TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abayizi batadde mu nkola bye baasoma ku ssomero mu bulimi

Abayizi batadde mu nkola bye baasoma ku ssomero mu bulimi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th February 2019

Abayizi batadde bye basoma ku ssomero mu nkola era abangu banaatera okukungula

Kalina5web 703x422

Steven Kakonge ng'ali mu nnyaanya ze yasimba awaka

Bya Emmanuel Ssekaggo

Uganda eyimiriddewo ku bya bulimi era kirungi okubyagazisa Bannayuganda naddala abaana basobole okukula nga babyagala era basobole okubyenyigiramu.

Abasomesa b’essomero lya Kalinaabiri Primary School e Ntinda mu munisipaali  y’e Nakawa baasalawo okusomesa abayizi ebyobulimi basobole okubikola mu luwummula ne bwe baliba bakuze.

Abayizi ku ssomero lino basomesebwa okulima ebitooke, ennyaaya, bbiring’anya n’ebirala ate nga bayigirizibwa n’okulunda enkoko.

 teven akonge ngali mu butungulu bwe Steven Kakonge ng'ali mu butungulu bwe

 

Stephen Kaaya, akulira okusomesa ebyobulimi ku ssomero lino agamba nti, okusomesa abaana ebyobulimi kiyamba kuba bye basoma mu kibiina baba basobola okubirabirako n’okubijjukira nga bibabuuziddwa kuba babeera baabikolako.

Okuyiga tekulina kkomo ng’abaana bwe basomesebwa okulima basobola okusomesa bakadde baabwe olwo nabo ne beenyigira mu kulima.

Abayizi balaze ensimba y’ebitooke ey’omulembe

  1. Joshua Kiwanuka, nga muyizi agamba nti ebitooke byabwe babisimba ku mabanga ga ffuuti 10 ku 10 bireme okulwanira ebigimusa ekivaako okussa enkota entono.
  2. Mu kusimba  ebitooke omulimi alina okusima ekinnya ekinene nga kino kiyamba enkolokolo z’ebitooke obutadda mangu kungulu.
  3. Obwegendereza bwetaagibwa naddala ng’omulimi asalira ebitooke obutakosa mugogo kuba guno gwe gutambuza amazzi n’ebiriisa ebirala nga bw’ogukosa n’ekimera kyonna obeera okitta.

 

Nasimba ennyaanya awaka ze ndabirira mu kuwummula

Steven Kakonge nga naye muyizi, oluvannyuma lw’okuyigirizibwa okulima ku ssomero yasalawo okuteeka by’asomye mu nkola ng’asimba ennyaanya n’obutungulu awaka.

Agamba nti, ayagala okulima era yasimba ennyaanya wabula ettaka teryali ggimu bulungi n’asomba ettaka eddungi n’aliteeka mu luggya era nga mwe yasimba ennyaanya n’obutungulu.

 bayizi ba alinaabiri  tinda nga basalira ebitooke ku ssomero Abayizi ba Kalinaabiri PS Ntinda nga basalira ebitooke ku ssomero

 

Yateekako akatimba okutangira enkoko okuzirya n’okuzoonoona era kati anaatera okutandika okukungula.

Ennyaanya ze n’obutungulu bw’anaabikungula bazadde be tebaggya kuddamu kugula nnyaanya na butungulu anti bajja kuba babiggya mu nnimiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...