TOP

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu kusituka

By Musasi wa Bukedde

Added 19th November 2018

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba.

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 703x422

Monica Luzige ng'alaga obutungulu bw'atunda bw'alimira awaka

Bya Hafswa Nankanja

Monica Luzige ow’e Nakuwadde - Bulenga alimira n’okulundira awafunda. Agamba nti, yakoowa okulera engalo n’okutunuulira omusajja kyokka nga naye abeera n’ebirala eby’okukolako.

Annyonnyola bw’ati: “Olwamaliriza S.6, ssente zaabula ne ntandika okukola ne ssenga mu wooteeri nga tufumbira abakozi ba UBC. 

Mu myaka ena nali nfunye obukugu obumala okukola ebyange n’okwetengerera. Namusaba n’anzikiriza olwo ne ng’enda ku Uchumi y’oku Garden City ne nsabayo omulimu gw’okubafumbira. Omulimu nagufuna era ng’omusaala bagumpa ku nkomerero ya buli mwezi. Nakola ssente ne nzimba ennyumba z’abapangisa nazo ne zinnyongera ku nfuna yange.

 uzinda ngagabirira enkoko zalundira awaka we Luzinda ng'agabirira enkoko z'alundira awaka we

 

Twatandika okuwulira olugambo nga UCHUMI bw’egenda okuggalwa kyokka nga tetubikakasa bulungi nga ne bakama baffe tebatubuulira kituufu. Ekiseera kyatuuka ne nkola nga tebansasula okumala emyezi, kyokka nga bwe bagamba nti kaabugezi ajja luvannyuma, nange saasobola kufuna magezi mangu ago gasaba bakama bange ssente zange.

Olunaku lwakya lumu, UCHUMI n’eggalwa nga sisasuddwa kyokka nga n’obusente obutono bwe nnalinawo mmaze okubugulamu emmere ey’okufumba. Bwentyo ne nzira ku zeero.

Nsituka buto

Kino kyali kigwo kya maanyi mu bulamu bwange. Okumanya buli kimu ekyange kyagootaana n’enju gye nali mpangisa yannemerera ne nsalawo amakanda okugakuba e Nakuwadde ku buyumba bwange bwe nnali nazimbawo. Laba Mukama bw’andeetera omupangisa eyava e Juba.

 uzinda ne mutabani we nga bafukirira ebirime bye omuli nebinyeebwa Luzinda ne mutabani we nga bafukirira ebirime bye omuli n'ebinyeebwa

 

Kirabika mukazi wattu yandabanga nga ndi mu birowoozo era lumu yang’amba nti, “Nnyabo wadde wano wafunda naye tusobola okukolerawo omulimu ogusobola okukuwa ssente za buli lunaku”.

Yampa amagezi ga kusimba mboga era n’ensigo ye yazindeetera kuba yali amanyi omwami azitunda mu kibuga.

Nasimba ebikolo by’emboga eza langi eya kakobe n’eza bulijjo nga 10 kyokka nkulayirira nti okuva kw’olwo saasigala kye kimu.

Emboga zino zaali zikulira emyezi esatu gyokka nga buli mboga ngitunda okuva ku 1,000/- okugenda waggulu nga bbeeyi esinziira ku bunene.

Abaguzi nabafunanga mu bungi nga ku kyalo nze mbaliisa emboga. Nasalawo okukyusakyusa mu nnimiro yange nga mwe nzigyamu emboga omulundi oguddako nteekawo ebijanjaalo, obutungulu oba ennyaanya era nabyo nabifunamu.

Mu kiseera kino nateekawo butungulu obw’ebikoola nga mbugasseemu ebirime ebirala.

uzinda ngasalirwa ekimu ku bitooke byeLuzinda ng'asalirwa ekimu ku bitooke bye

 

Ntandika okulunda enkoko

Nalaba ng’ennimiro yange yeetaaga ebigimusa kwe kusalawo okukubawo ebibaawo wabbali ne nteekamu obukoko busobole okumpa kalimbwe.

Naleeta enkoko 50 zokka ez’ennyama ne nziriisa emmere erimu ekirungo kya ‘Pilate’. ‘Pilate’ ono mulungi ku nkoko kubanga azikuza mu bwangu ddala. Mu kiseera kino enkoko nze ndeeta za kigendererwa. Okugeza, bwemba nnina ekizibu kyonna nga fiizi z’abaana olwo nzireeta wabulayo omwezi nga gumu era oluzireeta nga ntandikirawo okunoonya akatale zireme kundya nnyo.

 uzinda ngalaga emmere eya pellets gyaliisa enkoko ze Luzinda ng'alaga emmere eya pellets gy'aliisa enkoko ze

 

Bwe nzitunda nga nzizaamu endala ez’ekyo kye njagala. Nali njagala emmotoka, era naleeta nkoko zange. Nazitundanga bwe ntereka ssente okutuusa lwe naweza ezigula emmotoka.

Nteekawo ekitooke

Gye nakomya okukola, n’okufuna obwongo obuyiiya ssente. Nalinawo akafo wabbali ne nkasimbamu ekitooke. Kino kinkoledde nnyo kubanga nze sikyagula mmere ya matooke gye ndiisa abaana bange.

Buli wiiki ntemawo enkota z’amatooke ebbiri. Nze sikyamanyi bwe beesimba ku mudaala mbu ngula nyaanya oba butungulu. Ebyo byonna mbyerimira ate ne ntundako.

 motoka uzinda gye yagula mu kukolera awaka wafunda Mmotoka Luzinda gye yagula mu kukolera awaka wafunda

 

Bye nfunyeemu

Nasobola okumaliriza enju yange gye nali ntandiseeko n’okugulayo emmotoka, ate nkyalina bingi bye nkolako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...