TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Omwoleso gw’ebyobulimi ogwa Vision Group gukuleetedde abakugu abamanyi okubala sizoni

Omwoleso gw’ebyobulimi ogwa Vision Group gukuleetedde abakugu abamanyi okubala sizoni

By Musasi wa Bukedde

Added 14th January 2019

EMBEERA y’obudde kikulu nnyo ku bulunzi n’obulimi mu Uganda kuba abantu bangi kwe beesigamye era ng’olw’obutamanya mbeera ya budde bw’eneebeera, bangi bafiirwa ssente zaabwe ze bassa mu faamu n’amasamba.

Kyawa 703x422

Bano baali ku mudaala gwa Operation Wealthy Creation mu mwoleso gwa Harvest Money Expo e Namboole omwaka oguwedde.

Ekitongole ky’obutonde ekya Uganda National Meteorological Authority kimu ku bitongole by’omugaso eri omulimi n’omulunzi ebigenda okwetaba mu mwoleso gwa Harvest Money ogutegekeddwa kkampuni ya Vision group etwala ne Bukedde mu kisaawe e Namboole nga February, 15- 17 ng’okuyingira kwa 10,000/-.

Lilian Nkwenge, omwogezi w’ekitongole kino agamba nti wabaddewo okucamuukirira mu balunzi olw’oluwandaggirize lw’enkuba olubaddewo nga balowooza nti enkuba etandise ekitali kituufu kuba sizoni entuufu esuubirwa kutandika mu March.

“Abalunzi tebapapa okusimba ensigo zaabwe kuba akasana kakyayaka nga mu kiseera kino balina kusambula na kuteekateeka nnimiro zaabwe okulaba ng’enkuba weetandikira babeera basiga busizi”, Nkwenge bw’agamba.

Agamba nti, ekitongole kirina ebintu bingi bye kikola ebisobola okuyamba abalunzi, abalimi n’abavubi ku nnyanja kyokka batono abamanyi omugaso gwakyo wabula baakubeera mu mwoleso gwa ‘Harvest Money’ okwongera okunnyonnyola n’okwogerezeganya n’abalimi n’abalunzi buli omu ayongere okutegeera munne n’okunyweza enkolagana.

Akulira Vision group, Robert Kabushenga agamba nti ebitongole bya gavumenti n’ebyobwannannyini ssaako abakugu mu bulimi n’obulunzi ab’enjawulo baakubeera ku mwoleso guno okwongera okulambika abalimi n’abalunzi ku bituufu bye balina okukola.

“Ekimu ku kizihhamizza obulimi n’obulunzi mu Uganda bwe butamanya kituufu kya kukola olwo abantu ne basigala nga batambuliza faamu zaabwe ku kuteebereza n’enkola z’edda ze balowooza nti ze ntuufu ate nga zaayitako dda”, Kabushenga bw’agamba.

Akubiriza abalimi n’abalunzi okuggya mu bungi mu mwoleso guno okulambula n’okuyiga ebituufu bye balina okukola okwongera ennyingiza mu faamu n’amasamba gaabwe nga bakola ku nsobi ze babadde bakola ne zibafiiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Langa 220x290

Owange mmuweweeta ku katto k’abakyala...

SHARON Arinitwe w’e Kosovo: Owange mmukwata mu matu n’okuweeweeta ku mutwe gwa mutaka nga bwe mmukomberera okuva...

Bano 220x290

Ebifo ebiterese obuswandi bw’abasajja...

OBADDE okimanyi nti omusajja yenna yeetaaga okukwata mu ngeri ey’enjawulo nga muli mu buliri okusobola okuwangaala...

Segawa1 220x290

Ssegawa gwe yalonda mu bakazi 50...

OMUYIMBI Vincent Ssegawa atabuse n’omukazi gwe yakozesa yintavuyu n’asinga abalala 50 mwe yamulonda.

Abamerika bakubye Trump mu mbuga...

ABAKULEMBEZE b’amasaza g’America 16 bawawaabidde Pulezidenti Donald Trump nga bamulumiriza okwagala okukozesa obubi...

Wana 220x290

Muto wa Ssemwanga, abadde amansa...

BAAMUTADDE ku mpingu ne bamuggyamu n’engatto, nga toyinza kulowooza nti y’oli abadde amansa ssente mu bbaala z’omu...