TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Banka ya dfcu ejja n’ettu mu mwoleso gwa Harvest money

Banka ya dfcu ejja n’ettu mu mwoleso gwa Harvest money

By Herbert Musoke

Added 12th February 2019

ABALIMI n’abalunzi abanajja mu mwoleso gwa Harvest Money e Namboole okutandika ku Lwokutaano nga February 15 okutuusa ku Ssande nga February 17 wiiki eno, baakufuna omukisa okuggulawo akawunti mu bbanka ya dfcu.

Harvestmoney 703x422

Aba dfcu (ku ddyo) nga baliko bye bannyonnyola ba kasitoma.

Jude Kansiime kitunzi wa bbanka eno agamba nti ekimu ku bisinga okusoomooza abalimi n’abalunzi mu Uganda kwe kubulwa ssente ze basobola okussa n’okwongera amaanyi mu faamu zaabwe kuba ebitongole bya ssente ebisinga naddala bbanka bikaluubirizibwa okuwola abalimi n’abalunzi.

Bbanka ya dfcu y’emu ku bitongole ebitadde ssente mu mwoleso gwa Harvest Money ogw’okubeerawo wiikendi eno mu kisaawe e Namboole ng’okuyingira kwa 10,000/- n’okwetaba mu misomo egy’enjawulo egitikeddwa kwa 10,000/-.

“Nga dfcu, tuli basanyufu okulaba omwoleso guno nga gukula mu myaka esatu gye gubaddewo.

Omwoleso guno gutuwa omukisa okusisinkana n’okwogerezeganya ne bakasitoma baffe n’okubategeeza ku mpeereza zaffe ez’enjawulo ze tulina kuba buli balina bizinensi ez’enjawulo ezitambulira ku bulimi n’obulunzi babeerayo mu kifo kino ate mu budde bwe bumu”, Kansiime bw’agamba.

Ku mulundi guno, aba dfcu baliko empeereza ez’enjawulo ze baleetedde bakasitoma baabwe, abalimi n’abalunzi nga zonna zitambulira ku ssente ze basobola okuwolebwa, okutereka n’empeereza endala zonna okulaba ng’obulimi n’obulunzi mu Uganda bwongerwamu amaanyi.

Entereka ya ssente:

Omulimi n’omulunzi anaakulaakulana n’okutwala bizinensi ye mu maaso alina okubeera ng’atereka ssente z’afuna okuva mu makungula ge.

Bangi ku balimi n’abalunzi ssente zino bazitereka mu nnyumba ekitali kituufu kuba batya okugenda mu bbanka okuggulawo akawunti ate bbanka endala obukwakkulizo bubalemesa.

Ggwe omulunzi n’omulimi ayagala okuggulawo akawunti, olina kuyita na densite yo n’obufaananyi obutono oyambibwe okuggulawo akawunti mu bbanka ya dfcu. Kino kikuyamba okuwolebwa nga twesigama ku ssente z’olina.

Okwewola:

Mu bbanka yaffe, tulinamu empeereza ya Agric Production Loans nga wano omulimi oba omulunzi tumuwola ssente z’okukozesa ebintu ebitandikirwako omuli okusasula abakozi, okukungula n’okutereka amakungula n’ebirala.

Mu ngeri y’emu tubayamba okufuna kapito w’okutambuza emirimu gyabwe eri abasuubuzi b’ebirime, abagattako omutindo n’abalala.

Okugula ebikalu (Agric Asset financing): Twagala okutegeeza abalimi n’abalunzi nti tulina empeereza mwe tusobola okuyita okubakwatizaako okugula ebikalu naddala ebyuma nga tulakita, enkumbi, mmotoka ezitambuza ebikozesebwa n’amakungula, okuzimba sitoowa, ebiyumba by’okulundiramu, daamu z’amazzi, okutambuza amazzi g’okufukirira n’ebirala.

Okuwola abagula emmere y’ensigo (grain facility (ACF): Tulina empeereza abasuubuzi b’emmere y’ensigo mwe basobola okuyita okufuna ssente okutwala mu maaso bizinensi zaabwe.

Bonna abanajja mu mwoleso baakumanyisibwa ku mpeereza zaffe zonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...