TOP

Emmere ennansi ya ttunzi ku katale ka Bulaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 14th January 2019

ABALIMI b’ensigo bakubiriziddwa okuziwandiikako ebitabo n’okuzisomesa abantu abalala okusobola okuzikuuma n’okutumbula obulimi obwesigama ku butonde.

Tunda 703x422

Abalimi nga basoma kummere ennansi mu mwoleso e Mukono.

Dr. John Waswa Mulumba, okuva mu kitongole kya NARO bwe yabadde asisinkanye abalimi b’ensingo z’ebika by’ebirime binnansangwa, e Mukono ku Klezia mu nsisinkano eyategekeddwa ekitongoe kya PELUM Uganda yagambye nti obutabeera na buwandiike ku bintu byaffe kimu ku bibireeta okubula n’abalala okubitutwalako nga balaga nti byabwe.

“Kiruma okulaba nga bajjajjaffe abataasoma baasobola okukuhhaanya ebika by’emmere ebisoba mu 100 kyokka nga leero bw’oyita mu myoleso egy’enjawulo osangayo ebika by’emmere ebitawera 20.

Ssinga tetubaako na kye tukola mu bwangu tugenda kutuuka okubeera nga tetukyalina mmere nnansi”, Dr. Mulumba bw’agamba.

Yennyamidde okuba ng’emmere eriibwa era emanyiddwa ya bika nga bitaano byokka omuli amatooke, omuceere, kasooli, ehhano, muwongo ne lumonde so nga Uganda erimu ebika by’emmere ebirala ntoko omuli, emmere y’omu ttaka nga kaama, kyetutumula, ebisebe, amakobe n’endala.

Enva kati tumanyi bijanjaalo, binyeebwa na soya byokka, kyokka nga mu Uganda twalina enva nnyingi omuli; ebigaaga, empoca, obuyindiyindi, empindi, entungo, empande n’ebirala nga kati bw’obyogera bangi tebabimanyi ate abalala balowooza bya kikadde kyokka bye byakuumanga bajjajjaffe nga balamu bulungi n’okubawangaaza.

Emmere nansangwa nnungi eri obulamu bwaffe kuba teyeetaaga ddagala lya kugifuuyira okubala ne kitegeeza nti n’omuntu agenda okigirya nga terina bulabe bw’egenda kumutuusaako era emmere eno eri ku ttunzi naddala ku katale ak’omu nsi ez’e Bulaaya.”

MUWANDIIKE EBITABO

Mulumba agamba nti, emu ku ngeri ezisobola okuyitibwamu okukuuma emmere eno kwe kugiwandiikako ebitabo kuba ekintu ekiteereddwa mu buwandiike si kyangu kya kusaanyizibwawo.

“Ebitabo bingi ebiwandiikiddwa kyokka tetufunanga muntu yenna awandiika ku mmere yaffe nnansangwa. Kino kivuddeko ebika by’emmere bingi okusaanawo n’ebirala okusuulibwa kyokka ng’emigaso gye birina ntoko”, Mulumba bw’agamba.

Yagambye nti, baakwongera amaanyi mu kitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa n’okutereka ensigo zinnansangwa okulaba nga kibunyisibwa mu bitundu by’eggwanga n’okwongera okumanyisa abantu emirimu gyakyo.

Harriet Ndagire Ssempeebwa akulira PELUM Uganda agamba nti, olukuhhaana luno lwagobereddwaamu okutumbula n’okukuuma ensigo y’emmere ennansi n’ennima egoberera obutonde nga bagimanyisa abantu.

“Twagala okwongera okutumbula n’okukuuma emmere yaffe ennansi okulaba ng’ekuumibwa nga tusomesa abantu engeri y’okukola ensigo eno, okugikuuma, okugirima n’ebirala okulaba ng’ebyafe tebisaanyizibwawo”, Ndagire bwe yagambye.

Abalimi ssekinnoomu n’abeegattira mu bibiina eby’enjawulo beetabye mu lukuhhaana luno n’omulanga eri gavumenti okubayamba okussaawo enkola ezisobozesa okukuuma n’okutumbula emmere ennansi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.

Untitled3 220x290

Abebivvulu beesunga mudidi gwa...

OMUKWANAGANYA w’ekibiina kya UMP-NET omuli abayimbi, abategesi b’ebivvulu ne bannakatemba, Tonny Ssempijja ng’ali...

Blur 220x290

Ssaalongo ayankubya muggya wange...

MBONAABONEDDE mu nsi eno! Nze Sharon Busingye 31 ow’e Lusanja mu Namere Zooni. Nzaalibwa ku kyalo Luwerere mu disitulikiti...