TOP

Bbeeyi ya kasooli esembayo ebeere ya 700/-

By Sarah Zawedde

Added 21st August 2018

Ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga, ekya Uganda National Farmers Federation (UNFFE) kivuddeyo ku bbeeyi eyateereddwaawo gavumenti okubagulako kasooli gye bagamba nti tebagikkiririzaamu kubanga ebanyigiriza nga tebalina magoba ge bafunako.

Federationwebuse 703x422

Okuva ku kkono ye, Grace Musimami Kezi omwogezi wa UNFFE, Dr. Dick Nuwamanya Kamuganga (pulezidenti w’ekibiina) ne Augustine Mwendya nga baliko bye bannyonnyola mu lukiiko lwa bannamawulire.

 

Ekibiina ekigatta abalimi mu ggwanga, ekya Uganda National Farmers Federation (UNFFE) kivuddeyo ku  bbeeyi  eyateereddwaawo gavumenti okubagulako kasooli gye bagamba nti tebagikkiririzaamu kubanga ebanyigiriza nga tebalina magoba ge bafunako.

“Gavumenti yandibadde eteekawo bbeeyi ya 700/- nga yeesembayo okubeera wansi okusinziira ku bintu omulimi byateekamu ng’amusimba okusobola okukungula kkiro ya kasooli.“ Dr. Nuwamanya Kamuganga, Pulezidenti w’ekibiina bw’agamba.

Kiddiridde gavumeti okuteekaawo 500/-  nga y’ebbeeyi esembayo okubeera wansi kwe bagenda okugulira kasooli ku balimi kyokka nga waliwo ebitundu ebimu gye bamugula wakati wa 150/- ne 300/-.

Agambye nti, “Abalimi baatutukiridde nga beebuuza eky’okukola kubanga ensigo bagigula ku bbeeyi ya waggulu, ebigimusa, abapakasi okumukolamu omuddo, okukungula ku musiri nga n’okumutuusa awaka azitowa.

Twakava mu mwoleso gw’abalimi e Jinja naye kkampuni ezitunda ensigo za kasooli zikoseddwa nga bagamba nti abalimi tebaguze nsigo eno ya kusimba sizoni egenda okutandika kuba tebalina katale.

Era  gavumenti yanyigiriza abalimi bwe yateekawo omusolo ku mitimbagano gy’empuliziganya ng’abamu ku balimi baabagobako  kyokka nga kuno baafunirangako obubaka obukwata ku byobulimi n’obulunzi. Abalimi bangi baali bateeka obwesigwa mu babagulako ebirime byabwe oluvannyuma lw’okubitunda ne babaweereza ssente ku ssimu. Kyokka bino byonna bikalubye kubanga ssente ze babasalo mpitirivu.”

Augustine Mwendya, akulira ekibiina kino agamba nti, kasooli y’emu ku mmere esinga okuliibwa mu ggwanga ng’ekozesebwa ebisolo n’abalimi ate ng’ekozesebwa ne mu makolero nga teyeetaaga kugayaalirirwa.

Tuli mu kusoomoozebwa kubanga embeera eno enyigiriza abalimi abamugula na bamukozesa.

Grace Musimami Kezio, omwogezi w’ekibiina kino agamba nti kyandibadde kirungi ssente ezigula kasooli gavumenti okuziyisa mu kibiina kyabwe kino kubanga abalimi abatuufu beemanyi bulungi nga kyangu okutuuka ku balala.

Wabula baasabye abalimi okweyambisa sitoowa zaabwe ezeesudde mu bitundu eby’enjawulo okubayambako okutereka kasooli waabwe nga bajja kusasulayo ssente ntono ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.