TOP

Kkiro 100 eza kibooko zivaamu kase wa mitwalo 30

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2018

Nasooka okusuubula emmwaanyi, mu 1995 ne ngattako okuzirima era omulimu guno ne kitaffe gwe yali akola. Taata bwe yafa, na­salawo okutwala.

Tooke1 703x422

Ebitooke osobola okubisimbamu emmwaanyi n’ennaanansi.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde, ek­wataganye ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Ugan­da, kkampuni y’ennyonyi eya KLM ne Koudjis Nutrition BV, okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2018 wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Obulimi obu­kolanga bizinensi?’ Abanaavu­ganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gam­mwe tubatuukirire tubawan­diikeko buli Mmande. AMON MUKASA kuleetedde Hajji Umar Dumba omulimi w’emmwaanyi e Nakifuma.

 

EKY’ENJAWULO

OKULIMA emmwaanyi nga tosobola kugattako mutindo, okuzifunamu kijja kubeera kizibu. Kisaanye okunoga emmwaanyi n’ozaanika ne zikala bulungi n’ozitwala ku kyuma ne bazisun­sula n’olyoka otunda kase.

Hajji Umaru Dumba omulimi w’emmwannyi mu kabuga k’e Nakifuma-Naggalama mu waadi ya Makukuba mu Mukono emiten­dera gy’emmwaanyi z’alima, ku yiika 20 azituusa ku mutendera gw’okuzisunsula era alina ekyuma ekintu ekitatera kusangika mu balimi ba mmwaanyi.

 

OKUTANDIKA

Nasooka okusuubula emmwaanyi, mu 1995 ne ngattako okuzirima era omulimu guno ne kitaffe gwe yali akola. Taata bwe yafa, na­salawo okutwala.

Nga nkola omulimu guno, nzize nga nfuna emisomi ku nnima ey’omulembe naddala ku ggom­bolola e Nabbaale ne mu byalo byaffe.

Emisomo gino mwe nategeerera emmwaanyi za kolono era ne ntandika okuzirima kubanga zo zirina enkizo ku zino ezitali za kolono mu kubala.

 ajji adru ku ddyo ngatunuulira omukozi asunsula emmwaanyi Hajji Badru (ku ddyo) ng’atunuulira omukozi asunsula emmwaanyi.

 

 

OKUSIMBA EMMWAANYI

Nsimba emmwaanyi za kolono ‘cut’ nga zino zimezebwa okuva ku butabi.

Ng’omaze okusimba, emmwaanyi ng’omaze okuzisimbamu olina okuziwembera kubanga ziba zitya omusana nga bw’otakikola zisobola okukala. Bw’oba olina obusobozi obufukirira oyinza okufukirira ate bw’oba tosobodde oyinza okukozesa obucupa oba okuteeka amazzi mu kaveera n’ofukirira n’osobola okukwasa emmwaanyi obulungi naddala mu biseera eby’omusana.

Mu kulabirira olina okukuuma ennimiro nga temuli muddo n’obutabi obuwawaagula ku mmwaanyi okusobola okutangira obulwadde.

Buli lw’olaba ng’omuti gulinga oguwotoka ogwo gwanguyire ogutememu n’okusigula ekikolo okusobola okuziyiza akawuka okugenda ku bikolo ebirala.

 

OKUKUNGULA

Oluvannyuma lw’emyaka ebiri n’ekitundu emmwaanyi ebeera etandise okutaba. Bw’oba onoga nogyolamu ezengedde zokka, towulula ng’onoga emmwaanyi kubanga bw’oziwulula teziddamu kubala awo w’oba owuludde ate azinojjola zibala akatabi konna sizoni eddako.

Ng’omaze oku­noga, zaanike mu kifo ekitayingi­ramu mazzi ate si ku ttaka. Oyinza okuzaanika ku ttundubaali oba mu luggya olwa seminti.

 

Tolina kuz­ituuma kubanga buli lwe zikukula zivaako oku­kola emiwuula emiddugavu (black bean) kino kikufiiriza ssente ate okukula obu­lungi tebakusala mazzi. Twala eky’okulabirako ky’omuntu eyakwata obu­lungi emmwaanyi n’atwala kkiro 100 eza kibooko ku kyuma, n’afunamu kase 60.

 

Ekitegeeza ssinga otunda kase ku 5,500/- obeera ofuna 330,000/- ate atunze ku 2000/- kkiro ya kibooko n’afuna emit­walo 20, ne bw’oba oggyeeko 20,000/- egy’entambula n’ekyuma era osigala omusinga emitwalo 11, ssinga oba watwala ensawo 100 ku kyuma olwo oba ofisizza mmeka?

 

Jjukira wano n’obukuta buba bwange era mbuzza mu nnimiro enkizo y’okubufuna eyatunda kibooko aba tagirina. Abalimi abamu bakaluubirirwa okutwala emmwaanyi ku kyuma nga ssekin­noomu, wabula ssinga beegatta ky­anguwa kuba emmwaanyi zibaawo nga nnyingi ezigenda ku kyuma.

