TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Endabirira y’olusuku mu biseera by’enkuba eruzza obuggya

Endabirira y’olusuku mu biseera by’enkuba eruzza obuggya

By Musasi wa Bukedde

Added 12th November 2018

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima olusuku era kati ntandise okulya ng’omulimi.

Lusuku1 703x422

Baligeya ng’ava okuyunja ettooke mu lusuku lwe.

BYA MUKASA KIVUMBI
 
OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima olusuku era kati ntandise okulya ng’omulimi.
 
Abantu abamu tebakkiriza kupangisa ttaka eri omuntu agenda okulimako ekiwangaazi ng’olusuku kubanga bwe batuuka eyo basobola okubeefuulira ne baagala okunyaga ettaka lyabwe. Wabula ekigenda okukuyamba okupangisa ettaka ly’omuntu olimireko olusuku y’enkolagana n’obwesige bw’akulinamu.
 
Paulo Baligeya (40) omutuuze w’e Kibubbu mu Gombolola y’e Kawolo mu Buikwe agamba nti, kino kye kyamuyamba okukkirizisa Rose Muwanguzi okumupangisa ettaka lye ku kyalo Nakibole nakyo ekisangibwa mu Buikwe n’alimirako olusuku era kati atandise okukungula.
 
Newankubadde ng’osobola okuteganamu okufuna ettaka kw’olimira ekirime ekiwangaazi, wabula ggwe ayagala okulima ebintu ng’ebijanjaalo, kasooli, lumonde n’ebirala ebitasussa myaka ebiri, todda mu kwetuulaako nti tonnagula ttaka kyova tolima kubannga abapangisa ettaka mu nkola eyo bangi ng’omwaka okupangisa ku mitwalo 40.
 aligeya ngazizika ettooke Baligeya ng’azizika ettooke.

 

 
Mu kupangisa kuno twakkaanya emyaka musanvu, newankubadde nkimanyi nti olusuku lujja kuba nga lukyaliwo naye nja kululekawo ng’alyamu emmere ate nange emyaka mukaaga gye hhenda okumala nga ntemamu emmere nja kuba maze okugula ettaka eryange.
Ate bw’anaaba ayagadde asobola okunguza oba okuteesa ne nnyongezaayo okupangisa.
 
Nakikola bwentyo okusimbako ebitooke kubanga nali nkirabye nga kirime ekitakola loosi naddala ng’embeera y’obudde yeefudde oba okugwa obuzibu bwonna mu bbeeyi y’ebintu ebiba bikunguddwa nga bw’olaba ekibadde ku kasooli, kino kizibu okutuuka ku matooke.
 
Mu kusooka nali nkozesebwa mu kkampuni ya WAGAGAI Ltd erima ebimuli gye nava okudda mu SCOUL ne nkola naye nga byonna ndaba nkolera bwereere, ssente ze nfuna nga tezimala olw’okuba omusaala gwabanga mutono ku byetaago byange.
Kwe kufuna mukwano gwange eyampa amagezi nguleyo akagaali ntandike okusuubula amatooke omulimu gwenkoze okutuuka 2016 kwe kutandika nange okugeerimira.
 
Okutandika okulima ekinyegenyege nakiggya mu nsuku ez’enjawulo gye nagendanga okusuubula amatooke nga ntunuulira ne ssente ze mbawa ate nze olumu ne binsala, kale nasalawo okufuna obuvumu obutandika okulima ebitooke.
 
Wabula nafuna amagezi ag’enjawulo ne mmanya nti ssinga bino wammanga obissaako essira toyinza kulemwa kufuna mu lusuku;
 
OKUSIMA EKINNYA
Kino olina okukisima nga kiriko obugazi bwa ffuuti 3 ku 3 naye ssinga wansi waba wakalubye osobola okukola ffuuti 2 okukka wansi wokka.
 
Obugazi bw’ekinnya kino kiyamba okuteekamu ebigimusa ebisooka oba nakavundira oba obusa obukaddiye ate ne kisigaza olubbobbo olusobola okukwata amazzi ssinga enkuba eba etonnya.
Mu kusima ebinnya, jjukira okuleka amabanga ga fuuti 10 ku 10.
 
Naye waliwo abamu abasimbiramu ebintu ebirala ng’emmwaanyi gwe leka 12 ku 12. Bw’eba ng’ennimiro eri ku kasozi olina okusimamu engegere ezikwata amazzi obutakuluggusa ttaka.
aligeya agamba ensalosalo nkulu mu lusukuBaligeya agamba ensalosalo nkulu mu lusuku.

 

 
OKUSIMBA EBITOOKE
Mu kusimba oyinza okusalawo okusimba endu z’osigudde ku nsuku za banno oba okugenda okugula obutooke obw’amalanga. Bw’oba osimbye malanga buli kitooke ojja kukifuna ku 3,000/- olumu n’okusingawo okusinziira w’okiguze, kuno gattako ez’entambula zino zisinziira w’ofuna ebitooke n’ennimiro gy’ogenda okubitwala.
 
Naye nze nasimba bisiguddwa ku bannange nga buli kitooke nakigula 1,300/-.
 
Naye ffaayo okulaba ng’ebitooke bino tebiriimu birwadde nga weetegereza olusuku kw’osigula nga luyonjo. 

Ebitooke nga bimaze okuk­wata, ku myezi mukaaga ojja kwongeramu ebigimusa, oyinza okufuna obukuta obuvudde mu biyumba by’enkoko ez’amagi (Bulina okuba nga bukuta bwa mmwaanyi, sso si empuumbu y’embaawo). Buno busitula mangu n’okuwa ekitooke amaanyi ag’enjawulo.

Bw’oba nga tobulina oyinza okukozesa obusa, oba na­kavundira bino birwa mu nnimiro naye ate ekitooke tekikula mangu, omuntu ali ku bizinensi wandye­kutte bukuta.

Olw’okuba ekitooke kiba kikyali kito, nga tekinnatandika kuliira mu mabanga, ojja kusima ensalosalo okwetooloola ekitooke mw’oba oyiwa ebigimusa, bwe kitandika okuliira mu mabanga olwo sima ensalosalo mu ma­banga.

Mu mbeera y’okuzza ku nsimbi, mu yiika eno, nasooka ne nsimbamu ebijanjaalo ng’ebitooke tebinnakwata era nasimbamu kkiro 30, ne nfunamu ensawo nnya.

ENDABIRIRA Y’OLUSUKU

Okusalira: Olusuku olina kulusalira mu biseera bya nkuba nga bino, ku musana tosalira kubanga luba lufiirwa amazzi ate agataddewo kibikosa. Bw’oba osalira togogombola bigogo, salako byayi byokka ate endagala gyako ezo ezikoonose.

Ng’osalira weegend­ereze ebitooke ebirina obulwadde naddala obwa kiwotokwa (Ba­nanana Bacterial Wilt), olumu ebitooke ebirina obulwadde tosobola ku­bimanya. Kyandibadde kirungi okusalako eby­ayi byokka n’ebisanja obutatambuza bul­wadde. Ekirala osobola okutabula jjiiki nga buli kikolo ky’omala oku­salira ng’onnyika akambe n’olyoka osalira ekirala.

Okumenya empumumpu: Jjukira ebitooke biba bissa nnyo naddala mu biseera nga bino ng’enkuba etonnya. Kino kitegeeza nti tolina ngeri yonna gy’oyinza kwewala kumenya mpummumpu, tokoz­esa kiwabyo kuba ojja kutam­buza obulwadde, wabula funa akati ak’amakabyo ng’osimba mu mpummumpu n’onyoola.

Okuttira: Kino nakyo tekyewalika kuba ebitooke biba bizaala nnyo mu biseera by’enkuba, beera nga obittira oba okubisigula ok­wongera okugaziya olusuku.

Okubikka: Wano ekisinga okutawaanya abalimi kwe ku­bulwa ebisubi, naye ssinga ofuna ebisubi kikulu okubikka kuba kukuuma amazzi mu ttaka n’okuziyiza omuddo okumera nnyo. Wabula ssinga kiba kiso­boka kirungi okusimba emiti mu lusuku ng’emisizi, emituba n’emigavu gino nagyo giyambako okukwata empewo.

Enkozesa y’ebigimusa: Ebigimu­sa kirungi okubissa mu nsalosalo bw’oba osimye okuliraana eki­tooke, kuba bw’obiyiwa kungulu emirandira gy’ebitooke gidda waggulu mangu nga ginoonya eby’okulya ekiddako ebitooke bidda kungulu, ssinga kibuyaga ajja abisigula.

EBIWUKA MU BITOOKE

Okutta ebiwuka naddala kayovu nkozesa eddagala lya Dudu Gard bbuli liita ya 38,000/- nga mu ppipa ey’ebidomola 10 nteekamu liita bbiri n’ekitunda ne nkoz­esa kkaani egenda liita mwenda ng’ekola ku bitooke bitaano.

Mukiseera kino ng’olusuku lukyali ntembo, ntema enkota z’amatooke 14 buli wiiki ze ntunda ku wakati 15,000/- ku 20,000/ okusinziira ku bunene era nze ngetwalira mu tawuni e Lugazi ne nguza abali n’abasuubuzi.

Ensimbi ze nfunye mu lusuku luno zinnyambye okupangisa ebibanja ebirala bibiri nayo gye maze okusimba ebitooke ebirala era nsuubira mu bbanga eritali ddene okugula ekibanja ekyange nakyo nkisimbe ebitooke.

Amatooke gannyambye kuba sikyayinza kubulwa 20,000/- ate nge n’emmere ndya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu