TOP

Minisita alondodde ssente za Gavumenti

By Herbert Musoke

Added 13th August 2018

Minisita alondodde ssente za Gavumenti

Pop1 703x422

Minisita Kyambadde (ku ddyo)ng’alambula ekyuma kya Kigezi Tea Highland Co-operation.

GAVUMENTI emaze ekiseera ng’eteeka obuwumbi bwa ssente mu bantu ku mitendera egy’enjawulo okusobola okwekulaakulanya nga muno mw’otwalidde abalimi wabula ng’ezisinga zifudde.

Kino kiwalirizza minisita avunaanyizibwa ku by’obusuubuzi n’amakolero Amelia Ann Kyambadde okutandika okulondoola ensimbi ezisoba mu buwumbi 10 gavumenti ze yawa abalimi b’amajaani mu bitundu bya Kigezi ne Kannungu. Yalambudde aba disitulikiti y’e Kabale, Kisolo ne Ishingiro nga yasookedde ku kitebe kya disitulikiti y’e Kabale n’asisinkana abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo.

Bano baamulombojjedde ebizibu bye bafunye mu kirime ky’amajaani omuli obutafuna ndokwa zimala okuva mu kitongole kya NAADs so nga bwe bagenda mu bakama baabwe babagamba nga bwe baagabira abalimi endokwa ezimala era bwe batalina kizibu kyonna. Ssentebe wa LC5 e Kabale, Patrick Besigye yategeezezza minisita nga bwe waliwo obukuusa obw’ekika ekyawaggulu mu kitongole kya NAADs ekirimba nga bwe kiwa abalimi endokwa z’amajaani kyokka nga teziriiwo.

James Musinguzi Garuga, akulira ekkolero lya caayi erya Kigezi Highland Tea Limited gavumenti mwe yateeka obuwumbi mwenda yategeezezza Kyambadde nti bannabyabufuzi be basinze okugootaanya enteekateeka y’omukulembeze w’eggwanga okubunyisa ekirime ky’amajaani mu kitundu kino.

Yagambye nti wadde ekkolero liwedde si lya kuggulwawo kuba tewali nnimiro za majaani zigenda kuliyimirizaawo so nga bali mu bwetaavu bw’amajaani. Minisita Kyambadde yabagumizza n’abasaba obutaggwaamu maanyi kuba ensonga zaabwe agenda kwogera ne banne bazuule eky’okuzikolera.

Yabagumizza nti, ekitongole kye kirina enteekateeka okukulaakulanya Bannayuganda naddala abalina obukolero obutono ssaako okulondoola ensimbi ezibaweebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabenje3 220x290

JUBAOmu afudde mu kabenje ka loole...

LOOLE ya seminti eyingiridde ey’omusenyu ku lw’e Masaka okukakkana ddereeva omu n’afiiriwo ate abalala 5 ne baddusibwa...

Kleziabobi1 220x290

Bobi Wine atutte famire mu Klezia...

Bobi Wine agenze mu Klezia e Gayaza n’agamba nti agenda kuttukiza okuwakanya omusolo gwa ‘Mobile Money’ kubanga...

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...