TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Ku mmere y’obuweke n’entabule eriwa gye mba ndiisa enkoko ez’ennyama

Ku mmere y’obuweke n’entabule eriwa gye mba ndiisa enkoko ez’ennyama

By Herbert Musoke

Added 22nd January 2018

OKULUNDA enkoko ez’ennyama gumu ku mirimu egizza ssente amangu kuba wakati wa wiiki nnya ku ttaano oba otunda.

Feeds2 703x422

Wasswa maneja wa Jadi Farm ng’alaga enkoko z’ennyama ze balunda ku ffaamu yaabwe.

  Bya HERBERT MUSOKE

OKULUNDA enkoko ez’ennyama gumu ku mirimu egizza ssente amangu kuba wakati wa wiiki nnya ku ttaano oba otunda. 

Naye ng’okukola omulimu guno olina okufaayo ku mmere gy’oliisa enkoko zo anti obeera olina okuziriisa obulungi ne zigejja mangu kuba bwe zitaweza kkiro ze beetaaga tofunamu.

Moses Sabika Kasaato omulunzi w’enkoko ez’ennyama e Kirowooza-Mukono yagambye nti: Omulimu guno ngumazeemu emyaka egisoba mu 10, nga ngezaako ku mmere ey’enjawulo era mu kukola kino nfiiriddwa ate ne mmaliriza nga nfunyeemu kuba kati sikyafiirwa. 

Enkoko ey’ennyama ekisumuluzo okugifunamu mmere, kuba kugiriisa, kasita ekona omanya ssente zo zifudde.

Mu kiseera kino nnina enkoko 2000. Natandika n’emmere ya kutabula na kitiiyo wabula nga njagala okusigala nga nnyongera ku mutindo.

Nneetaba mu misomo n’okukyalira abalunzi abalala ne kkampuni endala ezajjanga okunsendasenda okwagala ntandike okugula emmere yaabwe.

Olw’okuba nakyaliranga bannange, nakkirizanga aba ayagadde okunkyalira ku ffaamu yange. 

 musajja ngatabula emmere ebimu ku bifo mwe batabulira emmmere yenkoko tebiba biyonjo kimala te wansi yemmere yobuweke abalunzi gye batandise okwettanira ennaku zino Omusajja ng’atabula emmere, ebimu ku bifo mwe batabulira emmmere y’enkoko tebiba biyonjo kimala.

NFUNA ‘FORMULA’ 

Bannakenya bampa endagiriro y’okutabula emmere ey’enjawulo ennyo ne gye twalina mu Uganda era abaagirabako baatya nga balaba ya bbeeyi. 

Wabula nze sitya kugezesa era natandika okutabula emmere eno naye ng’eriko omulimu gw’okunoonya ebikozesebwa eby’omutindo.

Kino kyali kikooya ate nga n’ebirungo tebiri ku mutindo, wabula natambula n’emmere eno nga nnungi ddala.

Wakati mu kunoonya eky’okukola, waliwo mulunzi munnange eyambuulira ku mmere ey’obuweke nti ekola bulungi.

Ono yambuulira ekibi ku mmere enneetabulire, olemwa okutabula obulungi ebirungo ne kiba ng’enkoko tezirya birungo byenkanankana.

  Obuzibu obulala abatereka ebirungo gamba nga ccacu, mukene, pamba n’ebirala ebifo byabwe si biyonjo ne kivaako enkoko okulwala n’obutakula bulungi. 

Mu kunoonya emmere ennungi, era nkizudde ng’enkola ey’okuggya kasooli mu nnimiri ne tukongola ne tukuba emmere nkyamu, muno mugenderamu ebicaafu ate olumu n’amayinja g’otosobola kulaba na maaso era bw’otabula emmere enkoko zibirya.

Ekitegeeza nti, kasooli bw’ava   ku bikongoliro olina okumukunguuta obulungi n’avaamu ebicaafu byonna, wabula batono abatunda emmere y’enkoko abakikola anti gy’akoma okukunguuta gy’akoma okusala kkiro.

Okuggyako kasooli akubiddwaamu katono gwe bayita ‘Broken Maize’ oyo aba mwangu okulaba oba muyonjo. Kuba jjukira okuliisa enkoko emmere ennungi ly’eddagala erisinga. 

Ate ku nkoko ez’ennyama, ono omwetaaga nnyo kuba azimba omubiri ate wano obeera oyagala nnyama osobole okufunamu ekinene.  Mu kiseera kino, nadda ku buweke obwa Mpala, kuba yo si yaakutabula okuggyako okuwa enkoko zo ne zirya.

Emmere eno ssinga ogiriisa enkoko zo wakati w’ennaku 23 ne 25 ziba zibulako gulaamu 200 okuweza kkiro ebbiri. 

Emmere eno ebaamu ebirungo byonna ate nga bipimiddwa bulungi ebizimba omubiri, ebigumya amagumba, nkoko zikola amagoba ssinga ofuna emmere etabuddwa obulungi. 

