TOP

Akatale k’obumyu kagguse

By Herbert Musoke

Added 24th September 2018

OBUMYU kimu ku bintu ebirimu ssente wabula abalunzi abamu bagenze babuvaako okubulunda olw’akatale akatono bwe bulina mu ggwanga.

Myu 703x422

Abalunzi b'obumyu mu musomo.

 

 Bya HERBERT MUSOKE

OBUMYU kimu ku bintu ebirimu ssente wabula abalunzi abamu bagenze babuvaako okubulunda olw’akatale akatono bwe bulina mu ggwanga.

Maggie Lukowe omukwanaganya w’emirimu mu kibiina ky’abalunzi b’obumyu eya Buck & Doe Ltd, yagambye nti, akamyu kamu kasobola okuwa omulunzi obukadde 14 omwaka kyokka olw’obutamanya nkola ntuufu mulunzi gy’azibukolamu bangi baabulekera baana.

“Okuyita mu nkola y’okukola endagaano n’abantu abagenda okutugulako, tusuubira nti abalun­

nnyanja zi tebagenda kud­damu kufiirizibwa olw’okubaawo kw’akatale”, Lu­kowe bw’agamba.

Abakungu oku­va mu kibiina kino bwe baabadde basisinkanye ab­alunzi b’obumyu okuva mu bitundu eby’enjawulo ku wooteeri ya Jevine e Lubaga, Lukowe yagambye nti, abalunzi bonna abaagala okwe­gatta mu kibiina, bagenda kusooka kusomesebwa n’oluvannyuma basse omukono ku kiwandiiko ky’okukolagana n’ekibiina kino.

“Ekibiina kino kikolera mu mawanga agasoba mu munaana mu Afrika okuli Tanzania, Zambia, South Africa, Nigeria ng’ekitebe ekikulu kiri Kenya, kigenda kusomesa abalunzi, okubafunira abakugu okuzimba ebiyumba n’okubafunira obumyu obw’olulyo”, Lukowe bw’agamba.

Moses Mutia (Mr. Rabbit) okuva e Kenya, yagambye nti, obumyu bulina akatale mu nsi yonna wabula olw’obutamanya kituufu kirina kukolebwa, bangi ababulunze balemeddwa okubu­funamu. Ono era yakakasizza nti akatale kagenda kubaawo ate nmg’ebbeeyi egulwa nnungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo