TOP

Abalimi bettanidde okugula enkumbi ekozesa amafuta

By Edward Sserinnya

Added 26th February 2018

ABANTU ab’enjawulo batandise okusasula ssente okusobola okwefunira ku kakumbi akakozesa amafuta ne kanguya okulima n’okukoola ebirime eby’enjawulo.

Kakumbi1 703x422

Omukozi ku ffaamu ya Kabushenga ng’alimisa akakumbi akakolera ku mafuta.

Bya EDWARD SSERINNYA
ABANTU ab’enjawulo batandise okusasula ssente okusobola okwefunira ku kakumbi akakozesa amafuta ne kanguya okulima n’okukoola ebirime eby’enjawulo.

Akakumbi kano kaasooka kuleetebwa akulira Vision Group efulumya ne Bukedde, Robert Kabushenga abantu ne bakaagala n’abawa omukisa nabo okukatumya era ng’agenda kukalagiriza China eri abo abanaaba basasudde.

Buli kuuma ka 1,100,000/- ng’osobola okutumya akakoola n’okulima, akakabala oba akasaawa oba bwonsatule okusinziira ku busobozi bwo.

ENSASULA
Ssente zonna zaakusasulwa mu bbanka ku akawunti za Vision Group okuli 8705610690400 mu mannya ga NEW VISION PRINTING & PUBLISHING COMPANY mu bbanka ya STANDARD CHARTERED BANK-UGANDA, ng’eno akawunti ya doola.

Endala nnamba 0105610690400 mu mannya ga NEW VISION PRINTING & PUBLISHING COMPANY, bbanka ya STANDARD CHARTERED BANK-UGANDA eno egendako ssente za Uganda.

Osobola okukozesa bbanka ya STANBIC BANK ku akawunti ya 9030005950421, mu mannya ga NEW VISION PRINTING & PUBLISHING COMPANY egendako ssente za Uganda.

Bbanka y’emu n’amannya ga akawunti ge gamu osobola okuteeka doola ku akawunti nnamba 9030008169453.
Oba okuziteeka ku akawunti 9030008614988 mu STANBIC BANK okwo kugendako Euro.

Oyinza n’okuziteeka mu bbanka ya KCB BANK UGANDA LTD
akawunti nnamba 2201866724
mu mannya ga NEW VISION PRINTING & PUBLISHING COMPANY, kugenda ssente za Kenya.

KCB BANK UGANDA LTD
akawunti nnamba 2201866716
mu mannya ga NEW VISION PRINTING & PUBLISHING COMPANY kugendako ssente za Uganda.
Oba KCB BANK UGANDA LTD, ku akawunti nnamba 2201867879, mu mannya ga NEW VISION PRINTING & PUBLISHING COMPANY kugendako doola.


Bw’omala okusasula ku emu ku ezo akawunti, akakonge ke bakuwadde mu bbanka kaleete awatuukirwa abagenyi ku ofiisi za Vision Group ku luguudo lwa Jinja mu Industrial Area bajja kuwandiika amannya go n’ekika ky’akuuma k’oyagala.

Okulima mu kifo ng’osoose kusaawa, kirungi okusooka okuggyamu ebisubi okwanguyiza enkumbi yaako okutambula ne kalima nga kanguya.

Kangu kaakuyiga, omuntu ne bw’aba nga teyasoma kugenda wala asobola okukayigira mu lunaku lumu n’atandika okukakozesa.

Kasobola okulima yiika olunaku nga kakozesezza liita ezitasukka 4.
Bw’oba okakozesa, okaweeka ku mugongo, n’onyiga omuliro nga otambula bwe kalima.

EBIKWATA KU KUUMA KANO

  • Kakozesa mafuta ga petulooli nga bw’okatabulira ne woyiro, 25 ku 100 woyiro ate 75 mafuta bwe kaba kakola.
  • Kalima muddo nga gukyali muto, bw’ogulinda okukula gukukaluubiriza.
  • Kasobola okukoola ebirime eby’enjawulo n’okulima mu bifo awatali birime.
  • Mu kulima tekakozesa maanyi ga muntu, wabula omuliro okugaliko gwe gukayamba ku katambuza nga kagenda mu maaso.

Okumanya ebisingawo kuba 0782006608.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali...

Katikkiro asoomoozezza Stanly Ntangali ku lulimi oluganda

Hib2 220x290

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi...

Ab'olulyo olulangira bakoze bulungibwansi

Kab2 220x290

Desabre ayogeeyoge kati tulinze...

Desabre ayogeeyoge kati tulinze kawoowo

Deb2 220x290

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo...

Nneekolera ebigimusa okuva mu muddo ogunneetoolodde

Kat2 220x290

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi...

Alunda enkoko ez’ennyama n’amagi weekwate ekirungo kya ‘INTRACO