TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Alambuzza balimi banne n'abakwasa ekinyegenyege okulima ennaanansi

Alambuzza balimi banne n'abakwasa ekinyegenyege okulima ennaanansi

By Patrick Tumwesigye

Added 30th April 2018

Kabiito yategezezza omuntu ne bw'alima yiika emu, esobola okumujja mu bwavu kubanga yiika emu ebeeramu ebikolo by'ennaanansi 13,000 kati bw'otunda ku bbeeyi eya wansi 800 buli nnaanansi, yiika ogifunamu 10,400,000 mu myezi 18.

Nana1 703x422

Matovu, ssentebe w'ekibiina kya 'Kulima Bugagga' ng'alaga banne engeru gye bayinza okweyambisa ekirime ky'ennaanansi okweggyako obwavu

ABALIMI abeegattita mu kibiina kya 'Kulima Bugagga' ekyatandikibwawo Meddy Matovu, babanguddwa ku ngeri gye balina okulimamu  ekirime ky'ennaanansi saako n'amatooke okusobola okubifunamu ssente.

Omusomo guno abalimi baagufunye bakyadde ku faamu ya mmemba munnaabwe mu kibiina kino, James Kabiito, alimira Ku kyalo Bugo - Lwemodde mu ggombolola y'e Kyesiiga mu disituliliti y'e Masaka nga ennanansi n'ebitooke abirimira ku yiika 20 be ddu!.

 abiito ngalaga omusiri gwennaanansi zalima Kabiito ng'alaga omusiri gw'ennaanansi z'alima

Kabiito yasomesezza balimi banne engeri y'okulima n'okubala ennaanansi okusobola okuzifunamu amagoba era n'abasaba bamulabireko okusobola okwejja mu bwavu.

 atovu ne abiito nga beekebejja ennaanansi Matovu ne Kabiito nga beekebejja ennaanansi

Kabiito yategezezza omuntu ne bw'alima yiika emu, esobola okumujja mu bwavu kubanga yiika emu ebeeramu ebikolo by'ennaanansi 13,000 kati bw'otunda ku bbeeyi eya wansi 800 buli nnaanansi, yiika ogifunamu 10,400,000 mu myezi 18.

 bamu ku balimi nga batwala ensigo zennaanansi nabo okugezesa Abamu ku balimi nga batwala ensigo z'ennaanansi nabo okugezesa

 

Kyokka olunoga olw'okubiri olubaawo oluvannyuma lw'emyezi mukaaga ng'onoze olusooka, ekikolo kikuwa ennanansi bbiribbiri olwo n'ozitunda 500 ne zikuwa 13,000,000 bw'ogattako ezaava mu lunoga olusooka, ofuna 23,400,000 mu myezi 24 oba mu myaka ebiri.

Ye Meddy Matovu akulira ekibiina kino asabye Bannayuganda bave mu tulo balime kubanga mu ku kulima mwe muli obugagga.

 abiito ngasomesa banne engeri yokulimamu ennaanansi Kabiito ng'asomesa banne engeri y'okulimamu ennaanansi

 

Abakakasizza ng'ekibiina bwe kirina akatale aka wano n'ak'ebweru eri bammemba baabwe abakolagana nabo okuva ku ntandikwa nga tebannasimba olw'okwewala okukungula ebirime ebitakkirizibwa munsi z'ebweru.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda