TOP

Nnina obulemu naye nnima emmwaanyi ku yiika 4

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2018

ENJOGERA egamba nti obulema si buteesobola etuukira bulungi ku Yakubu Byuma 39, omutuuze ku kyalo Buyinja–Kikoma ekisangibwa mu Buikwe gy’alimira emmwaanyi.

Wada 703x422

Byuma ng’atudde mu katabe, wano ng’ali mu mmwaanyi ze z’alima. Agamba obulema si buteesobola, kuba alima emmwaanyi n’asinga n’abatalina bulemu.

Bya EMMANUEL SSEKAGGO

Byuma agamba nti, alina yiika nnya era amaze emyaka 10 ng’alima emmwaanyi eza Robusta eza Elite nga mw’aggya ssente ezimubeezaawo n’abantu be.

Byuma ayongerako nti, ebiseera ebisinga abimalira mu nnimiro ng’asalira emmwaanyi n’olumu okugenda ng’alimamu nga bw’ayambibwako abomu maka ge.

Omulimu gwe bino by’agwogerako: Endokwa z’emmwaanyi ezimu bazituwa okuva mu kitongole kya UGACOF, wabula yasangibwa alina emmwaanyi z’alima n’agenda ng’ayongerezaako.

OKULIMA EMMWAANYI

1 Okulima emmwaanyi olina okuba n’ennimiro w’ogenda okuzisimba, tegekawo bulungi ne bw’oba tokabadde kasita osaawawo osobola okuzisimba kuba zo tezirina ntondo nga birime birala.

2 Sima ebinnya nga bigazi bulungi fuuti ssatu ku ssatu n’oluvannyuma oteekemu obusa oba nnakavundira. Ssinga ebigimusa biba bikyayokya osobola okubibikkiramu okumala omwezi nga gumu oba n’okusingawo olwo n’olyoka osimbamu emmwaanyi oluvannyuma nga bimaze okuwolera mu ttaka.

3 Jjukira okufumita omuti wakati mu kinnya, kuba bw’otuuka okusimba, w’osimbula omuti w’oteeka ekikolo ky’emmwaanyi. Wabula ssinga ebigimusa biba byawola dda, osobola okusimbirawo. Endokwa z’emmwaanyi kati zigula wakati wa 300/- ne 500/- okusinziira ku muntu gw’oba oguzeeko, ezo za kika kya Elite; Wabula Cut atandikira ku 1,500/- n’okudda waggulu naye ezo si ze nnima.

4 Emmwaanyi kasita ziwanvuwamu ziwete ng’ozitunuza enjuba gy’egwa olwo zisobole okwokebwa omusana zikube amatabi amalala. Emmwaanyi ssinga toziweta ne zigenda n’ettabi limu kiba kitegeeza nti tezijja kubala mmwaanyi nnyingi kuba tezirina matabi ago.

5 Amatabi agazze, londako asatu (3) ge gaba gambuka okuteekako emmwaanyi. Nga zimaze okukuba amatabi zongere ekigimusa, bw’oba osobola okugula ebizungu kikole, naye obusa bw’oba obulina nabwo tebukola bubi. Ekikwongezaako ebigimusa oba oyagala omuti gufune amaanyi agawanirira amatabi ago.

6. Tolina kuziganya kubaamu muddo era zirimeemu ekiseera kyonna okutuusa nga zikuze n’otandika okusaawamu, wabula mu mmwaanyi oyinza okusimbamu n’ebitooke ebyesudde amabanga ga fuuti nga 20 ku 20.

Ssinga ozirabirira bulungi, buli muti osobola okufunako kkiro 4 ku 5 enkalu awo yiika erimu emiti 450 oba ofuna 2,250 zino ne bw’oba otunze kibooko ku 2,500/- yiika oba ogifunamu obukadde butaano.

Ate eno y’endabirira eya wansi kumpi buli muntu gy’asobola, naye esobola okukuwa okusingawo okusinziira ku ndabirira.

OSOBOLA OKWEMEREZA EMMWAANYI

Waliwo n’enkola endala ey’okweyiira nassale beedi naddala ku muntu alima Elite kuba ye mwangu okumeza okusinga Cut alina entondo mu kumeza obutabi bw’oba osaze.

Okumeza emmwaanyi ofuna ezo ezengedde obulungi, zisekule mu kinu ng’ekigendererwa kuziggyako bikuta.

Zaanikeko emisana ng’esatu n’oluvannyuma oziyiwe mu beedi, olina okuba nga wagitegeka dda mu kifo ekirimu ekittuluze.

W’ogenda okuyiwa beedi kabalawo n’oluvannyuma oyanjale bulungi. Osobola okuyiwa mu layini oba okumansa, bw’oba oyiwa ensigo, kakasa ng’oyiwako ettaka ttono, kuba bw’oyiwako ettaka eringi zikaluubirirwa ne zirwawo okumera.

Bw’omala okuyiwa, bikkako ebisubi. Kasita wayita wiiki emu oba bbiri buba butandise okumera, bubikkule ozimbeko akayumba.

Mu kayumba lekamu emyagaanya omusobola okuyita amazzi n’omusana busobole okukula obulungi.

Kasita ziweza ebikoola mukaaga tandika okuziteeka mu buveera kasita ziweza 12, olwo osobola okutandika okusimbuliza.

Oluvannyuma lw’omwaka gumu zijja kuba zitandise okubala, okufaananako ng’ebirime ebirala n’emmwaanyi tezaagala muddo.

OKUSOOMOOZA

Byuma agamba nti, afuna obuzibu mu kulima emmwaanyi nadala nga zikyali nto kuba zikala naddala ku musana ne zimutawaanya okuzikwasa.

Alina essuubi okusima oluzzi okutandika okufukirira. Wabula olw’okuba nneemereza ezange tekimmenya nnyo, nnyanguyirwa okuzzaamu naye tekitegeeza nti mba sifiiriddwa.

Nnyigirizibwa okulima mu mmwaanyi mu biseera by’enkuba kuba nnima ntudde ku ttaka, naye mba sirina kya kukola kuba nnina okwekolera okuyimirizaawo abantu bange, ate abamu abalowooza nti tulina kusabiriza, ekyo kikyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...