TOP

Yiga okukola eddagala eritta ebiwuka mu lunaku lumu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th September 2018

SIROWOOZA nti waliwo omuntu ayinza okwenyigira mu bulimi n’abulwa enva oba emmere mu maka. Kino kikolaa omuntu ne bw’aba abeeraa mu kifo ekifunda k’abe oyo atalina w’alimira wabula ng’asobola okulimiraa mu bikebe.

Enva 703x422

Matovu ng'alaga sukumawiiki gw'alima mu luggya.

Bya PAUL KAKANDE
SIROWOOZA nti waliwo omuntu ayinza okwenyigira mu bulimi n’abulwa enva oba emmere mu maka. Kino kikolaa omuntu ne bw’aba abeeraa mu kifo ekifunda k’abe oyo atalina w’alimira wabula ng’asobola okulimiraa mu bikebe.
 
Asumpta Matovu omutuuze w’e Nkumba mu ggombolola y’e Katabi-Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso yagambye nti, mulimi alimira mu ngeri ey’okukuuma obutonde, nga yeekolera eddagala ly’afuuyira ku birime n’okubigimusa ng’alikola mu middo egimwetoloodde.
 
Matovu agamba nti, yali takimanyi nti omuntu asobola okulima ebintu nga teyeyambisiza ddagala zzungu oba ebigimusa ebizungu okutuusa lwe yafuna omusomo okuva mu Caritas-Kampala ne bamusomesa ku ngeri gy’ayinza okukola ebigimusa n’eddagala ly’ebirime okuva mu muddo.
 
“Bwe nayita ne ntandika okulikola, nasooka kuliguzanga balimi bannange ku kyalo naye kati lye nkola nze ndyekozeseza mu nnimiro zange naddala zino eziri wano mu luggya wabula kye nasigaza kwe kusomesa abantu ab’enjawulo okulikola” Matovu bw’agamba.
 
Abantu be nsomesa bava mu bitundu eby’enjawulo. Awaka nazimbawo ebibiina mwe nsomezesa abalimi ne mbaggyako ssente entonotono ate abamu ekitongokle kya Caritas nga kikolaganira wamu ne ACSA be babaleeta.
 
OKUKOLA EDDAGALA
Weetaaga evvu, lino olipima okusinziira ku nnimiro gy’ogenda okufuuyira, okuhhaanya ebika by’emiddo egy’enjawulo okuli ssere, kawunyira, kafumbe, ebbombo kaamulali, cuucu, kibugga, kamyu n’eirala emikambwe. Muno ogattamu amazzi n’omusulo gw’ensolo oba ogw’abantu (guno gulina okuba nga guwoze).
 
Emiddo sooka ogikunye gizaale omubisi, koona kaamulali bw’agonda omuteeke mu mazzi n’oyiwemu evvu ly’olaba nti lya kigero otabule mu mubisi ogwavudde mu middo.
 
Bw’omaliriza okutabula obulungi osobola okukozesa eddagala eryo okufuuyira oba okwongeramu ku musulo n’ofuuyira.
Bw’oyongeramu omusulo oteekwa okuddamu okulitabula ne linoga bulungi.
 
OKUFUUYIRA
Eddagala lino mu buli liita 20 ez’amazzi oteekamu liita ttaano ez’edagala n’ofuyira. Osobola okufuuyira nga weeyambisa ebbomba oba osobola okukwata akeeyeyo ku muntu alina ebirime mu luggya. Likolanga ekigimusa ate ng’ekiseera kye kimu ddagala eritta obuwuka obulumba ebirime.
 
Oluvannyuma lw’essaawa nga munaana ng’omaze okufuuyira ssinga weetegereza obuwuka obuba bwabaddewo bwonna buba bufu. Ssinga buba busaanyi nga
bwe bubadde bulya ebirime byo nabwo tebuddamu kubirya.
 
EKIGIMUSA
Okwanguyirwa okukikola olina okuba n’ebisolo ebiyinza okukuwa obusa okugeza embizzi oba ente. Kuba buno ate bw’obukuhhaanga ne buwola bulungi busobola okukolerawo ekigimusa ky’oteekerawo ku kirime oba okusimbisa ate ne kikola.
Engeri endala oyinza okusooka okubuterekeko ennaku nga 14. Nga ziweze otabulemu omuddo guli waggulu guvundiremu okumala ennaku 21 onoogenda okubibikkula nga bikoze ekigimusa ekirungi.
 
Ebirungi ebiri mu ddagala Caritas lye yanjigiriza, kyangu okulikola ate osobola okulikola nga totaddeemu wadde ennusu.
Advocacy Coalition for Sustainable Agriculture, P.O.BOX 14125 Kampala, Email: acsa.ug@gmail.com, Info@acsaug.org, www.acsaug.org
Alina ekibuuzo , genda mu ssimu yo teekamu. OMULIMI, lekawo akabanga sindika ku 6565. oba kuba 0772463220, 0703315757.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gab1 220x290

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku...

Omwana agambibwa okubuzibwawo ku lwomukaaga atadde bazadde be ku bunkenke

Man2 220x290

Ebireetera omusajja okusuulawo...

Ebireetera omusajja okusuulawo omukazi gw’afunyisizza olubuto

Deb1 220x290

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’...

Ebivaako ‘kaseti’ okugaaya‘tteepu’ n’egiremeramu

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina