TOP

Engeri gy'olima ennyaanya ku musana n'ofuna kiralu

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2019

Ebirungi by'ofuna bw'olima ku musana mulimu okukekkereza ate n'ofuna kiralu.

Nyanya1webuse1 703x422

Julius Mwesigwa ng'alaga ennyaanya ze yalima ku musana

Bya  Paul Kakande

Enkuba etandise mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo kyokka awamu bagiwunyirwa lusu kuba tebannagikubako kya mulubaale.

Wabula kino tekisaanye kubamalamu maanyi naddala mmwe abaagala okulima ennyaanya kuba ne ku musana osobola okuzirima n’ofunamu.

Julius Mwesigwa, omulimi w’ennyaanya ku kyalo Kyamanyoli mu Bukomero Town Council agamba nti, ye mu budde nga obw’omusana mwasimbira ennyaanya ze nga teri mulimi mulala asimbye olw’okubeera nti buli omu atya okuteekamu ate n’emirimu emingi egyetaagisa okukola okusobola okukuza ennyaanya y’omusana.

Newankubadde ng’abalimi abasinga tumanyi nti omusana ye mulabe w’ennimiro asinga, naye nakizuula ate nga wano we wali omukisa era ne nnima ennyaanya zino mu musana era ne nfunamu.

atric isekwa sonko ngabikka ennyaanya ze yalima mu kyeyaPatric Kisekwa Ssonko ng'abikka ennyaanya ze yalima mu kyeya.

 

Gye buvuddeko mbadde n’ennyaanya ezengera nga nazisimba buli muntu ang’amba nti ng’enda kufiirwa olw’okuba enkuba yali eweddeyo naye nga nkimanyi nti ndi mu kibalo era bookisi ebadde egula wakati wa 370,000/- ne 450,000/-. Bookisi ssatu zibadde zimpa akakadde ate nga bansaze ku nnimiro ekintu ky’otosobola kufuna mu biseera by’enkuba.

Ng’oggyeeko ezo nnalina n’ennimiro endala bbiri ze nasimba mu kasana, nayiwa beedi ne nzizimbako ekiyumba ekitakkiriza musana kutuuka ku ndokwa zange olwo ne nfukirira emisana n’olweggulo okutuusa lwe zaakula ne nzisimba.

Okukuza ennyaaya mu musana

Okusobola okukuza ennyaanya zino, endokwa nzisimba lwaggulo ng’enjuba egudde, mu kusimba tusima bwe tufukirira ate mbeera nasaze dda endagala nga buli ke tusimba tukabikkako akalagala ke tuba tumenye okugiziyiza okwokebwa omusana.

Ekyo bwe kiggwa, ate tukwata essanja ne tubikka bulungi ekitundu ekiwedde okusimba okusobola okukuuma amazzi mu ttaka ennyaanya yaffe esobole okukula.

Ng’ennimiro yonna ewedde okusimba nga n’okubikka kuwedde buli ku makya tukeera kufukirira ennimiro ate n’olweggulo bwe tutyo.

melda asi mulimi wa nnyaanya era wano ngalaga engeri gye yakozesaamu obucupa okuzifukiriraImelda Kasi mulimi wa nnyaanya era wano ng'alaga engeri gye yakozesaamu obucupa okuzifukirira.

 

Ebirungi by’okulima ku musana

  1. Bw’olima ku musana weetaaya mu katale kuba batono abalima mu kiseera kino era ebbeeyi ebeera waggulu.
  2. Ennyaanya y’oku musana teyeetaaga nnyo ddagala era okufuuyira kuba kutono ate n’ekigimusa si kya maanyi nga by’okozesa ku nkuba olw’ebiwuka ebingi n’endwadde endala ezibalukawo.

Engeri gye weeteekateeka okulima ennyaanya ku musana nga.

  1. Zimba ekiyumba w’onoosimba nassale.
  2. Olina okubeera n’ekifo w’oyinza okutereka amazzi agawera okumpi n’ennimiro. Wano osobola okusima ekinnya oba n'okozesa amapipa agawerako.
  3. Ofuna abakozi abawerako abanaakuyamba mu kufukirira.
  4. Olina okutegeka by'onoobikkisa nga essanja lye lisinga okukola obulungi, naye bw’oba tolirina ofuna essuubi ly’onoobikkisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...