TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Ebigenda okukuyamba okuyita mu musana omwezi ogusigaddeyo

Ebigenda okukuyamba okuyita mu musana omwezi ogusigaddeyo

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd January 2018

Atasobola kubikka nnimiro yonna, waakiri genda ng’obikka ku bikolo ate atalina bisubi, ssima obunnya mu nnimiro okube amazzi nga gatuula mu nnimiro mu kifo ky’okufukirira nga gay­itamu buyisi.

Irrigate1 703x422

Abalimi nga bali mu kufukirira ennyaanya, omu apika pampu ate omulala afukirira.

Bya SANDRAH NAMIRIMU

OKUVA mu December w’omwaka oguwedde, mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo omusana gubadde gwaka.

Naye abafuba okuyita mu musana mu ngeri ey’okufukirira omusana gunaa­genda okuggwaayo nga basekera mu kikonde olw’ebbula ly’ebintu erigenda okubaawo ku ntandikwa ya March.

Ng’oggyeeko omuntu afukirira kati, omulimi atali mu birime bya sizoni naawe waliwo ebintu by’osobola okukola okuyita mu musana nga tegukukosezza nnyo.

Okusinziira ku kitongole ekikola ku mbeera y’obudde ekya Uganda National Meteorological Authority, enkuba esuubirwa okutandika mu makkati ga February, ekitegeeza nti omusana gukyayaka omwezi omulala mulamba mu maaso.

Naye waliwo engeri gy’oyinza okuyita mu musana guno omwezi ogusigadde ne gutakuleka na binuubule bya maanyi.

Meddie Matovu alima enny­aanya ne kaamulali owa Amaica Mixed Farm yagambye nti; Ku muntu eyategeka amazzi gwe njo­gerako, naye ng’okubyemu ttooci gayinza obutakumazaako nga bwe walowooza kuba gaggwaawo ate omulimu gukyali munene.

Bw’oba tewabikka nnoonya ebisubi mangu otandikirewo oku­bikka, kino kigenda kuba kikuy­amba kuba amazzi g’okufukirira gaba galwamu mu nnimiro

 olw’omusana okuba nga gukuba ku bisubi mu kifo ky’ettaka.

Atasobola kubikka nnimiro yonna, waakiri genda ng’obikka ku bikolo ate atalina bisubi, ssima obunnya mu nnimiro okube amazzi nga gatuula mu nnimiro mu kifo ky’okufukirira nga gay­itamu buyisi.

Enkola endala ng’amazzi gakendedde, oyinza okuyimiriza mu pampu kuba enuuna amazzi mangi. Bw’oba olina ebintu ng’emmwaanyi oyinza okusalawo okudda ku bucupa n’oteeka akacupa ku buli kikolo ate ne bwe zitaba mmwaanyi era kakola okukekkereza ku mazzi.

Ate ennimiro bw’eba si ya lusozi osobola okukyusa n’ova ku pampu ey’amafuta n’odda ku y’ebigere ey’okusotta oba ey’emikono, zino zitwala amazzi matono ate okek­kereza ne ssente kuba teweetaaga mafuta kuzikozesa.

Wabula bw’oba waakukozesa bucupa nga butonnya, waggulu olina okukubayo akatuli akajja okusala amazzi gabe nga gaton­nya butonnyi, ssinga tokikola gaba gatiiriika ate awo gaggwaamu mangu.

 ampu etakozesa mafuta nokubikka bikuyamba okukozesa amazzi amatono mu kyeya Pampu etakozesa mafuta n’okubikka bikuyamba okukozesa amazzi amatono mu kyeya.

 

Eri alina amazzi nga gawera, okugeza abali ku myala egi­kulukuta oba ensulo, osobola okukozesa ‘Rain Gun’ ne ziba nga zisaasaanya amazzi mu nnimiro yonna. Kyokka atalina ga nsulo oba agakulukuta eno enkola totawaana, kuba etwala amazzi mangi.

Waliyo n’enfukirira y’okukozesa layini za payipu mu nnimiro nayo ekola bulungi, kyokka yeetaaga amazzi mangi g’osooka okuwanika mu ttanka n’oluvannyuma ne geekomyawo gokka mu nnimiro.

Patrick Baligeya nga mulimi e Buwaya ekisangibwa e Mayuge yagambye nti; Omulimi alina amazzi ayinza obutakosebwa nnyo, wabula atalina mazzi oba agalina naye nga talina busobozi bufukirira oyo y’asinga oku­kosebwa omusana. N’ono waliwo by’asobola okukola okuyita mu musana nga tegumukosezza kinene.

OKUBIKKA

Omuntu alina olusuku, kino kiseera kituufu okuba ng’olubikka anti kijja kuluyambako oku­kuuma amazzi mu ttaka. Ate era mu kiseera kino tolusalira, kuba ssinga olusalira amazzi ge lufiirwa tegaddawo. Wabula waliwo ebintu ebirala by’osobola okukolako amangu n’obaako ky’otaakiriza n’enkuba w’eneekusangira.

N’ebirime ebirala ng’ennyaanya, emmwaanyi n’ebirala osobola nabyo okubibikka.

Wadde ng’ebisubi bitera okutawaanya abalimi okubifuna, naye mu kiseera kino nga bali mu kukungula kasooli tandikira kw’ebyo ebya kasooli gwe wa­simba oba baliraanwa bo kuba abamu babyokya nga tebabiri­naako mugaso.

Tema ensalosalo mu nnimiro yonna, wadde omusana gwaka naye olumu enkuba eyinza oku­tonnyayo ekire, noolwekyo kijja kukuyamba amazzi amatono ago gonna okusigala mu nnimiro.

Bw’okozesa ebigimusa naddala obusa oba nnakavundira osobola okubitabula mu mazzi n’olyoka obiteeka mu ttaka n’obibikka. Wabula birina okuba nga temuli bbugumu kwokya mirandira, ssinga okikola kisobola okukuuma ebirime nga birina obulamu mu musana guno ng’enkuba bw’ejja.

Emiti emisaamusaamu egiri mu nnimiro (bwe gibaamu) togeza kugitema, olw’okuba January abaamu obwavu abamu mumanyi okutema emiti ne mugitunda, to­kikola kuba gye gikwatiridde enni­miro naddala abalina emmwaanyi oba ensuku nga gikola ebisiikirize, omusana bwe gwaka bibaako kye bikuyamba ne bizitaasa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...