TOP

Kasooli okumufunamu situnda wa mpeke

By Musasi wa Bukedde

Added 7th May 2018

Kasooli okumufunamu situnda wa mpeke

Lip2 703x422

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Uganda ne kkampuni y’ennyonyi eya KLM okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2018 wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Obulimi obukolanga bizinensi?’ Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gammwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande.

Leero EMMANUEL SSEKAGGO, akuleetedde Joseph Kato 40, omulimi wa kasooli ng’amwongerako omutindo n’atunda obuwunga. Alimira ku kyalo Kasaali mu ggombolola y’e Buwama mu disitulikiti y’e Mpigi.

OMULIMI yenna okufuna mu by’alima alina okuliikiriza ettaka buli luvannyuma lwa sizoni oba waakiri omulundi gumu buli mwaka. Ekirala ekikulu kwe kufaayo okukuuma omutindo gw’ebintu by’okungudde kuba ne bw’ofuna amakungula amalungi n’ogalagajjalira owunzika ofi iriddwa.

 

Egyo gye gimu ku miramwa Kato gy’atambulirako mu kulima n’okulunda ku ffaamu ye eya Kasaali Mixed Farm. Kato mulimi wa kasooli ng’amulimye kati myaka 10 ate bw’amala. Alina yiika 40, ku zino ettaka erya yiika 10 alipangisa ate 30 lirye. Ku kasooli, agattako okulunda embizzi era ng’alina embizzi ezisoba mu 100 ekika kya Large White n’ekibira kya kalittunsi kya yiika 10.

ENTANDIKWA Nali musuubuzi wa kasooli, nga bwe mmala okusuubula mmutwala ku kyuma ne mmusa ne ntunda akawunga. Naye mu 2009 nasalawo okutandika okwerimira omu ku kasooli, nga nkibaze nti nja kufuna ekiwera nga nnyongerako omutindo. Kuba akatale k’obuwunga nali nkalina nga sisobola na kukamatiza.Nasalawo okulunda embizzi okusobola okukendeeza ku ssente ze nkozeseza ku bigimusa, kati sizoni egenda okutuuka nga obubi obuvudde mu mbizzi busobola okummala okukozesa ku yiika 40 ze nnima, kubanga mba mbuterese okumala emyezi mukaaga. Enjuyi zombi zeewagira, kuba ne ccacu ava ku kasooli mmuliisa embizzi ne nzibanja obusa obw’ebigimusa. Bwe mmaliriza okukungula kasooli, ebisoolisooli si biggya mu nnimiro, mbisaawa n’oluvannyuma ne mpisaamu ttulakita ng’ebizingira mu ttaka liddamu obugimu ne mba nga nkozesa ebigimusa bitono mu kusiga.

OKUKOLA SSENTE Kasooli gwe nnina akyali muto, wabula omwaka oguwedde nalima yiika 40. Nafuna kkiro 72,000 bwe nagenda okugabanyaamu kkiro zino mu yiika 40 nga buli emu nagikungulamu ensawo 15 nga buli nsawo ezitoye kkiro 120. Kkiro zino bwe nzikubamu obuwunga, nsobola okufunamu kkiro emitwalo 5 okusinziira ku bulungi bwa kasooli, kale katugambe nti ezo ze zivuddemu, mba nfuna obukadde 90, nga buli kkiro y’akawunga ngitunze 1,800/-, wabula nze nakibala nga yiika ngiteekamu emitwalo 60, kitono kubanga ttulakita yange. Kasooli okuvaamu ssente ekitono wandibadde olima yiika 20 okudda waggulu, wabula asimba ekika wansi oba ojja kufissa kitono.

OKUYAMBA ABALALA Ffaamu eno eyamba abantu naddala abavubuka mu kitundu abafuna wano emirimu egitali gimu. Okugeza nnina abakozi abenkalakkalira musanvu nga mu bano kuliko omufumbi, omukuumi, ddereeva avuga obuwunga n’avuga ttulakita n’omuyambi we n’abakola mu mbizzi babiri, bonna mbasasula. Waliwo abalala abakola okusinziira ku mirimu egiriwo nga okukoola, okuwewa kasooli, abamuttika oba okutikula n’abalala. Bano basukka mu 15 era mbasasula buli lunaku okusinziira ku mulimu oguba gukoleddwa. Ate mu kusiga n’okukoola, nkozesa abasoba mu 20 buli omu mmusasula 7,000/- olunaku. Kale okubaawo kwa faamu eno kuyamba abantu bangi ddala. Ng’oggyeeko abakozi, abantu mu kitundu kyange bafuna akawunga akali ku mulembe anti abasinga bakagula ku nze. Ate abantu bangi bayize okulima kasooli era kati wano mu Buwama kasooli alimibwa mu bungi, ate ne mubagulako. Nagula ttulakita ngipangisa abantu ku kyalo ne mbalimira.

AKATALE Akatale k’akawunga kagazi, ng’oggyeeko bakasitoma bange, ab’amasomero abalala akawunga bakanona ku kyuma ku bbeeyi y’okusuubula. Nguza n’abasuubuzi okuva e Masaka ne mu bubuga obuliraanye

.OKUKUUMA BY’AKUNGUDDE Kasooli mmunuula ng’akaze bulungi ate ne nnyongera okumwanikamu, nkikola bwentyo aleme kukukula. Wabula amutumbaali okwanikibwa galina okuba nga mayonjo kuba eno mmere, abantu n’ebisolo bagirya. Bw’oba osazeewo kutereka kasooli ow’empeke, w’olina okumuteeka walina okuba nga wayisa empewo kyokka nga tewayingiza bunnyogovu. Wansi sookayo obubaawo kw’aba atuula.

OKUKUUMA OBUTONDE BW’ENSI Mu nnimiro, sitema miti kugimalamu, kubanga nkimanyi bulungi nti kino kittattana obutonde bw’ensi. Ate nsimba n’emiti emirala kuba nnina ekibira kya kalittunsi kya yiika 10. Ate mu nnimiro yange nkozesa bigimusa ebiva mu mbizzi tebirina bulabe bwonna ku ttaka. Nakyo kyongera okukuuma obutonde.

OKUBAAWO KWA FAAMU NGA TALIIWO Nnina essuubi nti ne bwe mba siriiwo ffaamu esobola okusigala ng’etambula kubanga, emirimu gyonna ngikola ne mukyala wange era talina ky’atamanyi. Oluusi mmanyi okutambula mu busuubuzi bwange naye emirimu gisigala gitambula ate ekirala nazimba abakozi bange era bakimanyi bulungi nti bizinensi yaffe ffenna era tulina okugikuuma.

Ekirala abakozi abategedde omulamwa kwe tutambulira sitera kwagala kubakyusa okuggyako nga waliwo ensonga kuba bannyamba okunyweza ffaamu yange. Ennima ya kasooli Ennaku zino abalimi ba kasooli tulina obuzibu bw’akasaanyi. Kano nakasalira amagezi nga kasooli olumera nga nfuuyira. Bw’aba yaakamera nga wa bikoola bisatu nfuuyirako Rocket, ate bw’atuuka mu maviivi nga nnyongera. Kino kiba kimala era akawuka kaba tekajja kumulya.

Nga nnaasimba kasooli, nsooka kuyisaamu ttulakita n’egonza ettaka. Ekiddako kuba kutema layini n’okusimba era nga nsimba kasooli ekika kya Longe 10, akulira emyezi esatu n’ekitundu ate ku myezi etaano aba akala. Mu kusimba ndeka amabaanga ga ffuuti bbiri okuva ku layini emu okutuuka ku ndala ate emu kitundu okuva ku kinnya okutuuka ku kirala nga buli kinnya nsimbamu empeke bbiri.

Mu kusimba wansi nsookayo ekigimusa ekyawola n’oluvannyuma ne nsuulamu empeke. Kasooli okumukuuma nga temuli muddo, osaanye okukola emirundi ebiri, muleke akalire mu nnimiro wabula weerinde n’amatundubaali ssinga otuuka okukungula ng’enkuba etonnya. Ate era mu budde bw’okukungula, oluusi biba biseera bya nkuba. BBANKA OKUMUWOLA Bbanka zisobola bulungi okumpola kubanga emisingo ngirina okugeza ebyapa by’ettaka ate mu bbizinensi si kyangu kwewala bbanka kubanga osobola okufuna obwetaavu bwa ssente teziriiwo, era nneewola ne nsasula

 ano ngali mu kyuzimu ku mbizzi zalunda ma ekikuba kasooli Wano ng’ali mu kyuEzimu ku mbizzi z’alunda. ma ekikuba kasooli.

 

OKUKUUMA BY’AKUNGUDDE Kasooli mmunuula ng’akaze bulungi ate ne nnyongera okumwanikamu, nkikola bwentyo aleme kukukula. Wabula amutumbaali okwanikibwa galina okuba nga mayonjo kuba eno mmere, abantu n’ebisolo bagirya. Bw’oba osazeewo kutereka kasooli ow’empeke, w’olina okumuteeka walina okuba nga wayisa empewo kyokka nga tewayingiza bunnyogovu. Wansi sookayo obubaawo kw’aba atuula.

OKUKUUMA OBUTONDE BW’ENSI Mu nnimiro, sitema miti kugimalamu, kubanga nkimanyi bulungi nti kino kittattana obutonde bw’ensi. Ate nsimba n’emiti emirala kuba nnina ekibira kya kalittunsi kya yiika 10. Ate mu nnimiro yange nkozesa bigimusa ebiva mu mbizzi tebirina bulabe bwonna ku ttaka. Nakyo kyongera okukuuma obutonde.

OKUBAAWO KWA FAAMU NGA TALIIWO Nnina essuubi nti ne bwe mba siriiwo ffaamu esobola okusigala ng’etambula kubanga, emirimu gyonna ngikola ne mukyala wange era talina ky’atamanyi. Oluusi mmanyi okutambula mu busuubuzi bwange naye emirimu gisigala gitambula ate ekirala nazimba abakozi bange era bakimanyi bulungi nti bizinensi yaffe ffenna era tulina okugikuuma.

Ekirala abakozi abategedde omulamwa kwe tutambulira sitera kwagala kubakyusa okuggyako nga waliwo ensonga kuba bannyamba okunyweza ffaamu yange. Ennima ya kasooli Ennaku zino abalimi ba kasooli tulina obuzibu bw’akasaanyi. Kano nakasalira amagezi nga kasooli olumera nga nfuuyira. Bw’aba yaakamera nga wa bikoola bisatu nfuuyirako Rocket, ate bw’atuuka mu maviivi nga nnyongera. Kino kiba kimala era akawuka kaba tekajja kumulya. Nga nnaasimba kasooli, nsooka kuyisaamu ttulakita n’egonza ettaka.

Ekiddako kuba kutema layini n’okusimba era nga nsimba kasooli ekika kya Longe 10, akulira emyezi esatu n’ekitundu ate ku myezi etaano aba akala. Mu kusimba ndeka amabaanga ga ffuuti bbiri okuva ku layini emu okutuuka ku ndala ate emu kitundu okuva ku kinnya okutuuka ku kirala nga buli kinnya nsimbamu empeke bbiri. Mu kusimba wansi nsookayo ekigimusa ekyawola n’oluvannyuma ne nsuulamu empeke. Kasooli okumukuuma nga temuli muddo, osaanye okukola emirundi ebiri, muleke akalire mu nnimiro wabula weerinde n’amatundubaali ssinga otuuka okukungula ng’enkuba etonnya.

Ate era mu budde bw’okukungula, oluusi biba biseera bya nkuba. BBANKA OKUMUWOLA Bbanka zisobola bulungi okumpola kubanga emisingo ngirina okugeza ebyapa by’ettaka ate mu bbizinensi si kyangu kwewala bbanka kubanga osobola okufuna obwetaavu bwa ssente teziriiwo, era nneewola ne nsasula

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”