 

OSOBOLA OKUSIMBA EMMWAANYI N’EBITOOKE

Abamu balowooza nti tosobola kulima mmwaanyi n’ozigatta mu bitooke ng’okola bizinensi, eno endowooza nkyamu kubanga kisoboka wabula olina okumanya engeri ennungi gye bakikolamu.

Mu mbeera eyaabulijjo ng’osimba ekitooke oleka amabanga ga ffuuti 10 ku 10 okuva ku kikolo ekimu okutuuka ku kirala. Naye wano ogenda kuleka amabanga ga ffuuti 15 ku 15. Oyinza okusookamu ebi­tooke oba emmwaanyi. Katugeze osoose kusimba bitooke, buli makkati g’ebitooke bina, simbawo ekikolo ky’emmwaanyi.

Mu kusimba, osima ekinnya kya ffuuti bbiri n’ekitundu okukka wansi n’oteekamu nakavundira olwo n’okireka okumala wiiki ssatu okusobola okuwola, naye wakati lambawo n’omuggo kubanga awo w’ogenda okusimba endokwa y’emmwaanyi. Kino kikulu kubanga wakati ffuuti 15 we ziwerera.

 

OKUSOOMOOZEBWA

Obulwadde bwa coffee twig borer bwe bakazaako erya ‘katabi’ buno bukuba obutuli mu butabi bw’emmwaanyi ne buzirya ne zikala obutabi.

Tugezaako okufuuyira n’;okwokya naye era tebugenda.

Wabula abakungu mu UCDA bagamba nti,okulwanyisa akawuka kano obulungi ne baliraanwa bo balina okufuuyira ennimiro zaabwe.

 ajji umba ngalaga ezimu ku mmwaanyi zakungudde Hajji Dumba ng’alaga ezimu ku mmwaanyi z’akungudde.

 

 

EKITUNDU KIGANYUDDWA

Nnina abakozi 30, kuliko 16 bankalakkalira ate 14 bajja okusinziira ku mirimu egibaawo naddala okunoga n’okwanika emmwaanyi. Ntegeka emisomo ku nnima y’emmwaanyi mu kitundu ne tuyita abalimi nga nkwatagana n’abakugu okuva mu minisitule y’ebyobulimi ne tubabangula era nze omu ku bali ku kakiiko akagenda kasomesa abalimi b’emmwaanyi mu ggwanga engeri gye balina okukungulamu emmwaanyi nga ya mutindo.
 
OKUKUUMA EBITABO
Okuva lwe nnasimba emwaanyi, buli kimu nkiwandiika. Kubanga omulimu tosobola kugufunamu nga tolina bitabo. Ku nnimiro nninawo omuntu abala ebitabo by’emmwaanyi ezikungulwa ne ssente z’ekyuma ekizisunsula.
Ate ebitabo kye bibeeredde ebirungi, omuntu abibala ne bw’aba taliiwo kyangu omulala okutandikirawo ate ne watabaawo kutaataagana kwonna mu mbala yaabyo. Okukubba nakyo kiba kizibu kubanga omanya emmaali eyingidde n’efulumye ne watabaawo kukubuzaabuza.
 
BYE NFUNYEEMU
1. Nzimbye ekyuma ekyokubiri e Nakifuma ekisunsula emmwaanyi.
2. Nnina abaana munaana abamaze abalina diguli, mbaweeredde ku mwaanyi.
3. Naguzze ettaka e Namanve mu Industrial Area tugenda kutandika
kuzimba kyuma ekisunsula emmmwaanyi.
4. Nnina yiika z’ebitooke12, Ez’ennaanansi12, kasooli 12, Kalittunsi 12, n’ebirala.
5. Okuzibula abantu amaaso nakyo nkyenyumirizaamu okwo gattako okufuna emikwano eginzimba mu mulimu guno.

 


 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namatambaga1 220x290

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa...

Muwala wa Katikkiro Mayiga agattiddwa ne kabiite we mu kitiibwa

Kiru10 220x290

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe...

Abavubuka mwagale nnyo ensi yammwe nga Kirumira bwe yakola - Bobi Wine

Twa 220x290

Museveni agguddewo olutalo oluggya...

PULEZIDENTI Museveni atongozza kaweefube ow’enjawulo agenderera okumalirawo ddala Siriimu omwaka 2030 we gunaatuukira....

Many 220x290

Eyazadde abaana 5 omulundi gumu...

Honoranta Nakato, 44, abaana yabazaalira mu ddwaliro lya Women’s Hospital ,International and Fertility Centre e...

Dpn6kdew0aa2dy 220x290

Putin asuubizza okuyamba Uganda...

PULEZIDENTI wa Russia, Vladimir Putin, akubagizza Uganda olw’okufiirwa abantu abasoba mu 46 abaabuutikiddwa ettaka...