TOP

Gonja afuuse zaabu mu Kyaggwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

EKIRIME kya gonja kifuuse zaabu mu Kyaggwe n’emiriraano kyokka abalimi obugagga buno babadde babulekedde balimi b’e Congo be babufunamu.

Dahine 703x422

Ssemyalo ng’alaga ensukusa ennungi eza gonja abalimi ze basaanye okwettanira.

Bya Paddy Nsobya

Ekibiina ekigatta abalimi n’abalunzi e Mukono ekya Mukono District Farmers Association MUDFA kibangudde abalimi mu musomo gw’okulima gonja ogw’olunaku olumu ogw’abadde e Mayangayanga mu ggombolola y’e Kimenyedde ne kibasaba okuva ku kulima gonja ow’okulyako obuli wabula basimbire ddala ensuku ennene ezinaamatiza akatale akanene akabeetoolodde ate nga n’ebbeeyi nnungi.

Ennaku zino gonja atunda mu Kyaggwe mu butale obutali bumu nga; Kalagi, Nakifuma, Kabimbiri, Namawojjolo, Najjembe, Kitigoma, Lugazi, Kabimbiri n’obulala mu bitundu ebirala.

Okusinziira ku basuubuzi ba gonja mu katale k’e Namawojjolo, gonja asinga obungi gwe basuubula ava Congo.

Akulira abakolera mu katale kano Alike Steven yagambye nti, ebyamaguzi bibiri, enkoko ne gonja bye bizimbye ekibuga Namawojjolo era gonja n’ageza abula, wabeerawo amaziga mangi mu kitundu ne mu bamusuubula n’abamulya.

Yagambye nti, mu nnaku eza bulijjo okutali bikujjuko wadde okuggyayo n’okuzzaayo abaana ku masomero, bakozesa ensawo za gonja wakati 9-11 buli lunaku kyokka mu nnaku z’okukyalira abaana ku masomero, ennaku enkulu ng’abantu badda mu byalo n’okuvaayo, era ne lwe wabaayo emikolo mu Kyaggwe, abasuubuzi ba gonja babeera mu keetalo era batunda ensawo ezisukka mu 15 buli lunaku.

Gonza Moureen omusuubuzi wa gonja yagambye nti, obutafaanana nga mu Uganda mwe bagulira mu nkota, ye gonja ava e Congo bamugulira mu nsawo.

Yagambye nti, ensawo ennamba weeviira e Congo okutuuka e Namawojjolo bagisuubulira wakati wa mitwalo 90,000/- ne 130,000/- okusinziira ku sizoni.

Yategeezezza nti, gonja bwe bamala okumugula bamwokya ne bamutunda, eminwe esatu bagitunda 1000/-. Ensawo ya gonja egendamu eminwe 700. Bw’omwokya n’omutunda ku 1,000/- buli mulengo gwa minwe esatu ofunamu 233,000.

Gonza yagambye nti, gonja alimibwa mu Kyaggwe n’emiriraano ensawo bagisuubulira wakati wa 25,000/- ne Sh 30,000/- okusinziira ku bunene n’ategeeza nti, wadde Bannayuganda tebajjumbidde kulima gonja, gonja omuganda yaakyasinze okuwoomera bakasitoma baabwe era avuganya bulungi ku katale buli lw’alabika.

Omusomesa w’eby’obulimi mu kibiina kya MUDFA, Dickson Ssemyalo yasomesezza abalimi ennima ya gonja ey’omulembe n’abagumya nti gonja tajja kubassa bwavu olw’okuba balowooza nti alwawo okukula.

Yagambye nti, mulimu ebika ebyanguwa okukula nga Nakakongo, Nakattanseese, Manjaya n’ebirala nga bino ku myezi mwenda biba bissa ate ku myezi esatu oluvannyuma lw’okussa enkota nayo ebeera etuuse okwengera.

Ebika ebirwawo mwe muli Nsakala ne Mmamba nga bino bangi bye basinziirako okuwanuuza nti gonja alwawo olw’okuba byo enkota emala emyezi mukaaga okukula.

Okuteekateeka olusuku lwa Gonja Agamba nti, gonja alimibwa ng’ebitooke ebirala okuggyako ennima empya egenze ezuulibwa nti ya mulembe oluvannyuma lw’okuginoonyerezaako n’okugigezesa.

Okugeza gonja okubala obulungi yeetaaga okusimira ekinnya kya fuuti mukaaga obugazi ne fuuti bbiri obuwanvu kyokka amabanga okuva ku kikolo okutuuka ku kinnaakyo tegakyuka.

Agamba nti, osobola okukozesa fuuti 12x12 era ku mabanga gano mu yiika emu obeeramu n’ebikolo 328. Mu buli kinnya yiwamu obugaali bw’obusa busatu ng’osoose okubuleka okuwola okumala ennaku nga 21, era ng’obutabuddemu erimu ku ttaka lye wasima mu kinnya.

Ng’ogenda okusimba kirungi ofune endu oba ensukusa okuva mu nsuku ennungi omutali biwuka na bulwadde kuba bw’osimba endwadde tezikula bulungi kukuwa makungula malungi.

Ekirala tokozesa biso na nkumbi okuva mu nsuku endala, mu lusuku lwa gonja sikulwa nga kujjirako obulwadde.

Osobola okwebuuza ku balimi mu kitundu kyo oba mu NARO e Ntaawo oba ku MUDFA ne bakuyamba okufuna endu n’ensukusa ennamu. Mu mwaka ogusooka ofuna enkota 328 ate mu mwaka ogwokubiri olusuku ng’olulabiridde bulungi osobola okutemamu enkota ezisoba mu 600.

Enkota 328 buli emu bw’ogitunda ku 20,000/- ofuna 6,560,000/-.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.