TOP

Okulunda kugatteko okulima omuddo oyongeze amagoba

By Sarah Zawedde

Added 12th November 2018

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu ng’alimirako omud­do ogw’ebika eby’enjawulo oku­li ogw’emiti, empeke n’ebisagazi nga guno aguguza abalunzi n’okuliisa ensolo zaabwe.

Muddo1 703x422

Asiimwe mu muddo gw’alima.

Bya SARAH ZAWEDDE

EKIGWO ekimu tekirobera mwana kuyimba, enjogera eno etuukira ku Jolly Asiimwe (30), mu bye yayitamu ng’atandika ffaamu kw’alimira omuddo n’okulunda ebisolo.

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu ng’alimirako omud­do ogw’ebika eby’enjawulo oku­li ogw’emiti, empeke n’ebisagazi nga guno aguguza abalunzi n’okuliisa ensolo zaabwe.

OKUTANDIKA

Nasoma bya kubala bitabo era nnina dipuloma gye nafunira ku MUBS e Nakawa mu 2010. Bwe namaliriza okusoma, nafuna omulimu mu Rukiga SACCO e Kabale nga nkwata ssente ne ngukola okumala emyaka ebiri.

Omulimu gwali gunfuga nnyo kwe kusalawo okuguleka, na­saba baze kapito n’amumpa ne ntandika edduuka e Munyonyo, lino lyannema olwa bakasitoma abatono kwe kusalawo okuli­tunda obukadde 23 ne nziddiza eyazimpa.

Oluvannyuma nayingira Owino ne 300,000/- ne ntandi­ka okusuubula engoye enkadde nga nzitambuza mu mikwano gyange mu offisi ez’enjawulo.

 ano ngawa embuzi amalagala Wano ng’awa embuzi amalagala.

 

Nafuna ssente eziwerako olu­vannyuma ne ntandika okusala endibota z’engoye ze nagulanga ku Bayindi. Ssente zeeyongera bizinensi n’egaziwa. Mu 2016, nasasula Abayindi obukadde 15 nga za ndibota ne badduka nazo ne badda ewaabwe, era bizinensi yange we yakoma.

Obulamu bwannyiga era lumu nakyalira mukwano gwange gwe nasanga alu­ndira awaka ente mu ki­yumba ng’azifunamu kubanga zaali zivaamu amata agawera ng’agatunda.

Mukwano gwange yampa pu­laani nange okutandika okulun­da ente ntunde amata. Nasaba baze ne tugula ente bbiri ku bukadde mukaaga ze twatan­dikirako. Twaziteeka ku ttaka ly­affe e Namayumba eriweza yiika mukaaga n’ekitundu, wabula nakiraba nti okulunda ente nga tulima muddo kikaluba era kwe kutandika okugulima ate nagwo ne ngufuula bizinensi.

NTANDIKA OKULIMA OMUDDO

Nagenda mu musomo gw’obulunzi n’endiisa y’ebisolo ku ttendekero lya Makerere ery’e Kabanyolo ne batusomesa ku ngeri gy’osobola okugabiri­ramu ente n’evaamu amata agawera, ebika by’omuddo ebikula amangu n’ebirala. 

 Nagulayo endokwa y’ekisagazi ku 20,000/-, bwe nalaba nga kigejja kwe kusalawo okwongera okusimba ebirala. Nagula omuddo omulala omuli Calliandra, molinga, kifuta, enkenene, mukonzikonzi nga guno guliibwa embuzi n’ente ate girimu ebiriisa eby’enjawulo.

Nayongera okujjumbira emi­somo emirala okufuna amagezi ate nga bwe ngaziya n’akatale k’omuddo kuba nali ngasseeko omutindo ogumu nga ngukolamu ensaano.

NSIMBA EBIKA EBIRALA

Embuzi n’ente wadde byonna birya omuddo kyokka buli kimu kirina omuddo gwe zisinga okuwoomerwa. Embuzi zisinga ku­womerwa muddo gw’obutiititi. Era bwoba ozitadde okulya ojja kulaba nga zibuukira obuti obutonotono okulya obukoola.

Era ziwoomerwa omuddo omutonotono nga mugonvu era nga temuli mazzi mangi okugeza Calliandra aziwoomera.

Kyokka ente zeetaaga ebisagazi n’omuddo gwe zisobola okulya nga zitunudde wansi. Kati olina okumanya ebika ebirina eki­kula eky’enjawulo ng’osimba ate n’omanya n’emigaso egy’enjawulo.

OKULIMA OMUDDO

Omuddo okugulima olina okuba n’ebigimusa kubanga gwetaaga okuliikiriza okusobola oku­kula amangu ate ne bw’oba ng’ogusaaye ne gutojjera mangu lw’okola ssente.

Kirungi okugusimba ku bu bbu­looka kuba buno bw’obutema mu nnimiro wansi wasigalayo ensalo­salo ne ziba nga zikwata amazzi ssinga enkuba eba etonnya gwo ne gubeera waggulu.

Buli enkuba lw’etandika okuton­nya oba olina okuteekamu ebigi­musa, osobola okukozesa nnaka­vundira oba ebigimusa ebizungu ne kikuyamba okukula amangu.

Era buli lw’ogusaawa yiwamu ekigimusa oyiseemu n’enkumbi gujja kukula mangu, wano oluvannyuma lw’omwezi gumu n’ekitundu ojja kuba oddamu okutemamu omuddo omulala.

Emiddo egisinga naddala egitawanvuwa gikulira ku myezi esatu okuva lw’osimbye. Ama­banga gooleka okuva ku kikolo ekimu eky’omuddo okutuuka ku kirala kisinziira ku kika ky’osimba kuba emiddo nga gya miti kirungi n’olekawo ffuuti ssatu ku ssatu.

Nnina abakozi musanvu kyokka babiri be bankalakkalira nga be bannyambako okulimna omuddo n’okugulabirira mu ngeri bw’etyo.

NTUNDA ENSIGO

Wabaawo abalimi abajja okuy­iga ennima y’omuddo, ensawo y’ensigo y’ebisagaazi ngitunda 30,000/-, Calliandra buli ndokwa ya 800/- ntunda n’emiti emirala.

Naye ate ntunda n’omuddo omukalu, era ebika byonna bye nkola mbikaza ogumu ng’ebisagazi ne ngutereka nga mu­kalu ate ogw’emiti ne ngukolamu ensaano. Ogumu nguliisa ensolo zange ate omulala ne nguguza abalunzi.

BYE NFUNYEEMU

Natandika ne yiika emu eya ffaamu naye bwe nfuna amagoba nga nneeyongera okugula kati mpezezza yiika ssatu n’ekitundu.

Abalunzi bangi bafuuse mik­wano gyange ate n’abalala ban­nyambako okumpa amagezi.

Sikyegomba kukozesebwa buli kimu kye njagala nsobola okuky­etuusaako. Ate nnyambako ku bintu awaka baze n’atamenyeka nnyo.

Ffaamu enteekako obwetaavu bw’okwongera okugaziya obwon­go nga nsoma ebintu ebitali bimu naddala ku yintaneeti kubanga kubaako ebintu bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...

Nyo 220x290

Ebigambo bya Nnamwandu ebikaabizza...

Nnamwandu wa Muhangi, Patience Mbabazi yakaabizza abakungubazi bwe yalombozze embeera enzibu gy’abadde ayitamu...

Fu4650979 220x290

Omutaka w'ekika ky'Engo ayogedde...

OMUTAKA Muteesasira ayogedde ekyamutwala ku lyato era neyebaza mukazi we olw’okubeera omukakkamu ku mbeera eriwo....

Aid4 220x290

'Bannayuganda munyiikire okugaba...

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu kugaba omusaayi naddala mu biseera bino ng’abaana b’amasomero...

Besigyenganyumyanedr 220x290

Omulamuzi talabiseeko mu musango...

OMUSANGO oguvunaanibwa omusomesa w’e Makerere, Dr. Stella Nyanzi, gwongezedwaayo okutuusa nga 19, December, 2018,...