TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Nzaaza envunyu ne nziriisa enkoko zange okuzifunamu ekiwera

Nzaaza envunyu ne nziriisa enkoko zange okuzifunamu ekiwera

By Musasi wa Bukedde

Added 24th January 2018

EMIRUNDI mingi, abavubuka bajja n’ebirowoozo by’okutandikawo emirimu naye ne beesanga nga balemeddwa olw’ebbula ly’ensimbi z’entandikwa era ebirowoozo byabwe ne bikoma awo.

Nvunyu1 703x422

Bukenya mu nkoko ze ez Kuroiler z’aliisa envunyu z’azaaliza mu bikanja by’omwenge.

Bya Sauyah Namwanje

EMIRUNDI mingi, abavubuka bajja n’ebirowoozo by’okutandikawo emirimu naye ne beesanga nga balemeddwa olw’ebbula ly’ensimbi z’entandikwa era ebirowoozo byabwe ne bikoma awo.

Naye Joseph Bukenya, 24, eyeeyita Ssaabavunyu omuyizi mu mwaka ogwokubiri e Makerere nga mutuuze w’e Gayaza yeenyumiriza mu buyiiya obumuyambye okusala ku ssente abamu ze basaasaanya mu kugula emmere y’enkoko entabule ate oluusi ne batafunamu.

Yasalawo okuyiiya ssente mu ngeri ey’okukozesa envunyu ng’emmere y’enkoko okusobola okukendeeza ku mmere entabule eweebwa enkoko.

Bukenya yagambye nti, yasooka kulunda enkoko 200 ez’amagi okumala emyezi mukaaga n’akizuula nti bonna baali bafuna amagoba agali wakati wa 250,000/- ne 350,000/- ku buli lutunda ng’enkoko aziwa emmere y’enkoko entabule.

“Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga nalaba nga sifunamu okusinziira ku kye nali nteekamu ate bwe nagezaako okwebuuza ku balunzi abalala nga nabo ekintu ky’ekimu kye baliko.

 ukenya ngalaga ekinnya mwateeka ebikanja okuzaaza envunyu Bukenya ng’alaga ekinnya mwateeka ebikanja okuzaaza envunyu

 

Wano we nagendera ku mutimbagano okunoonyereza ku nsi ez’enjawulo engeri abalunzi b’enkoko ab’enjawulo gye bazifunamu. Nakizuula nga mu nsi okuli South Afrika, Budaaki ne China abalunzi b’enkoko bazifunamu nga bakozesa nvunyu era nange wano we natandikira okuzinoonya.

Envunyu n’atandika okuzizaaza mu bikanja by’omwenge bye ngula gye basogolera omwenge mu ba Nile Breweries ku 120,000/-.

Oluvannyuma ebikanja mbitereka mu kinnya kye nazimba obulungi okumala ebbanga lya wiiki ssatu ne ndyoka nsenako ezizze nga nziteeka ku buti obubajje obulinga ttule zisobole okutonnyolokoka amazzi olwo ne nziwa enkoko ng’emmere.

Envunyu zirimu ekirungo ekya puloteyini n’amasavu agatasangibwa mu mmere y’enkoko entabule era ssinga okyettanira ggwe omulunzi enkoko ziva mangu mu kiyumba.

Wabula tekitegeeza nti enkoko toziwa mmere ntabule kuba envunyu zikola nga kirungo, ate emmere entabule erimu ekirungo ekya Carbohydrate nakyo ekyetaagibwa enkoko. B

uli lunaku envunyu ziriibwa omulundi gumu era nsinga kuziwa kawungeezi.

Enkoko ekulidde ku nvunyu ebeera ezitowa era nsobola okugitunda wakati wa 30,000/- ne 35,000/-. Mpeza enkoko z’ekika kya Kuroiler 750 nga nziriisa nvunyu.

 nvunyu ze baliisa enkoko Envunyu ze baliisa enkoko

 

OKUSOOMOOZEBWA

1 Ebbeeyi y’ebikanja erinnya olw’abalunzi b’ente n’embizzi abeeyongera obungi nga nabo babyettanira. Kino okukirwanyisa ngula mu bungi ne nterekako naddala ng’emiwendo gy’ebikanja gisse.

2 Olw’okuba ebikanja biwunya abakozi babeera babyenyinyala ne batakola bulungi, kyokka, nfuba okwogera nabo era batuuka ekiseera ne babimanyiira.

3 Mu biseera by’enkuba amazzi bwe gayiika mu kinnya omuli envunyu ne kijjula nga zivaamu. Ate omusana bwe gubeera omungi era ebbugumu lizigoba munda mu kinnya ne zidda kungulu. Bino, mbirwanyisa nga mbikka ku kinnya okulaba ng’amazzi g’enkuba tegagendamu ate n’omusana nga teguyitirira.

4 Ebinyonyi nabyo bimanyi okukka ku kinnya ne bizirya ate nga bitambuza n’obulwadde.

 ukenya ngakebera ebikanja omuli envunyu byaliisa enkoko ano nga bikyali mu ttule mwabissa okukenenuka amazzi Bukenya ng’akebera ebikanja omuli envunyu by’aliisa enkoko. Wano nga bikyali mu ttule mw’abissa okukenenuka amazzi.

 

5 Ebikanja byennyini byokya naddala ssinga omuntu abirinnyamu n’ebigere ebyereere, naye tufuba okwambala magetisi naddala ng’envunyu tezinnajja.

6 Abakozi abamu mbapangisa okusinziira ku mirimu egiriwo wabula tebalabika. Ng’olese okukola envunyu ng’emmere y’enkoko, okwagala okuweza ssente ngattako okulunda ebisolo okuli embizzi, embuzi, ente, okulima obutunda, amatooke ku yiika bbiri n’ekitundu.

Nsuubira okutandikawo ffaamu ekyaza abantu ne basoma ku byobulimi n’obulunzi, era njagala n’okutandika okuzaaza ensirihhanyi kuba nazo nnungi okuziwa enkoko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Madiinahislamicsskaterekensangi 220x290

Abaakoze obulungi mu bya S.6 bakyajaganya...

Abayizi ba Mirembe Islamic SS Gangu nga bajaganya olw'obuwanguzi bwebatuuseeko mu bibuuzo bya Ssiniya ey'omukaaga....

Conduct 220x290

Kirumira yeeyanjudde ku kkooti...

MUHAMMED Kirumira yeeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Police Standard Unit (PSU) e Bukoto,...

Buzo1 220x290

Omuwendo gw'abawala abatudde S.6...

Janet Museveni minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo yennyamidde olw’omuwendo gw’abayizi abawala abaatudde S6 ogukendedde....

Burn 220x290

Gen. Kayihura ayagala amateeka...

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura asabye okuyusa mu mateeka okusobola okuvunaana muntu akwatiddwa...

Xlarge514749 220x290

Omuzungu eyali ne munne n'afiira...

OMUZUNGU munnansi wa Finland Suvi Linden, eyali ne munne Terasvouri Tuomas Juha Patteri, eyasangibwa ng’afiiridde...