TOP

Ensigo z’oba weekwata okusimba mu sizoni eno

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2018

NGA tusemberedde okutandika sizoni, omulimi nkakasa nga wategeka dda ekifo w’ogenda okulima ng’ekikubulako kye kika ky’ensigo ez’omulembe z’ogenda okusimba.

Azi 703x422

Omukyala ng’alaga abalimi ensigo ez’enjawulo ze balina okwekwata sizoni eno, Baabadde mu mwoleseo gwa Harvest Money e Namboole.

NGA tusemberedde okutandika sizoni, omulimi nkakasa nga wategeka dda ekifo w’ogenda okulima ng’ekikubulako kye kika ky’ensigo ez’omulembe z’ogenda okusimba.

Mu mwoleso gwa Harvest Money ogutegekebwa kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde ogwakomekkerezeddwa eggulo e Namboole, kkampuni ezitunda ensigo zaleese ebika by’enjawulo. Bino byebimu ku bika by’ensigo ezaabadde mu mwoleso n’ekola yaabyo.

KASOOLI WEMA 2016:

ono agumira ekyeya noolwekyo teyetaaga mazzi mangi okukula. Akulira wakati w’ennaku 90 ku 100, yiika osobola okugifunamu ensawo 30-35. Kasooli ono abeera n’eminwe minene ate ng’alwanyisa endwadde ezirumba kasooli.

Super Maize (CKH10773): Akulira ennaku 100 ku 110, nga yiika osobola okufunamu ensawo 35 ku 40, alina eminwe emiwanvu naye si minene nnyo.

Agumira endwadde ez’enjawulo kyokka nga tafa mangu bw’oba omaze okumukungula, assaako eminwe ebiri ku buli kikolo ssinga omulabirira bulungi. Ebika byombi bitundibwa Victoria Seeds.

FH6150: akulira mu nnaku 130, atundibwa kkampuni ya FICA seeds ayagala nnyo ebitundu by’ensozi wadde nga n’abatalimira mu nsozi basobola okumulima. Agumira omusana n’endwadde ezirumba kasooli.

Kasooli ekika kya FH5160 nakyo kikola bulungi, kikulira mu nnaku 120 ku 130 kigumira endwadde n’ekyeya era ssinga osimba yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani 9 ku 10.

Longe 6H: Takwatibwa kirwadde kyonna, akulira ennaku 120. Mu yiika bbiri n’ekitundu musobola okuvaamu ttani 7 ku 10, nga musimbiddwaamu kkiro 25.

Longe 9H: Yafuluma 2009, takwatibwa bulwadde, akulira ennaku 120, mu yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani 8.

Kasooli wa UH6303, ono akola bulungi mu bitundu by’ensozi nga Kapchorwa, Bukwo, Kabale n’ebitundu ebirala.

Akulira ennaku 120, mu yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani 9.

Longe 4: Ono akulira ennaku 100 zokka, tamala galumbibwa birwadde ate agumira omusana.

Longe 5, akulira ennaku 110, mu yiika bbiri n’ekitundu osobola okufunamu ttani 4 ate tamala galumbibwa birwadde.

MM3: Akulira ennaku 90! Mu yiika bbiri n’ekitundu osobola okufunamu ttani ttaano, tamala gakwatibwa birwadde ate agumira omusana.

N’ebika ebirala bingi okugeza Longe 7, UH 615

EBIJANJAALO

Waliwo ebika nga K132 ne NABE 4, nga bino bikulira mu nnaku 80, mu yiika emu osobola okufunamu ttani emu n’ekitundu oba bbiri, nga mu yiika osobola okusimbamu kkiro 100.

OMUWEMBA

Sekedo ne Epuripur, ebika byombi bikulira mu nnaku 100, ate nga bibala. Mu yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani ttaano, mu yiika emu osigamu kkiro munaana.

Omuceere gw’okulukalu okuli NERICA 1 ne NERICA 4, nga guno gukulira mu nnaku 110-120. Mu yiika bbiri n’ekitundu osobola osigamu kkiro 100 n’ofunamu ttani nnya ku ttaano.

SOYA

Soya, Maksoy ne Namsoy bino byafulimizibwa ne biziba eddibu lya Nam I ne II. Maksoy 2N, talumbibwa birwadde, alimu ebiriisa eby’enjawulo, akulira ennaku 105, mu yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani bbiri ku ssatu.

Maksoy 3N, tamala galumbibwa birwadde ate ng’akulira ennaku 100, yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani bbiri ku ssatu. Namsoy 4M, tamala galumbibwa birwadde, akulira ennaku 100. Mu yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani bbiri ku ssatu.

MUWOGO

Ekika kya mm6/4271, ono twakwatibwa birwadde bigengewaza n’okuvunza muwogo okugeza ebigave, mu yiika emu osobola okusimba ebisawo b’emiti musanvu oba munaana ate mu yiika bbiri n’ekitundu ofunamu ttani 35 ku 40.

EBINYEEBWA

Waliwo Red beauty eby’empeke ennene, kyokka waliwo ebika ebirala eby’omulembe okugeza Serenut 1, 2, 3 ne 4, bino bigumira omusana, mu yiika bbiri n’ekitundu osimbamu kkiro 80.

Ebirime ebirala waliwo obulo obwa Pese 1 ne 2, Seremi 1 ne 2 buno bukulira ennaku 100 ate mu yiika bbiri n’ekitundu osimbamu kkiro 4 n’ofunamu ttani 2 ku 3. Ate bugumira omusana.

Entungo, waliwo Sesame 1 ne 2, Sesim 1 ne 2 nga bukulira ennaku 100 ku 110. Waabaddeyo ne lumonde ebika eby’enjawulo okuli kipapaali ono abantu baamwettanidde.

Kikulu okwongera okwebuuza ku mulimisa ng’olima ensigo zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...