TOP

‘Mukubirize abalimi okufuna ebya NAADS’

By Herbert Musoke

Added 5th March 2018

ABALIMI n’abalunzi bakubiriziddwa okweyambisa abakulembeze baabwe okusobola okubasakira ebintu ebigabwa Gavumenti wansi w’enkola ya NAADS kibayambe okweggya mu bwavu.

Bya REGINAH NALUNGA NE HERBERT MUSOKE

ABALIMI n’abalunzi bakubiriziddwa okweyambisa abakulembeze baabwe okusobola okubasakira ebintu ebigabwa Gavumenti wansi w’enkola ya NAADS kibayambe okweggya mu bwavu.

Amagezi gano gaabaweereddwa Maj. Ismail Mugerwa, akulira Operation Wealth Creation mu Kyaddondo East mu disitulikiti y’e Wakiso, bwe yabadde ku mwoleso gw’abalimi ogwabadde ku ssomero lya Hormisdallen e Namammonde -Gayaza.

Yagambye nti, abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo be balina obuvunaanyizibwa okukubiriza abantu okwewandiisa mu bibiina by’abalimi basobole okufuna ebintu ebiba bireeteddwa mu bitundu byabwe.

‘Ebintu bingi ebikozesebwa mu bulimi n’obulunzi okuli ensigo, endokwa, ensolo n’ebirala ebireetebwa ku ggombolola wabula abakulembeze bammwe bye balina okutumanyisa abantu abatuufu abeetegese okulima oba okulunda ne tubibawa era be baba tebatubuulidde kitukaluubirira okubamanya’, Maj Mugerwa bwe yagambye.

Yasabye abantu okukomya okwenyooma kuba kino kiremesezza bangi okwenyumiriza mu bulimi n’obulunzi.

Yalabudde bonna abanaazannyira mu bintu ebibaweereddwa baakuvunaanibwa. Yagasseeko nti abantu beemulugunya ku ky’okubaleetera ensingo nga sizoni eyiseeko, n’agamba nti, oluusi ebintu bigabibwa mu budde kyokka abalimi nga tebaategeka ekivaako okubisimba nga buyise ne batandika okwekwasa nti baabifuna buyise.

Nga tebannagenda ku mwoleso, baasoose kulambula ffamu ya Hormisdasc Mukalazi okuli ebika by’embizzi eby’enjawulo era ng’akabuga k’e Kasangati omwaka guno baakufuna embizzi 87 okuva mu NAADS.

Mukalazi yasabye aba OWC okubagulira ekyuma ekitabula emmere y’ebisolo kuba obwetaavu bw’amaanyi mu kitundu kyabwe.

Col. Godfrey Muwanguzi eyakiikiridde Gen. Salim Saleh yagambye nti waliwo enteekateeka ereeteddwa egenda okuyamba okubunyisa amazzi mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo agajja okuyamba ku balimi okufukirira n’okunywesa ensolo zaabwe naddala mu budde obw’ekyeya.

Yabasabye okwongera omutindo ku bye balima n’okulunda kuba akatale weekali naye bangi batunuulira mutindo naddala bw’oba ng’ogenda kutunda ebweru wa Uganda.

Mu ngeri y’emu ekitongole kya NAADS nga kiri wamu n’enkola ya Operation Wealth Creation (OWC) kigenda kuyamba Bannamawulire mu bitogole eby’enjawulo okubawa ebikozesebwa mu kulima n’okulunda nabo okwetandikirawo emirimu mwe basobola okuggya ssente okwongereza ku misaala gye bafuna.

Dr. Robert Kiyini owa NAADS bwe yabadde ayogera eri Bannamawulire ba Vision Group efulumya ne Bukedde, yagambye nti, kino bakikoze oluvannyuma lwa minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja okubalagira okuyamba ku bannamawulire.

“Bannamawulire ab’enjawulo baatuukirira minisita ne bamutegeeza nti nabo baagala obuyambi okuva mu NAADS, bwe batasobola kufunira mu bitundu gye babeera olw’ensonga tebabaayo nga bagenze kusaka mawulire.

Kyokka balina okusooka okusomesa abo abagenda okubasomesa ku gye balina okukolamu obulimi n’obulunzi nga bizinensi ng’ate tebasudde mulimu gwabwe ogw’amawulire era ku Lwokuna lwa wiiki ewedde baasomesezza abakozi ba Vision Group ku bikwata ku byobulimi.

Era oluvannnyuma bagenda kufuna ensigo, endokwa z’ebibala n’emiti, ente, embuzi, embizzi, enkoko n’ebirala.

Dr. Moses Mwesigwa okuva mu NARO, yakubirizza bannamawulire okukyusa engeri gye bakolamu ebintu nga ssente ze bafuna baziteeke mu bintu ebisobola okubakulaakulanya.

Agatha Joyday Gloria omu ku bavunaanyizibwa ku mbeera z’abakozi mu Vision Group yagambye nti, enteekateka eno ejjidde mukiseera ekituufu nga Vision Group etambuza enkola yaayo eya ‘Tutandike’, mw’eyita okukubiriza abakozi okutandikawo bizinensi mwe basobola okukola ne bongereza ku misaala gyabwe. Abakozi abanaafuna endokwa z’emmwaanyi baatandise okwewandiisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...

Tega 220x290

Bazzukulu ba Ssekabaka Ssuuna batabuse...

EBY’ETTAKA ly’e Lubowa ku lw’e Ntebe gavumenti ly’eyagala okuwa yinvesita azimbeko eddwaaliro ery’omulembe byongedde...

Kakiiko 220x290

Abaana ba Muteesa bongedde bwiino...

OMULANGIRA David Wassajja azzeeyo mu kakiiko k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire ku by'ettaka ly’e Mutungo eryali...