TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Muhoozi alambudde ffaamu ya Kabushenga: Akubirizza abavuka okwekolamu omulimu bafuuke ab’omugaso eri eggwanga

Muhoozi alambudde ffaamu ya Kabushenga: Akubirizza abavuka okwekolamu omulimu bafuuke ab’omugaso eri eggwanga

By Herbert Musoke

Added 9th January 2019

OMUWABUZI wa Pulezidenti ku nsonga z’ebikwekweto asibiridde abavubuka entanda okwekolamu omulimu bafuuke ab’omugaso eri eggwanga lyabwe nga bakola ebirizimba.

United 703x422

nga ng’alaga Maj. Gen. Muhoozi emmwaanyi .

Maj. Gen. Muhoozi Kainerugaba bino abyogedde oluvannyuma lw’okulambuzibwa ffaamu y’akulira kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde, Robert Kabushenga eyitibwa Rugyeyo Farm e Namayumba mu Wakiso okuli yiika z’ebitooke 20, yiika 50 za mmwaanyi n’emizinga gy’enjuki.

Muhoozi agambye nti mu mwaka 2019 abavubuka basaana okukyusa enneeyisa yaabwe, babeereko ne bye bakola ebivaamu ssente, okusobola okwekulaakulanya.

“Abavubuka ky’ekiseera mufuuke abakozi era abaagala eggwanga lyammwe.

Nga tukaaba ebbula ly’emirimu, mulowooze ku kulima n’okulunda kuba mulimu ssente, mu kifo ky’okudda ku ttaka ne mulitunda olwo ne muddukira mu bibuga okunoonya emirimu ate ng’obulamu bw’ekibuga bukaluba okusingawo”, Muhoozi bw’agamba.

Atenderezza Kabushenga okwenyigira mu bulimi ky’agamba nti kiwa abantu ekyokulabirako ekirungi bwe balaba nga n’abayivu wamu n’abo abakola emirimu gy’ekikungu basobola okulima mu kifo ky’okukulekera abalemeddwa ensi, era kino kikufudde okw’omuwendo.

Yagambye nti naye yatandika okulunda ente wabula afunye ekinyegenyege okutandika okulima naddala ebitooke n’emmwaanyi era akubiriza abavubuka okubaako nabo kye batandika okusinziira ku busobozi bwabwe.

“Totandika nga Kabushenga oba omuntu omulala atandise n’ekinene kuba obusobozi obwo oyinza okuba nga tobulina. Tandika okusinziira ku busobozi bwo lw’ogenda okubaako w’otuuka n’okukyusa obulamu bwo”, Muhoozi bw’agamba.

Annyonyodde nti ekisinga obukulu kwe kumanya bye weetaaga okutandika otuuke ku ky’oyagala, kyenyigiremu era soma otegeere bulungi bye kyetaaga okusobola okukuwa ekisinga kuba bangi bayingira ebintu bye batategedde kuba balina gwe balabye abikola, ekibaviirako okufiirwa.

Robert Kabushenga asabye Muhoozi okujjukiza Pulezidenti obweyamu bwe obw’okugulira Bannayuganda enkumbi obukadde 18, ze yasuubiza mu kulonda okwaggwa ky’agamba nti wadde abamu baakivvoola nti tekinologiya mukadde naye Bannayuganda abasinga bakozesa nkumbi okulima.

 abushenga  ku ddyo ngakwasa aj en uhoozi amatooke oluvannyuma lwokumukyalira Kabushenga ( ku ddyo) ng’akwasa Maj. Gen Muhoozi amatooke oluvannyuma lw’okumukyalira.

 

“Nze wano buli mukozi akozesa enkumbi ssatu omwaka. Ssinga kino okissa ku muntu wa wansi atalina busobozi okugula enkumbi buli luvannyuma lwa myezi ena, yandiremwa okulima wadde ng’akwagala”, Kabushenga bwe yategeezezza.

Agamba nti buli muntu asaana okubaako ky’akola mu bulimi n’obulunzi kuba bwe buyimirizzaawo Bannayuganda n’eggwanga.

“Omwaka guno buli omu abeeko ky’ayiikiriza ate akikole bulungi. Nkakasa ssinga kino kibaawo embeera y’ebyenfuna n’obulamu mu Uganda byakukyuka”, bw’agamba.

Akubirizza Bannayuganda okwongera okwenyigira mu bulimi bw’emmwaanyi ng’agamba nti Uganda erimu abalimi b’emmwaanyi akakadde kamu ate ng’abalala obukadde munaana be ziyimirizzaawo kyokka nga waliwo bangi abalina ettaka eritudde nga tewali kye balikolerako ate nga basobola okusimbako emmwaanyi.

Awadde abalimi amagezi okulabirira amasamba gaabwe nga bwe balabirira ebintu nga mmotoka, ofiisi n’ebirala nga balondoola ebirime n’ensolo zaabwe okumanya bye birwadde n’okubijanjaba nga bukyali.

“Tulina ekizibu ky’akawuka akakaza obutabi bw’emmwaanyi kyokka kano ssinga weewaayo n’ogenda ng’okanoga n’okwokya obutabi obukaze n’oluvannyuma n’okafuuyira osobola bulungi okukagoba mu ssamba yo n’otafiirizibwa”, Kabushenga bw’agamba.

Asabye Muhoozi okutuusa eri be kikwatako okukaaba kw’abalimi n’abalunzi olw’ebikozesebwa by’ebicupuli ebikyalemedde ku katale omuli eddagala, ensigo n’ebirala ebifiiriza abalimi n’abalunzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti

Gav't eyimirizza okugabira abantu...

Gav't eyimirizza okugabira abantu emmere egambibwa okutabula Bannayuganda emitwe

Reb2 220x290

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana...

Abatuuze bazudde ebitundu by'omwana eyasaddaakibwa

Gamba 220x290

Paapa alonze omusumba w'e Soroti...

PAAPA Francis alonze Rev. Joseph Oliach Eciru okubeera Omusumba w’e Soroti omuggya. Polof. Ono abadde aweerereza...

Img20171208wa0060335186 220x290

Abasawo beemulugunyizza ku kulwawo...

ABASAWO abeegattira mu kibiina kya ‘‘Uganda Medical Association (UMA)’’, beemulugunyizza ku kya gavumenti okulwawo...