TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Tocamuukirira na nkuba etonnya, lindako sizoni tennaba kutandika

Tocamuukirira na nkuba etonnya, lindako sizoni tennaba kutandika

By Kizito Musoke

Added 26th February 2018

Ku ntandikwa ya March enkuba ejja kwongera okutaba ate eggumize mu makkati ga April, eggweeyo mu makkati ga June.

Budde1 703x422

Patrick Kisekwa Sonko mu nnimiro gye yabikka okwerinda omusana.

Bya KIZITO MUSOKE
ABALIMI bakubiriziddwa okuba obulindaala n’ensigo ze bagenda okusimba sizoni eno kuba egenda kutandika mu makkati ga March, ne balabulwa enkuba etonnya kati obutabayinula kutandika kusimba.

Bino byayogeddwa Dr. Festus Luboyera, akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera y’obudde mu ggwanga ekya Uganda National Meteorological Authority (UNMA) nga yabadde mu lukiiko lwa bannamawulire ku Media Centre mu Kampala.

Yagambye nti, ebitundu okuli Rakai, Isingiro, Pakwach ne Nebbi bisuubirwa okufuna enkuba entono, ebisigadde byakufuna enkuba ebimala.

Dr. Luboyera yawabudde abalimi abategeka okusimba ebirime ebirwawo okukula ng’omuceere, kasooli, muwogo, omuwemba n’ebirala, okusimba ng’entabye lwe bijja okukula.

Esuubirwa okutonnya okutuuka mu makkati ga June, nga kirungi abalimi okutandika okusima emyala n’okubikka okusobola okukuumira amazzi mu ttaka.

Disitulikiti okuli; Kampala, Kalangala, Wakiso, Masaka, Lwengo, Mpigi, Bukomansimbi, Kalungu, Bukomansimbi, Gomba ne Mityana okuva mu December wa 2017 bafunyeeyo ebire by’enkuba, kyokka yaakunyinyitira mu April wakati.

Nakasangola, Luweero, Kyankwanzi, Nakaseke, Kiboga, Mubende, Sembabule, Lyantonde, Kyotera ne Rakai.

Ku ntandikwa ya March ejja kwongera okutaba ate eggumize mu makkati ga April, eggweeyo mu makkati ga June.
Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma enkuba ya sizoni etandika March, ekome makkati ga June.

Jinja, Mayuge, Kamuli, Iganga, Bugiri, Namayingo, Luuka, Namutumba, Buyende, Kaliro, Busia ne Tororo baakufuna enkuba mu makkati ga March. Ey’amaanyi yaakutonnya ku ntandikwa ya April, ekendeera mu May, eggweeyo June.

Kisoro, Kabale, Rubanda, Rukiga, Rukungiri, Mbarara, Kanungu, Ntungamo, Mbarara, Kiruhura, Bushenyi, Isingiro, Sheema, Rubiriizi ne Kasese wadde ng’enkuba yaakutandiikiriza ku nkomerero ya February, kyokka ejja kutaba mu makkati ga April ate egende nga yeesala mu May, eggweeyo June.

MWERINDE OKUBUMBULUKUKA KW’ETTAKA
Luboyera yalabudde nti, olw’okuba enkuba ejja kubeera y’amaanyi ebitundu ebimu byandibeeraamu okubumbulukuka kw’ettaka abo abaliraanye ensozi.

Abalimi n’abalunzi mu kiseera kino bali mu kukaaba olw’omusana ogwonoonye ebirime. Abalunzi b’ente baawalirizibwa n’okuzitunda ku bbeeyi ey’enseko.

Minisita w’ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Bamulangaki Sempijja yagambye nti, omwaka gw’ebyensimbi guno, Gavumenti egenda kuzimba ebidiba by’amazzi 200 okwetoloola eggwanga lyonna.

Nga kino kigendereddwaamu okuyamba abalimi n’abalunzi okufuna amazzi ge bakozesa mu kufukirira n’okunywesa ensolo zaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe