TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga batandise okulambula Budaaki

Abawanguzi b’empaka z’omulimi asinga batandise okulambula Budaaki

By Musasi wa Bukedde

Added 6th June 2018

ABAWANGUZI b’empaka z’omulimi asinga 11, batuuse bulungi mu ggwanga lya Budaaki ne batandikirawo okulambula ebifo omukolerwa bizinensi okubalaga amakubo ne bizinensi ze basobola okwenyigiramu.

Wano 703x422

Abamu ku bawanguzi nga bali e Budaaki. Owookubiri ku ddyo ye Kabushenga akulira Vision Group.

 
Bano abaatambulidde mu nnyonyi ya KLM, abamu ku bassa ssente mu mpaka zino, olwatuuse ku Ssande, balambuziddwa omwalo gwa Rotterdam ogusinga obunene mu Bulaaya. Mu 2017, kwayitako ttani z’ebyamaguzi obukadde 461.
 
Abawanguzi okuli; Isaac Malinga, Julius Bigabwa, Tom Anyii, Justine Didi Omeke, Patrick Bakumpe Makanga, Robert Ociti, Racheal Amol, Timothy Jokkene, Margaret Mbaga, Celia Kansiime ne Jacob Kazindula baawerekeddwaako akulira Vision Group etwala ne Bukedde Robert Kabushenga.
 
Abawanguzi balabirirwa gavumenti ya Budaaki okuyita mu kitebe kyayo mu Uganda era nga baakulambula abalimi n’abalunzi ab’amaanyi mu Budaaki, kkampuni ezikola eddagala, emmere, okwaluza enkoko, ezizaaza ensolo ng’ente n’embuzi, n’ebifo by’obusuubuzi n’obulambuzi.
Abalala abassa ssente mu mpaka zino kuliko bbanka ya DFCU ne kkampuni ya Koudjis abakola emmere y’enkoko n’ensolo.
 
Julius Bigabwa omuwanguzi okuva e Fort portal yeewuunyizza engeri Abazungu gye bakuuma n’okusigala nga bazimba ebintu byabwe kye yagambye nti kusoomoozebwa kw maanyi Bannayuganda kwe balina okulabirako okulaba nga basobola okusigala nga ba maanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Check1 220x290

Ab'e Hoima beemulugunyizza ku nduugo...

GAVUMENTI etandise okutumbula obulimi bw’emmwaanyi mu disitulikiti y’e Kisoro ng’erimu ku makubo g’okutumbula...

Dppyu9fx4aaygnu 220x290

Museveni ayozazyozezza Cranes okuwangula...

PULEZIDENTI Museveni ayozaayozezza Cranes olw’okuwangulira Lesotho ku bugenyi ku ggoolo 2- 0 n’agamba nti alina...

Luba 220x290

Amataba gasse mwenda mu Arua n'e...

ABANTU musanvu bafiridde mugga Enyau ogusangibwa okumpi ne Arua mu West Nile oluvannyuma lw’okwanjaala ne gubatwala...

Wana 220x290

Kadaga agumizza Bannayuganda abali...

SIPIIKA Rebecca Kadaga asisinkanye Bannayuganda ababeera e Switzerland n’abasomooza okuweereza ezimu ku ssente...

Daki 220x290

Nnansi w'olubuto gwe baapacca oluyi...

DOKITA omusajja agambibwa okukuba omukazi omuzaalisa eyali olubuto oluyi ng’amulanga kulagajjalira omulwadde...