TOP

Ntunda nnyama okufuna ekiwera mu nte

By Herbert Musoke

Added 8th October 2018

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde, ekwataganye ne bbanka ya dfcu, ekitebe kya Budaaki mu Uganda, kkampuni y’ennyonyi eya KLM ne Koudjis Nutrition BV, okunoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2018 wansi w’omulamwa ogugamba nti ‘Obulimi obukolanga bizinensi?’ Abanaavuganya mu mpaka zino mujja kutuweereza amannya gammwe tubatuukirire tubawandiikeko buli Mmande. HERBERT MUSOKE akuleetedde Jackie Davis Tugume, ku kyalo Buhanga mu ggombola y’e Banda e Kyankwanzi.

Wata 703x422

Tugume ng’atunuulidde ente ze nga zinywa amazzi.

EKY’ENJAWULO

NGA bizinensi endala, okulunda nakwo kwetaagamu obuyiiya lw’okufunamu ekiwera. Nasalawo okukola bizinensi mu bulunzi abantu abalala gye babuusa amaaso.

Ngula ennyana ennume ne nzitwala ku ddundiro ne nzikuza n’oluvannyuma ne nzitunda ye bizinensi enkoledde ssente era nga mu kiseera kino natandiseewo omudaala gw’ennyama okusobola okugaziya akatale n’okufunamu ekiwera.

Ng'enda mu butale n’amalundiro eby’enjawulo ne ngula ennyana ng’ekigendererwa kuzirundamu ekiseera nga nziriisa bulungi ate ne nzitunda ku ssente eziwera ente nzirundamu mwaka.

Ennume ze ngula ziba wakati w’emitwalo 30 ku 35, wabula okuzirunda omwaka buli nte mba ngitunda kakadde n’okusoba. Natandika n’ente 5, olwazituusa ku ddundiro nzirundamu ne nziraawa ku myezi esatu.

Kino nkikola kubanga mbeera njagala nnyama ate endaawo zikola mangu ennyama olw’okuba ziba tezirinnyira ekiziyamba okuzimba ennyama. Kino nkikola kuba ssinga oziraawa nga zaakatuuka zisobola okukona ne zitagejja bulungi olwo ne zikulemesa okufuna ssente z’osuubira nga zikuze.

Wabula kuno ngattako okuziriisa emmere erimu ebirungo ebizimba omubiri ne zikula mangu ate kati nkyusizza nga ngula ente ez’ennyama mwe ntabika ezaffe. Eno bizinensi batono abagitunuulidde kubanga erimu okutegana ate bangi tebaagala kutegana kyova olaba nga tebagikola.

Guno gwafuuka mulimu era nga buli mwezi ngulayo ennyana 50 kuba era nsobola okutunda ente ezisoba mu 50 buli mwezi.

OKUTANDIKWA EDDUNDIRO

Eddundiro lino lyatandikibwawo ssezaala wange Dr. Jessy Tulyahekayo eyali omusawo w’ebisolo eyawummula mu myaka gya 1970 wabula entalo okwali olwa Amin n’olwaleeta NRM mu buyinza ne lugisanyaawo olw’abajaasi okulya ente zonna n’okutta abantu abaali ku kitundu ne wasigalawo kifo awafuuyirwa ente kyokka ekyazimbibwa mu 1972.

Mu 2007 lwe twasalawo ne baze Richard Tugume Tulyahekayo tuddamu okulundira ku ddundiro lino.

Twatandika n’ente emu gye twagula okuva ku omu ku balunzi abaali ku kyalo ku 800,000/-, enkoko ennansi mukaaga n’embuzi mukaaga wabula nga mu kiseera ekyo twali tukolera Tanzania era nga ku ddundiro tujjayo omulundi gumu mu mwezi ng’omukozi gwe twali tufunye y’abeerawo.

ENTE

Ku nte emu gye twatandika nayo, twagenda tugulirako endala ennongoseemu kuba enzungu zennyini tezisobola mbeera y’eno ng’ekizibu kye zisinga okufuna kwe kufa amaaso olw’obuti okugakalabula nga tezibulaba.

Kati tulina ente ez’ebika eby’enjawulo ezivaamu amata nga olunaku tufuna liita 100 ge tutwala ku dayale eri mu kabuga akatuli okumpi.

Ente zaffe tusinga kuzirundira nnyama era tulina ebika eby’enjawulo nga byonna bizaaziseemu omuli Ankole cow, Frisian, Boran, Brahman n’endala.

Olw’okuba tusinga kwagala nnyama, twaguze ennume 11 ekika kya Brahman ne Boran ku bukadde butaano buli emu kyokka twasigazaako munaana essatu zaafa olw’endabirira kuba zaali nto ng’abakozi tebazimannyidde.

Okwongera okufuna ekisinga mu ddundiro lyaffe, twaguze ennume endala ekika kya Fleckvieh ng’eno nnungi ku mata n’ennyama era nga tusuubira nga yakwongera ku nnyingiza yaffe.

OKUTUNDA N’OMUTINDO

Tetukyatunda nte nnamu kuba tuzisala ne tutunda nnyama nga tulina bakasitoma be tugabira ennyama ku 12,000/- buli kiro era nga tugibatusaako we babeera ne bw’oba olumu ofiisi tugireeta.

Kasitoma ali mu Kampala tugimutwalira ku bwereere ate ebweru wa Kampala asasulayo eza boda boda.

Ekirungi omuntu alya ennyama gye yeekakasa nti eri ku mutindo kuba ente ezaffe zibeera nto nga tuzisalira ku mwezi 18 olwo omuntu n’alya ennyama ng’ewooma.

Ente zituyambye okulaakulanya eddundiro, okugeza mu kuleeta amazzi n’okusiba ssengenge twatunze ku nte omulimu ne guggwa.

AMAZZI

Ekimu ku kusomooza ku ddundiro lino kyali mazzi naddala mu kiseera ky’ekyeya ng’oluusi ente zituuka n’okufa anti n’omuddo tewaba nga n’ekitundu kikalira ddala kyonna ng’olaba ttaka.

Wano twatandika okusima ebidiba nga mu kiseera kino tulina ebidiba bisatu era tusimye n’enzizi z’omu ttaka nga twagala okusima enzizi nnya ku ddundiro kino kyakatutwalako obukadde 100 okutegeka amazzi gokka naye nga ssente zino ziva mu nte.

Amazzi tugatambuliza mu payipu okugatuusa ensolo zaffe we ziganywera kyokka ekitundu ky’ettaka okuli eddundiro eddala kikoona ku nnyaanja Wamala era eno amazzi tegatusumbuwa.

EMMERE

Tusala omuddo naddala mu bisambu ne tugukaza olwo ne tuguwa ensolo zaffe naddala mu kiseera ky’ekyeya nga kino kituyambye obutafiirwa nsolo n’emu kuba ekiseera kyonna tubeera n’omuddo gwe tuziwa.

Mu ngeri y’emu tufuna kasooli okuva mu bantu abalimira ku ttaka lyaffe ne tugabana 10 ku 100 ku makungula era sizoni ewedde twafunye kasooli mungi ddala kuba baalimye ku yiika 250.

Kino tukikola okuyamba abatalina we balimira ate naffe okutuyamba okusambula ensiko n’okufuna kasooli gwe tufunamu akawunga k’abakozi ate ebisoolisooli ne tubikubamu omuddo gw’ente.

Ebisoolisooli tubiteeka mu kuuma akabisunsula n’okukozesa emikono nga wano tufunamu emmere eriibwa abakozi n’endala gye tutabulira ente.

OKULWANYISA ENDWADDE

Tulina omusawo abaawo buli wiiki okulaba ensolo bwe ziri, wabula ne mzee Tulyahekayo engeri gy’ali omusawo olumu ayitayo ku ddundiro n’atuwa amagezi ag’ekikugu.

Ekisinga obukulu kye kifo ekifuuyirwamu ente nga kyazimbibwa na seminti ng’azimbisibwa ekidiba omuwugirwa nga mu kiseera kino kiyinza okukutwalako obukadde obusoba mu 500.

Kino kigendamu liita z’eddagala 16,200 nga litwala omwaka mulamba nga likyakola.

ABAKOZI Eddundiro liriko abakozi 54 nga ku bano 19 ba nkalakkalira nga bano basasulwa 150,000/- omwezi ate maneja 400,000/-.

Kuno tubagattirako emmere, okuwummula kwa nnaku 21 buli mwaka baweebwa obujjanjabi n’ebirala.

Mu ngeri y’emu tulina omusawo akyala ku ddundiro okuwa amagezi ag’ekikugu nga buli lw’ayitawo afuna 120,000/- nga tumuyita ne mu biseera nga waliwo ekiguddewo eky’amangu.

Kino kituyambye okutangira endwadde n’okuzirwanyisa amangu ssinga zigwawo.

OKUSOMOOZEBWA

Eky’amazzi twakinogedde eddagala, wabula olw’okuba eddundiro ddene, obubbi ababbi bakozesa embeera eno okutunyaga, naye twagala okuteekawo abaserikale ab’enjawulo okulawuna eddundiro ekiro. Waliwo ebisolo by’omu nsiko ebibe n’olumu ttimba ebitera okulya embuzi zaffe.

EBISEERA BY’OMU MAASO N’ABANTU OKUFUNAMU

Tuluubirira okuweza ente 10,000 kuba twagala okugaziya akatale k’ennyama gye tusala n’okutambuza eri bakasitoma baffe kuba tulabye ng’enkola y’okugula ennyana nga bwe tuzikuza ekola ssente.

Waliwo ekika ky’embuzi kye twamaze okutumya okuva e South Africa nga tuyita mu kibiina kye twatandikawo ng’abalunzi b’embuzi okuva mu bitundu bya Uganda eby’enjawulo ekya Uganda Goaters Network.

Twagala okwongera okugaziya ekibiina kyaffe era nga twakikozeemu ekibiina ky’obwegassi ekya Nile Goat Cooperation omuli ba memba 37 nga muno tuyitamu okuwahhana amagezi n’okweyigiriza ebintu ebitali bimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...