TOP

Ow’emyaka 30 ye mulimi asinga

By Herbert Musoke

Added 9th December 2017

LYABADDE ssanyu jjereere, abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga 2017 nga bakwasibwa ebirabo byabwe wakati mu mizira, obuluulu n’okusaakaanya okuva mu beemikwano n’ehhanda ebyabakwasiddwa Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga.

Bestfarmerawardbenjaminssebaggala81 703x422

Empaka zino z’omulundi ogwokuna zaawanguddwa Isaac Mulinga 30, ow’e Kapchesombe mu disitulikiti y’e Kapchorwa n’aweebwa obukadde 50, Julius Bigabwa 40, owa Biglad Mixed Farm e Kanyanduhu mu town Council y’e Kiko mu disitulikiti ye Kabarore yafunye obukadde 30 ate Tom Anyii 40, owa Taf Assured Mixed Farm ku kyalo Telela mu ggombolola y’e Ngetta mu Lira yaweereddwa obukadde 20.

Empaka zino z’omulundi ogwokuna zaawanguddwa Isaac Mulinga 30, ow’e Kapchesombe mu disitulikiti y’e Kapchorwa n’aweebwa obukadde 50, Julius Bigabwa 40, owa Biglad Mixed Farm e Kanyanduhu mu town Council y’e Kiko mu disitulikiti ye Kabarore yafunye obukadde 30 ate Tom Anyii 40, owa Taf Assured Mixed Farm ku kyalo Telela mu ggombolola y’e Ngetta mu Lira yaweereddwa obukadde 20.

Abalala abaawangudde kuliko; Patrick Bamwise 65, ow’e Mbaale mu ggombolola y’e Buyende mu disitulikiti y’e Jinja, Margaret Mbaga 60, mulimi ku kyalo Runyinya I, Kamurari Northward, Bugongi Town Council mu disitulikiti y’e Sheema, Didi Omeke Justine 40, alimira ku kyalo Okulonyo mu ggombolola ya Lorengchora mu distulikiti y’e Napak, Timothy Jokene Okee 59, ow’e Lagot Lek mu ggombolola y’e Palaro mu disitulikiti y’e Gulu, Racheal Amol 34, e Nabutaka-Gayaza mu Wakiso, Patrick Bakumpe Makanga 34, e Kindulwe-Kabonera mu Masaka ne Robert Ociti 33, ku kyalo Abira mu ggombolola y’e Ajia mu disitulikiti y’e Arua.

Abalala omusanvu bagenda kugabana obukadde 50 ate bonna 10 awamu batwalibwe mu Budaaki okulambula abalimi n’amakolero.

Barbara Kaija, avunaanyizibwa ku bifulumizibwa mu mpapula za Vision group, yagambye nti empaka zino zikoze kinene okutumbula obulimi n’obulunzi mu ggwanga.

“Tuli basannyufu nga Vision group okulaba ng’ekintu kye twatandika kati kifuuse kya ggwanga lyonna nga buli mukutu gw’amawulire kati kutandiseewo ekintu ekyefaanaanyiriza ekyaffe kye tulaba nga kyakuyamba okutwala Uganda mu maaso,” Kaija bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, okukola amawulire g’okukulaakulanya abantu kya buseere nga y’ensonga lwaki abasinga bageewala, kuba empaka z’omwaka guno Vision Group ezisaasaanyizzaako obuwumbi bubiri kyokka buvunaanyizibwa bwa Bannamawulire okusomesa n’okussaawo ebikulaakulanya abantu.

Empaka zino zaategekeddwa Vision Group etwala ne Bukedde ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni y’ennyonyi eya KLM ne bbanka ya DFCU. Abantu 1535 be beetabye mu mpaka z’omwaka guno, kkumi ne bawangula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana