaamulali omungi kuba buli w’osala ekikoola waddawo ettabi ate w’osaze ettabi wasobola okulokawo amatabi mukaaga.

Ekirala kaamulali olina okumuweta nga bw’olaba bwe bakola emmwaanyi okusobola okukuba amatabi amalala, kyokka eky’enjawulo ye omuwetera wansi ku kikolo, olwo n’alyoka akuba amatabi wansi n’ayagaagala.

Kirungi kaamulali okumuwa amabanga ga fuuti 3 ku 3 okuva ku kikolo ekimu okudda ku kirala kubanga kimuwa ebbanga okwagaagala obulungi n’okubala.

Amazzi tteeka ku nnimiro era nange kye kinnyambye okusobola okutwala ebbanga nga mmulima.

Ssinga tofukirira n’olowooza nti ojja kulinda nkuba oyinza okusimba n’egaana okutonnya oba oli awo ne bw’eba etonnye ekuyamba okuba ne kaamulali akaseera katono ate akaseera ako kayinza okuba nga ky’ekidibo.

Okuyamba abalala

Mu Kalungu abantu baali tebalima kaamulali, wabula abakozi abasoba mu 50 nga bakozeeko ewange baavaawo ne bagenda batandika okumulima kubanga bakiraba nga mulimu mwangu ate nga guvaamu ssente mu kiseera ekitono.

Ku kyalo abantu mbawa emirimu kubanga nnina abakozi nga mbakozesa mu kunoga n’okufuuyira, ate ne mu kulabirira ennimiro mbeetaaga.

Ku ffaamu waliwo abakozi basatu abatavaawo, naye mu kunoga n’okufuuyira mba nneetaaga abantu abasoba mu 10.

Abantu abajja ku ffaamu mbasomesa ku bwereere, era bangi bajja ne babaako bye bayiga nabo amagezi ne bagenda bagakozesa okutandika ennimiro zaabwe.

Kyokka nange okufuna amagezi hhendako ku ffaamu z’abantu abalala n’okugenda mu misomo egy’enjawulo egy’ebyobulimi ne nfuna amagezi okwo gattako obutagwa myoleso.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya
DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017.

Abanaavuganya mu mpaka zino bajja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision.co.ug oba 0782006608 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika nakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.

Johnfb 220x290

Njagala alina empisa

Njagala eyeetegese okukola obufumbo, alina empisa n’omulimu gw’obuvunaanyizibwa okuva ku myaka 30 n’okweyongerayo....

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...