TOP

Ekigimusa ekitalina buzibu kiri mu nsiring'anyi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th August 2018

Oluvannyuma lw’okusoma ebyobulimi bye nninamu diguli gye nafunira mu ggwanga lya Amerika, nzize nkola okunoonyereza ku bigimusa ebikozesebwa mu byobulimi ebizungu n’ebyobutonde (organic).

Funa 703x422

Emmanuel Luwemba (omukozi wa Musimenta) ng’alembeka ekigimusa ky’amazzi ekikulukuta okuva mu bibaawo mwe kikolerwa.

Naye newankubadde nali nkola okunoonyereza nange nali nawugulazibwa nga ndowooza nti ebizungu bye bigimusa ebituufu byokka.

Julius Musimenta, omumyuka w’akulira ekitongole kya A.F.I.R.D. agamba nti okuggyako ng’abantu bazuukuse ne bategeera ekigendererwa ky’abakola ebigimusa ebyo ebikolerere naye obulimi bugenda kusaanawo kubanga buli lwe bafuuyira n’ebigimusa ebizungu batta ttaka kwe balimira.

Ky’ova olaba abantu bagamba nti, ettaka likaddiye terikyabaza mmere buli sizoni lyetaaga bigimusa.

Musimenta agamba nti, bwe yakizuula nga bw’okozesa ebigimusa ebyobutonde oba okola kyamaanyi mu kuzza ettaka obuggya nze ne bannange ne tusalawo Mmande August 20, 2018 Bukedde 23 okwesiba ku kunoonyereza ku ngeri ez’enjawulo ze tuyinza okuddaabululamu ettaka lyaffe.

Mu ngeri ze twatunuulira twakizuula nti, enkola y’okweyambisa ensirihhanyi emmyuufu okukola ebigimusa nyangu, tetwala ssente ate ng’ereeta ssente n’okukekkereza ku nsaasaanya.

Ensiring'anyi ne nzikolamu ekigimusa Ebitongore ekya caritas ne ACSA bikoze kinene mu kuyamba abantu okuzza ettaka lyabwe obuggya nga bivuggirira okunoonyereza ku butonde n'ebigimusa eby’obutonde.

Ekigimusa ekikolebwa mu nsirihhanyi kiyitibwa ‘Vermin composite’ ekiyamba ennyo okuzza obugimu mu ttaka.

Ebyetaagisa okukola ekigimusa kino Ekigimusa kino tekyetaagisa bintu wabula ebyo bye tukozesa omuli kasasiro gwe tukuhhaanya awaka, ebintu ng’ebidomola n’amabaafu amakadde.

By’okozesa okutereka ekigimusa Bw’oba osobodde okufuna embaawo, okola ekintu ekyefaanaanyiriza ekibookisi nga eky’ennyaanya oba ekiriirwamu ente, obunene opima okusinziira ku bungi bw’ekigimusa ky’ogenda okukola.

Oba bw’oba ng’ekigimusa ky’oyagala kingi osobola okusima ekinnya nga kya nsonda mw’osobola okuteeka kasasiro omungi.

Enkola y’ekigimusa Bw’omala okufuna ekifo w’ogenda okukolera ekigimusa kyo, ogulayo kkiro y’ensirihhanyi ku 100,000/-. Newankubadde omuwendo ogwo guwulikika ng’omungi naye ensirihhanyi bw’ogeraageranya n’omugaso gwazo ziba ssente ntono nnyo.

Ekisooka ensirihhanyi ezo bw’oba ozirunda mu myezi 3 oba owezezza kkiro 30 nga naawe otandika kutunda.

Ate akatale kaazo weekali kubanga naffe wano tuzigula kuba tulina bingi bye tukolamu ng’emmere y’enkoko, ey'ebyennyanja kubanga twakizuula nti ensirihhanyi erina ekiriisa kyamaanyi n’okusinga mukene gwe tuwa enkoko n’ebyennyanja.

Ebyo nga biwedde, okwata kasasiro n’omuteeka mu kifo kye wateeseteese edda, olwo n’oyiwamu ensirihhanyi zaffe wabula si buli nsirihhanyi nti zikola, waliwo ekika ky’ensirihhanyi ekiyitibwa ‘Red worm’ nga kino twamala kukinoonyerezaako ne tukizuula nti zizaala nnyo ate nga zirya nnyo n’okukula amangu.

Ensirihhanyi ze tukozesa zibeera mmyuufu nga tukola ekigimusa kyaffe. Kyokka kikulu obutateeka bintu ebitavunda ng’obuveera, ebyuma n’ebirala mu kasasiro gw’oyagala okukolamu ekigimusa kubanga kijja kuwa ensirihhanyi obuzibu mu kukyusakyusa kasasiro asobole okuvunda.

Olumala obikkako n’olinda, bwe wayitawo wiiki bbiri obikkulako nga kasasiro atandise okuvunda era omwezi gugenda okuyitawo ng’eyali kasasiro afuuse ttosi kyokka nga tewateekamu ttaka.

Olwo kino kiba kigimusa ate bw’oba nga wakiteeka mu kibookisi eky’embaawo nga kiri ku katandaalo kiba kitandise okuvaamu amazzi agakulukuta.

Awo obeera ofunye bibiri mu kimu kubanga ekyo ekikulukuta kiba kigimusa ky’amazzi ate nga ddagala.

Bwe wayita emyezi ebiri, ekigimusa kiba kiwedde okukola era n’ensirihhanyi zaffe ziba zeeyongedde obungi ng'eyalina kkiro emu otuuse mu kkiro 50 era bw’oba oyagadde osobola okuzitunda oba okuzikozesa ng’emmere y’enkoko n’ebyennyanja.

Ofunayo ekintu ng’ettundubaali oba ebbaati n'olyanika mu musana, olwo n’oddira ekigimusa n’okyanikako, olw’okuba ensiring'aanyi tezaagala musana zijja kudda wansi zonna olwo ekigimusa kisigale waggulu kikuyambe okuziggyamu ate osigaze ekigimusa.

Kino okyanika ne kikala mpola era ekyetaaga omusana gwa mirundi ng’ena ne kifuuka eky’obuweke.

Ku mutendera guno kiba kiwedde ng’otwala mu nnimiro, kyokka nga ffe tukipakira mu busawo bwa kkiro 10 era nga buli kamu kagula 100,000/-.

EKIGIMUSA KY ’AMAZZI DDAGALA

Ekigimusa eky’amazzi ate kyo wano twakyongerako ne kifuuka kigimusa ate nga ddagala, tukitabula n'omusulo gw’ebisolo ng’obumyu n’embuzi nakyo ne tukipakira mu budomola bwa liita ttaano ne tuteeka ku katale.

Ekyewuunyisa ku kigimusa kino tetuteekamu birungo biwangaaza bintu naye tebyonooneka okumala ebbanga.

Ekigimusa ky’amazzi Bwe tukitabula n’omusulo kifuuka ddagala era omuntu alina kukifuuyira ng’akozesa bbomba era afuuyira ku bikoola ne ku kikolo olwo n’afuna omuganyulo.

Ekigimusa kino okifuuyira omulundi gumu mu mwaka era kikola bulungi, akadomola kamu aka liita ttaano kafuuyira yiika emu.

Ekigimusa ky’obuweke Ekigimusa kino okikozesa omulundi gumu buli mwaka era nga bw’oba okipima, okozesa olubatu olw’omukono lumu ne weetoolooza ekimera.

Ffe tetugimusa kimera kyokka, wabula omugaso gw’ekigimusa kino omukulu kuzuukusa ttaka ne lidda bujja kubanga ssinga tukola ekigimusa nga kyakugimusa kimera kyokka olwo kitegeeza buli sizoni tuggya kuba tufuuyira, ate ng’ensibuko ya byonna ly’ettaka, bwe libeera eddungi likuwa n’ebimera ebirungi.

Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture, P.O.BOX 14125 Kampala, Email: acsa.ug@gmail.com, Info@acsaug.org, www.acsaug.org Alina ekibuuzo , genda mu ssimu yo teekamu.

Omulimi, lekawo akabanga sindika ku 6565. oba kuba 0772463220, 0703315757. Nga bwe yabitegeezezza Paul Kakande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa

Reb2 220x290

Atiisatiisa okusobya ku Basisita...

Atiisatiisa okusobya ku Basisita lwa ttaka

Lab 220x290

Looya alaze ekiyinza okumalawo...

Looya alaze ekiyinza okumalawo enkalu z’abagagga ku bizimbe ebikaayanirwa