ENGERI GY’OMANYA EMMERE EMBI

Omusenyu kye kimu ku bintu bye basinga okuteeka mu mmere, ssinga ogula emmere y’enkoko. Ddira amazzi ogiteekemu, yisaawo akaseera ogayiwe emmere ejja kuba waggulu ate ekiba wansi guba musenyu awo olabe oba emmere nnungi okuliisa enkoko oba nedda. 

Kyokka ku mmere ey’obukerenda bino teweet¬aaga ku bikola kuba terina ngeri gy’eyingiramu nfuufu. 

Ate Joan Namuddu omulunzi w’enkoko ez’ennyama e Mukono yagambye nti: Nga naakatandika okulunda ng’emmere ngula ntabule, naye nakizuula ng’efiiriza kuba abatunda emmere bagoba kufuna magoba, batono abatayongeramu bintu, okusinga mu mukene oyo bamutabulamu omusenyu. 

Natandika okweguliranga ebirungo omuli mukene, soya, ccacu n’ebirala.

Era ssinga ofaayo okusengejja emmere engule nga ntabule, ojja kusanga mu kkiro 15 z’ogula mujja kubaamu ssatu ku ttaano, olaba nga kikufiiriza   ssente ate n’enkoko ne zitakula bulungi olw’omusenyu ogubaamu.

Ng’abalunzi abalala, nzize ngezesa emmere ey’enjawulo kyokka ng’osobola okulunda enkoko okumala emyezi ebiri ne zigaana okuweza kkiro bbiri abaguzi ne bakudondola! 

Wabula okuva lwe nadda ku mmere ey’obuweke ndabawo enjawulo. Omulongo Dennis Wasswa maneja wa Jadi Farm e Nnama-Mukono, yagambye nti: Balunda enkoko ezisoba mu 10,000 ez’ennyama kyokka ekimu ku bibadde bibasumbuwa y’emmere wabula mu kiseera baatandise okuliisa enkoko zaabwe obuweke oluvannyuma lw’okukizuula nti buzikuza mangu.

Ffe wano enkoko tuzeesalira naye obutafaananako ne luli nga tukyaliisa emmere entabule, enkoko nga zigenda okuweza wiiki nnya nga zizitowa kkiro emu, kyokka kati ziba zizitowa kkiro bbiri n’olumu okusukkamu.

Kino kituyamba okwongera okufunamu anti buli kkiro tugitunda 10,000/- ku ffaamu, enkoko tugitunda 20,000/- okwawukana ne bannaffe abazitunda 8,000/- ku 10,000/- ate olumu nga za wiiki mukaaga! 

mmere yobuweke abalunzi gye batandise okwettanira ennaku zinoEmmere y’obuweke abalunzi gye batandise okwettanira ennaku zino.

 

OMUKUGU AWABUDDE 

Volodymyr Lesniak omukugu ku kutabula emmere y’enkoko era akulira kkampuni ya Mpala Feeds e Mbalala -Mukono yagambye nti: Abalunzi balina okumanya nti by’olunda birina obulamu nga bw’olaba omuntu.

Omubiri gwabyo gwetaaga ebiriisa eby’ennjawulo okulaba nga bikula bulungi ate nga bya mutindo omulundi ddala okwewala endwadde.

Eno y’ensonga lwaki, omulunzi alina okwekwata emmere ya peretisi kuba ekolebwa mu birungo ebirongooseddwa obulungi era nga bya mutindo okutandira enkoko zo okulya emmere ekukudde, erimu amayinja, enfuufu n’ebirala ebiziviirako okulwala.

Emmere ya peretisi era eyamba okukendeeza enkoko okufa okuva ku bitundu 10 ku 100 mu balunzi abaliisa emmere y’obuwunga okutuuka ku bitundu 3-5 ku 100. Kino kitegeeza nti omulunzi ogenda kufuna mu ssente zo z’ossa mu kugula obukoko.

Olw’okuba nti emmere ya peretisi etabulwa ebyuuma by’omutindo ogusingayo, buli kaweke kabeeramu ebirungo eby’enkana ekitegeeza nti tewali egenda kubaako kiriisa ky’etafuna okwawukana n’emmere etabuddwa ebitiiyo ebirungo we biyinza obuteetabula bulungi kubuna mmere yonna.

Emmere eno ekolebwa nga buli mutendera enkoko gw’etuukako gubeera n’emmere yagwo. Kino kiyamba enkoko okukula nga yamaanyi kuba efuna ebirungo n’ebiriisa omubiri gwayo bye gwetaaga okusinziira ku mutendera gw’okukula gw’eriko.  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip1 220x290

Hasan Mubiru alondeddwa ku butendesi...

Hasan Mubiru alondeddwa ku butendesi bwa Katwe United

Naf1 220x290

De Gea agudde mu musimbi

De Gea agudde mu musimbi

Ti1 220x290

Tony Adams agugumbudde Emery

Tony Adams agugumbudde Emery

Kib1 220x290

Sissoko bimwonoonekedde

Sissoko bimwonoonekedde

Jib1 220x290

Eyalwala ekibuno anoonya obukadde...

Eyalwala ekibuno anoonya obukadde 40 okulongosebwa