TOP

E Namulonge bookya ensigo

By Edward Sserinnya

Added 9th April 2018

E Namulonge bookya ensigo

Nam2 703x422

Omulimisa ng'ayokya ebintu bya kasooli e Namulonge

NALIMA yiika ya kasooli nga nsubidde okumukungulamu ensawo 12, wabula obusaanyi bwamuzinda ne bumulya. Bwe nafuuyira okutaakiriza ku kasooli nafunamu ensawo ssatu zokka! Bwatyo Monica Lule, ssentebe w’ekyalo kya Namulonge Quarters ate nga mulimi wa Kasooli e Busukuma bw’atandika emboozi ku bulwadde bwa kasooli.
 
Bino yabyogedde asisinkanye Bannamawulire abasaka amawulire agakwata ku byobulimi ne ssaayansi ababadde mu musomo ogw’okulongoosa empandiika y’ebyobulimi ogwategekeddwa aba ‘Cornell Alliance for Science’ nga gwabadde ku National crops Research Resources institute e Namulonge  wiiki wedde.

 OKULAMBULA ENNIMIRO

Mu kulambula ennimiro za kasooli awakolebwa okunoonyereza ku tekinologiya ow’enjawulo omuli n’owa Genetically Modified Organisms (GMO), Dr. Godfrey Asea    akulira NaCRRI yalaze obwetaavu obuliwo mu kuyisa etteeka lya National Biosafety okukkiriza ensigo ezinoonyerezeddwaako nga basimbuliza endagabutonde okuva mu birime ebirala okutandika okulimibwa mu Uganda.
 
Mu nnimiro ezaalambuddwa, baasimba kasooli anoonyerezeddwaako ne tekinologiya wa GMO nga ono mu musiri taliibwa buwuka, kyokka eyalimibwamu aliibwa obuwuka ate abalimi gwe basimba agwa mu bika bya Longe ate ye ajoogebwa obuwuka obuli ndiwulira, obusaanyi okwo gattako omusana era nga kyangu omulimi okusimba n’afiirwa omusiri gwonna.
 
Dr. Asea yagambye nti, mu yiika ya kasooli ng’omulimi akozesezza ennima ennungi omuli okusimba mu budde, okukoola, okukozesa ebigimusa yandibadde afuna ttani eziwera omukaaga, wabula ku nsigo eziriwo oli ne bw’aba abikoze afuna ttani bbiri n’ekitundu ku ssatu ate atabikola afuna ttani emu ku emu n’ekitundu ekiraga nto obwetaavu bw’ensigo ennungi bukyaliwo mu ggwanga.
 
Ensigo zaakakasibwa dda abakola okunoonyereza nti zisobola okugumira endwadde era nga kati bali ku mutendera ogwokuna mu kunoonyereza naye kasooli yenna gwe bakungula bamwokya kuba takkirizibwa kutuuka ku balimi nga n’ekifo we bakolera okunoonyereza, baazimbako olukomera tewali wadde emmese eyingirayo.
 
KASOOLI WA WEMA
 
Winnie Nanteza akola ku by’empuliziganya ku pulojekiti eno yagambye nti, kasooli wa WEMA (water efficient maize for Africa), akolebwako okunoonyereza kwa mirundi ebiri, waliwo ow’ekika kya TEGO ono y’ali ku katale ng’ekikulu ku kasooli ono yetaaga amazzi matono okukula bw’omugeraageranya ku bika ebirala ebiri ku katale.

Mu mbeera ng’omusana tegukyaliko budde, ekika kino kirungi eri omulimi kuba omusana ne bwe gumukwata n’afuna enkuba entono tofiirwa kye kimu n’eyasimba ekika ekirala era abalimi abamulimyeko bazudde enjawulo.

 
Omulala owa WEMA anoonyerezebwako wansi wa GMO, naye yazuuliddwa nga takwatibwa bulwadde bwa kasooli bwonna obuliwo wadde okuliibwa obusaannyi naye ono tasobola kutuuka ku balimi okuggyako ng’etteeka erimukkiriza limaze okuyita.
Dr. Asea yagambye nti, ssinga ebbago lino lifuuka etteeka kijja kubatwalira emyaka nga ebiri abalimi okutandika okufuna ku nsigo zino.
 
EBIKWATA KU TTEEKA
 
October 2017, ababaka ba palamenti baayisa ebbago lino ne lituuka ewa pulezidenti okuliteekako omukono okufuuka etteeka, wabula pulezidenti teyaliteekako mukono n’abaako obutundu bw’ayagala balongooseemu naye akakulu kaali okulaga engeri ensigo zi nnaasangwa gye zigenda okukuumibwamu nga ne GMO weeziri.
 
Wabula Dr. Asea yagambye nti, ensigo enkadde zaakusigalawo era n’okuzinoonyerezaako tekugenda kukoma. Ekirala ennoonyereza ku birime byombi byawukana, era essira ku nsigo empya lya kulwanyisa ndwadde ezifuukidde Bannayuganda ekizibu.
 
Nga oggyeeko kasooli, bakoze okunoonyereza ku bitooke ebitakwatibwa kiwotokwa n’obuladde obulala obw’ettooke, muwogo atagengewala ate nga takwatibwa kigave, omuceere, obummonde obutakwatibwa kiwotokwa.
 
Bino byonna tebisobola kutuuka ku balimi era okoma kubirabako tebakukkiriza kufulumya kintu kyonna okutuusa ng’ababaka bayisizza etteeka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala3 220x290

Aba UPDF balaze ebifo bye baakasuuza...

AMAGYE ga UPDF galaze ebifo ebyali eby’omutawaana bye baakasuuza abakambwe ba Al Shabab, gye baasinziiranga okulumba...

Unity 220x290

Ab’e Buvuma batutte NFA mu kkooti...

ABATUUZE abasoba mu 300 okuva mu byalo eby’enjawulo mu ggombolola y’e Buwooya mu disitulikiti y’e Buvuma batutte...

Kalekayihuraindeepthoughts 220x290

Abaserikale batulugunya batya abantu...

AMERIKA olwatadde ekkoligo ku Kayihura, n’atandikirawo okulaajana nti: Baagala kunzita, baagala kunsaanyaawo….....

Nyiiga 220x290

Poliisi esuuzizza ababbi ente gye...

ABASERIKALE ba poliisi ennawunyi basuuzizza ababbi mmotoka y’ekika kya Ipsum nnamba UAT 194J mwe baabadde batambuliza...

Noda 220x290

Mmotoka ya Kitatta nayo eri ku...

ABDALLAH Kitatta we yabeerera omuyima wa Bodaboda 2010, alina abantu naddala aba bodaboda be yanyiiza ne be yakoleranga...