TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Biibino ayagala okulunda enkoko by’alina okumanya obutafiirizibwa

Biibino ayagala okulunda enkoko by’alina okumanya obutafiirizibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2018

Biibino ebintu 5 ebivaako abalunzi b'enkoko okufiirizibwa, bw'obiyiga n'obissa mu nkola ng'omaze okuyingiza ssente.

Lundaenkookongaoyagalasosikubangaabalalabalundawebuse 703x422

Enkoko olina okuzikuumira mu kifo ekiyingiza obbulungi empewo nga wano

Bya Stella Naigino

Ennaku zino, abantu bettanira okulunda enkoko era ng’abasinga beesunga okunoga ssente naddala mu biseera by’ennaku enkulu ebisembedde. Wabula ebiseera ebisinga bafiirwa olw’obuteekaliriza bye balina kukola. Wabula abakugu mu mulimu gw’okulunda enkoko bakulaze by’olina okussa essira obutafiirwa.

  1. Beera n’obwagazi bw’ekyo ky’okola

Moses Sabika, mukugu mu by’enkoko agamba nti abantu abasinga baagala okulunda enkoko kubanga n’abalala bazirunda kyokka nga tebalina mutima guzirunda ekivaako oluusi okwesuulirayo ogwannaggamba ne zibafaako.

Lunda kubanga oyagala so si lwa balala. Obwagazi bujja kukuwanguza era ne bw’onoosanga obuzibu ojja kulemerako era ofunemu.

 biriirwamu nebunywerwamu birinaokukuumibwa nga biyonjo okuziyiza endwadde Ebiriirwamu n'ebunywerwamu birinaokukuumibwa nga biyonjo okuziyiza endwadde

 

  1. Olina okugema enkoko

Hassan Kalyango, alunda nkoko era atunda emmere yaazo agamba nti, abalunzi abasinga naddala abapya tebafaayo kugema nkoko zino mu kiseera ekituufu ekizikosa.

Buli ly’otogema nkoko, obeera oleese obuzibu kubanga zikulwalako oluusi ne zitawona.

Enkoko bw’erwala, sooka ogijjanjabe olyoke ogigeme ng’ewonye. Abalunzi b’enkoko n’abaluubirira okulunda mulina okumanya engeri entuufu ey’okugema enkoko.

  1. Emmere gye zirya erina okubeera ennungi

Kalyango annyonnyola nti, omuntu yenna ayagala okulunda enkoko alina okumanya omuntu omutuufu anaatabula emmere y’enkoko. Emmere ennungi eyamba enkoko okukula amangu era tezirwalalwala.

 kwetabulira emmere kyekisinga obulungi Okwetabulira emmere ky'ekisinga obulungi

 

Abalunzi kirungi okwegulira ebirungo ne beetabulira emmere ne batakozesa etabuddwa kubanga olwo omanya obuzibu we buvudde ssinga enkoko zo zirwadde.

Enkoko ezibiika bwe zitalya bulungi tezibiika kimala oluusi n’okugaanira ddala ekimalamu abalunzi abasing amaanyi. Okwewala embeera eyo, manya emmere entuufu gy’olina okuliisa enkoko zo.

  1. Obuyonjo kikulu

Obuyonjo kikulu era omulunzi w’enkoko yenna alina okubeera nga muyonjo. Mu kino olina okuyonja ekiyumba ky’enkoko, n’ebiriiro ssaako ebinywero.

Kino kizikuuma nga tezirumbibwa ndwadde era nga zeeyagala.

  1. Kuuma ebiwandiiko

Omuntu yenna bw’aba akola bizinensi, alina okuwandiika buli ky’akola asobole okumanya ensaasaanya ye n’ennyingiza. Kino omulunzi alina okukyettanira amanye oba by’akola bitambula bulungi oba nedda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja