TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Mwettanire emyoleso gy'ebweru okusobola okufuna akatale k'ebirime byaffe

Mwettanire emyoleso gy'ebweru okusobola okufuna akatale k'ebirime byaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 17th October 2018

Okwettanira emyoleso mu mawanga ag'ebweru kye kinaayamba okutunda ebirime byaffe twongere ku nyingiza nga tusuubuza ab'e Bulaaya

2webuse 703x422

Bannayuganda ku mudaala gwabwe mu Yitale nga baguza Abazungu amenvu ga ndiizi ne kivuuvu.

Bya Paddy Nsobya  

Okwolesa ebirime bya Uganda mu myoleso gy’ensi yonna kye kimu ku bijja okuyamba abalimi okufuna amagezi, obutale obugazi n’ensimbi ezitegeerekeka okutumbula ebyobulimi n’obulunzi mu ggwanga.

Kaminsona w’ebyobulimi mu Ssaza ly’e Kyaggwe era nga y’akulira ekitongole kya Slow Food mu Uganda, Mw. Edward Mukiibi yakulembera ekibinja ky’abalimi n’abalunzi 30 okugenda mu mwoleso gw’ensi yonna ogwa buli luvannyuma lwa myaka ebiri okubatwala mu kibuga Torino mu ggwanga lya Yitale okwolesa emmere ey’enjawulo erimibwa mu Kyaggwe n’ebitundu bya Uganda ebirala okusikiriza amakampuni amanene mu Bulaaya okugigula olw’omutindo gwaayo.

Enteekateeka eno yawomeddwaamu omutwe ekitongole kya Slow Food nga kino kirwanirira okutumbula obutonde bw’ensi, obulimi bw’emmere ennansi n’obulunzi bw’endyo z’ebisolo ebinnansi okulaba nga tebisaanawo nga bwe kiri mu mawanga agamu.

Mukiibi yagambye nti, okwoleseza mu myoleso gy’ensi yonna mukisa gwa maanyi kuba ebintu ebikolebwa mu ssaza ne mu ggwanga lyonna okutwalira awamu biragibwa eri abasuubuzi bannaggagga abagula mu bungi ne baleeta ensimbi mu ggwanga omuntu waabulijjo n’afunamu kinene ate era kiteeka n’ebyobulimi bwa Uganda ku katale k’ensi yonna n’akuutira abalimi n’abalunzi okukola ebintu nga bya mutindo okusobola okusikiriza abasuubuzi b’ebweru.

 unnayuganda oseph konde omulimi wa kooko e ukunja ngalambula omudaala gwenkomamawanga ezirimibwa mu merika Munnayuganda Joseph Kkonde omulimi wa kooko e Bukunja ng’alambula omudaala gw’enkomamawanga ezirimibwa mu Amerika.

Ebirime bya Uganda binnansangwa birina akatale kanene ebweru naye ekiremesa abasuubuzi ab’amaanyi okujja mu Uganda be Bannayuganda bangi okuba nga bakyalima mmere yaabwe ya kulya awaka n’ategeeza nti emmere ya Uganda yettanirwa nnyo mu Bulaaya olw’akawoowo n’obuwoomi ebisukkulumye kw’eyo eva mu mawanga amalala.

Mu mwoleso ogwaliwo mu 2016 mu kibuga Torino e Yitale buli munwe gw’eryenvu lya sukaali ndiizi gumu gwali gugula ddoola ya Amerika nnamba (ze za Uganda nga 3,800/-) ate essowaani y’ekyenkya eky’akatogo k’amatooke yali egula doola za Amerika 75 (eza wano nga 280,000).

Uganda omwaka guno yayolesezza amenvu omuli bogoya, ndiizi, omubisi gw’enjuki, ennaanansi, omwenge oguva mu kayinja w’e Bugerere, ebigaaga, ebinyeebwa, kyetutumula, balugu, eby’ennyanja n’ebintu ebiruke n’emikono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...