TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Eklezia mu Ssaza ekkulu ery’e Kampala egabidde Abakrisitu ente

Eklezia mu Ssaza ekkulu ery’e Kampala egabidde Abakrisitu ente

By Musasi wa Bukedde

Added 28th February 2019

Abakristu mu Ssaza ekkulu ery'e Kampala bafunye ente okwekulaakulanya

Cari1webuse2 703x422

Abamu ku Bakristu abaafunye ente, wano nga Fr. Musumba azibakwasa.

Bya Paul Kakande

Eklezia mu Ssaza ekkulu ery’e Kampala egabidde Abakristu ente, embuzi n’embizzi balunde okusobola okwegobako obwavu.

Abakristu abeegattira mu kibiina kya Caritas okuva mu bigo eby’enjawulo mu Kampala be baaweereddwa ebisolo eby’okulunda ng’emu ku nkola Klezia mw’eyita okukulaakulanya abantu baayo n’okwongera okunyweza eddiini.

Omukolo gw’okugaba ensolo zino gwabadde ku kigo ky’e Buyege mu disitulikiti y’e Wakiso era abantu mu maka 36 e Buyege, Nansana, Gayaza, Kira ne Mwereerwe be baaweereddwa ebisolo eby’olulyo.

Ku mukolo guno omugenyi omukulu yabadde dayirekita wa Caritas mu Ssaza ly’e Kampala, John Musumba eyakwasizza Abakrisitu ensolo zaabwe.

Yakubirizza abaafunye ensolo zino okuzaagala bazirabirire bulungi zisobole  okubawa ebirungi.

 r ohn eter usumba akulira aritas ampala ngakwasa bakrisitu bekigo kya uyege embuzi  Fr. John Peter Musumba akulira Caritas Kampala ng'akwasa Abakrisitu b'ekigo kya Buyege embuzi.

 

Fr. Musumba era yabategeezezza nti, ensolo ezibaweereddwa wadde za bwereere naye balina okuzisasula nga bazzaayo ento ezinaasooka okuzaalibwa kasita zinaabeera enkazi zigabibwe mu bannaabwe bwe bali mu kibiina abatannafuna nabo baweebwe buli omu afunemu.

Yagambye nti, abantu bakyetaaga okuyamba wabula ng’ekisinga obukulu kusooka kubasomesa ku ngeri y’okubirabirira nga lwe banaasobola okutumbula eby’obulimi n’obulunzi mu ggwanga.

James Mutebi, omukwanaganya w’ekitongole kino yagambye abaafunye ebisolo nga bwe basaanidde okufaayo ku nsolo ezaabaweereddwa awatali kwekwasa kuba zaagemeddwa ng’omulunzi yeetaaga kintu kimu kuzirabirira zisobole okuzaala ate afune amagoba.

Yagambye nti, Klezia ekyayagala okuyamba amaka agasukka mu 5,000 mu Kampala kyokka nga bano abasoose okufuna be balina okuwa ekifaananyi ekirungi nga balabirira ebibaweereddwa olwo ne Caritas efune embavu okwongera okubasakira.

Yategeezezza nti, mu kiseera kino nga bali mu byobulimi n’obulunzi, balina n’enteekateeka egenda okutandika ey’okuweerera abaana ku bwereere okuva mu pulayimare okutuuka ku yunivasite.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye