Vision Group efulumya Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya DFCU, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2017. Abanaavuganya mu mpaka zino bajja kutuweereza amannya gaabwe ku omulimiasinga@newvision. co.ug oba 0782006608 tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.
Leero EDWARD SSERINNYA akuwandiikidde ku Paul Ssekyewa nnannyini Ssenya Fish Farm esangibwa e Kaswa mu ggombolola ye Kkingo mu disitulikiti y’e Lwengo eyava mu kubala ebitabo n’adda mu kulunda ebyennyanja.
Okulunda ebyennyanja mulimu ogusobola okuvaamu ensimbi kasita oguyiga obulungi, okuguwa obudde n’okusalawo nti ogwo gwe mulimu gwo omanya obiwangudde.
Kino Paul Ssekyewa owa Ssenya Fish Farms, esangibwa ku kyalo Ssenya mu Muluka gw’e Kaswa mu ggombolola y’e Kkingo mu Disitulikiti y’e Lwengo kye yakola okusobola okufuna mu kulunda ebyennyanja n’okubikugukamu n’atuuka ne ku mutendera gw’okubyaluza. Alunda ebyennyanja okuli emmale, engege, emmamba, ebisinja n’ebirala.

NTANDIKA OKULUNDA EBYENNYANJA
Nasomerera kubala bitabo omulimu gwe natandika okukola eyo mu gya 1970 okutuukira ddala mu gya 1980.
Wabula oluvannyuma nakunnyuka ne ntandika okutwala obulimi n’obulunzi nga omulimu gwange ogw’enkalakkalira.
Wabula emabegako nga tulima ebintu eby’enjawulo mu Masaka nga tupangisa ettaka.
Mu kusooka ebintu bye twalimanga mwalimu muwogo, lumonde, emboga, amayuuni n’ebirala.
Oluvannyuma nakizuula nti awaka sikyagula mmere ne ku mulimu abantu be nkola nabo nali mbaguza emmere.
Olutalo lwa Amin Abakomboozi okuva e Tanzania baakuba Masaka n’ennimiro yange ne bagikubiramu bye nali nnimye byonna ne bisaanawo.
Seekubagiza, era nagenda mu maaso n’okulima, wano we nnundira ebyennyanja mu kusooka nali nnimirawo bintu birala, wabula akatundu akalimu ebyennyanja nga sirina kintu kyonna kye nnimirawo olw’amazzi amangi.
Lumu nakyaza mukwano gwange ku ffaamu, bwe yalaba ekitundu kye sikoleramu kwe kumbuuza ensonga lwaki sikikozesa.
Kwe kumuddamu nti awo tewasoboka kuba waliwo amazzi mangi tolina ky’oyinza kulimirawo ne kidda.
Yampa amagezi nti nsobola okusimawo ekidiba ne nnundirawo ebyennyanja, awo we nava okusima ekidiba ekisooka naye nga ssente nzifuna mu bulimi n’obulunzi bw’ente bwe nali nkola.
Bwe namala okusima ekidiba nagenda e Kajjansi awali ezzaalisizo ly’ebyennyanja okulaba engeri gye ngenda okufunamu ensigo y’ebyennyanja, naye nga sinnabireeta nasaba omukugu okujja okulaba bwe nsimye ekidiba sikulwa nga ndeeta ebyennyanja naye ng’ekidiba nkisimye bubi.
Okuleeta omukugu kye nalina okusooka nga sinnasima kidiba, kyokka kye nasembyayo!
Yagenda okujja amazima ekidiba nali nkisimye bubi ate nga sitaddeeko mukutu guyingiza mazzi n’okugafulumya kyali kitegeeza nti ebyennyanja tebijja kusobola kufuna mukka gwa bulamu nga byali byakufa ssinga mbiteekamu.
Kino oluvannyuma yakinkolera era kwe kuleeta ebyennyanja okutandika okulunda. Ate emidumu gino giyambako olumu amazzi nga gafunye ebicaafu ne gabifulumya ng’ate amayonjpo bwe gayingira.
Tekinologiya
Mu kiseera kino ekimu kye tukola kwe kwaluza ebyennyanja, kino kyetaaga tekinologiya kubanga si mulimu mwangu okukola. Weetaaga ekisenge n’ebidiba ebiri ku mutindo okusobola okubyaluza mu nnyumba.
Ekirala tutandise enkola ey’okuteeka keegi ku bidiba nga bw’olaba ezo ezibeera ku nnyanja kubanga tukizudde ng’ebyennyanja ebibeera mu keegi bikula mangu okusinga by’otadde mu kidiba.
Wabula ku ffaamu tukolerawo okunoonyereza ku bika by’ebyennyanja eby’enjawulo okusobola okuzuula enkola yaabyo ssinga abantu babyaluza nga bizinensi.
Endiisa y’ebyennyanja
Kirungi ebyennyanja okubiwa emmere okuva ku ssaawa nnya ez’oku makya okutuuka ku munaana, bw’oba ng’oluddewo koma ku 10. Kubanga mu kiseera kino ebyennyanja biba byagala okulya.
Bw’omala okubiteerako emmere, twala ekiseera obeerewo waakiri eddakiika nga 30, kijja kukuyamba okumanya endya yaabyo, bwe biba tebizze mangu kulya manya nti wasobola okuba nga waliwo obuzibu, kisoboka okuba nga byatolose, baabibbye oba ng’emmere gy’obiteereddeko mbi nga bigizize.
Emmere kirungi okufuna omukugu asobola okugikutabulira n’etuukana n’omutindo, wabula erina okuba ng’ezzaamu amaanyi, ezimba omubiri n’okugumya amagumba.
Okuyamba abalala
Ffaamu eriko abakozi abasoba mu 10, kyokka waliwo abajja ku mirimu egitali gya nkalakkalira okugeza okwerula ebidiba, okuzimba, okuyonja n’emirimu emirala.
Mu kitundu abantu tutandise okubayigiriza okulima ebyennyanja nga waliwo n’ekibiina ky’abalunzi b’ebyennyanja mu Lwengo nga kyava ku ffe.
Abantu ab’enjawulo mu Lwengo n’ebbali wa Lwengo bajja okubasomesa ku nnunda y’ebyennyanja ey’omulembe, tetukoma awo tubaguza obwennyanja obuto, emmere yaabyo n’okubayigirza endiisa.
Kyokka abantu abamu bajja ne bagula ebyennyanja eby’okulya naddala ng’oli yatutegeezezza nga bukyali.

Okubeerawo kwa ffaamu
Ffaamu eno etambuzibwa ku musingi gwa famire, abaana nabo balina omukono mu ffaamu.
Omu akola ku byennyanja ate omulala yinginiya wa ffaamu, kale ebintu bitambula bityo nga ne bwe mba siriiwo ku ffaamu esobola okutambula okwo gattako emitendera gy’abakozi ab’enjawulo okuva ku maneja okutuuka ku basembayo nga bonna bamanyi kye bakola era bakimanyi, si nze mbasasula wabula ffaamu.
Obutale
Obutale olumu kisinziira ku kiki ky’otunda, wano akatale k’ebyennyanja weekali, ate katandikira ku ggwe abirya.
Naye bwe biba bisusse obungi abaguzi bava e Rwanda ne mu mawanga amalala ne bajja ne babigula.

Ensima y’ekidiba
- Naye olukonge luno lulina okuba nga lwa kigero kuba ekitangaala kirina okusigala nga kiyitamu mu mazzi ebyennyanja bisobole okufuna obulamu. Bino ng’obimaze awo oleeta ebyennyanja n’obiteekamu. Nga wayisa ennaku nga nnya ogenda okulaba nga galeese kiragala naye talina kukwata nnyo.
- Olina okuteekako omukutu oguyingiza amazzi, guno gulina okubaako akatimba akasengejja amazzi okuyingira nga tegaliimu bucaafu bwonna, wabula ate ne ku bbali osobola okubaawo n’ebidiba ebisooka okulongoosa amazzi nga tegannayingira mu bidiba bya byennyanja.
- Bw’oba osima ekidiba, oludda oluliko omukutu ogufulumya amazzi walina okuba nga wawanvu okusinga awayingiza amazzi kubanga kiyambako mu kukendeeza amazzi ne gadda wansi ng’oggyamu ebyennyanja nga bikuze. Awawanvu wandibadde ffuuti nga 4 ku 3 ate awampi 2 kitundu ku 3.
- Waliwo engeri ennyangu okumanya w’onoosima ekidiba, funawo ettaka olinyige mu kibatu kyo, likasuke mu bbanga ssinga likomawo nga liri kitole awo sima busimi naye ssinga likomawo likunkumuka awo totawaana wafu.
- Sooka otegeeere oba ekifo w’ogenda okusima ekidiba kisobola okukwata amazzi, si buli kisenyi nti osobola okusimamu ekidiba ky’ebyennyanja, ekisenyi kirina okubaamu olubumbabumba eky’omusenyu totawaana kuba tekisobola kukwata mazzi.
- Obugazi bw’ekidiba busalibwawo ebyennyanja by’oyagala okulunda naye ekidiba eky’omulembe kyandibadde kya ffuuti 150 ku 60 (mita 50 ku 20) kino kisobola okugendamu engege 6000.
- Olina okuteekako omuziziko waggulu okulaba ng’amazzi tegayitako, ssinga tokikola amazzi bwe gayitako ne gadda naddala ng’enkuba etonnye gamalamu omukka ogw’obulamu ebyennyanja ne bifa. Kino kibaawo ku bidiba bingi abamu ne batuuka n’okulowooza nti baabiwadde butwa.
- Ng’omaze okusima ekidiba kyokka nga tonnaleeta byennyanja, sooka wansi oteekeyo Lime w’ekigimusa asobole okugumya wansi mu kidiba. Teekako obukuta obuvudde mu nkoko okusobola okukola olukonge, buno butabule mu mazzi omanseeko oba osobola okukozesa ekigimusa kya DAP, NPK n’ebirala eno eba mmere kuba ereeta obugimu mu kidiba.
- Wabula omuntu atalina mazzi, asobola okulundira ebyennyanja ku lukalu, omuntu asobola okusima obukutu n’abuzimba nga buwanvu ne kiwa omukisa ebyennyanja okuwuga obulungi.