TOP

Abantu bajjumbidde omwoleso gw'ebyobulimi e Namboole

By Benjamin Ssebaggala

Added 16th February 2018

WE ziweredde essaawa emu ku makya ku Lwokutaano, ng’abantu bakwatiridde mu nnyiriri ku miryango egy’enjawulo e Namboole okuyingira omwoleso gwa Harvest Money ogw’omulundi ogwokubiri ogugenda okukomekkerezebwa ku Ssande.

Nmb2525 703x422

WE ziweredde essaawa emu ku makya ku Lwokutaano, ng’abantu bakwatiridde mu nnyiriri ku miryango egy’enjawulo e Namboole okuyingira omwoleso gwa Harvest Money ogw’omulundi ogwokubiri ogugenda okukomekkerezebwa ku Ssande.

Omwoleso gukyagenda mu maaso era nga okugwetabamu osasula 10,000/- okuyingira ate n’omusomo n’osasula 10000/-.

Omwoleso guwagiddwa minisitule y’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi, ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni ya ENGSOL abatuusa tulakita, ekitongole kisolooza omusolo ekya URA, bbanka ya dfcu, Davis and Shrtliff abalina ebyuma ebifukirira, ekisaawe kya Namboole ne gutgekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde.

 bantu nga basimbye ennyiriri okuyingira mu mwoleso gwebyobulimi Abantu nga basimbye ennyiriri okuyingira mu mwoleso gw'ebyobulimi

Omubaka wa Budaaki mu Uganda Henk Van Bakker bwe yabadde aggulawo omwoleso guno yategeezezza nti, ekyabawaliriza okuguteekamu ssente nga baagala okuzibula Bannayuganda amaaso nti obulimi n’obulunzi basobola okubikolanga omulimu ate ne bafunamu ssete.

Bakker yagambye nti, tebakomye kuteekamu ssente kyokka, wabula baalese ne kkampani 12 okuva e Budaaki zisobole okwolesa ebintu eby’enjawulo abantu bye bagenda okulaba n’oluvannyuma baddeyo babikkole basobole okwekulakulanya. Mu kibangirizi ky’Abadaaki mulimu n’emidaali gy’abalimi abazze basing mu mpaka z’omulimi asinga mu myaka gy’enjawulo.

Bakker bino abyogedde asala akaguwa ng’ali wamu n’akulira kkampuni ya Vision Group, Robert Kabushenga n’omusumba wa Lubaga Miracle Center, Robert Kayinja.

Eyasigadde awaka tosaanye kusubwa, ennaku ezisigaddeyo wandibadde obiteekamu engatti okujja okulaba ku bintu eby’enjawulo n’okufuna amagezi .

Omwoleso gwetabiddwaamu abantu aboolesa ebintu eby’enjawulo okuli obuuma obufukirira ate nga bwa bbeeyi ntono, obuuma obugatta omutindo ku by’obulimi naawe k’osobola okwegulira n’okakozesa mu maka go, engeri gy’oyinza okuyungibwa ku butale obw’enjawulo mu Uganda n’ebweru.

 

Okwo gattako abatunda ensigo ez’embala ate nga mpya ku katale, enkoko ez’amagi eziri ku mulembe ate n’ennunda yaazo gattako endiisa, engeri gy’oyinza okulabiriramu embizzi n’okekkereza ate nga ofunamu, ennima y’obutunda ezza amagoba, tulakita ggwe alina ettaka eddene z’osobola okwefunirako ate mu kibanjampola ebyo byonna nkusuniddeko busunizi naawe wetuukire  Namboole olabe.

Ebirala birinde mu Bukedde w’enkya ku Lwomukaaga afuluma leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...