TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Disitulikiti nnya ziggyiddwaako kalantiini w’okutunda ebisolo

Disitulikiti nnya ziggyiddwaako kalantiini w’okutunda ebisolo

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2019

DISITULIKITI nnya ku 57 ziggyiddwaako kalantiini y’okutambuza ensolo naddala ente oluvannyuma lw’okukakasibwa nti tezikyalimu kirwadde kya Kalusu ekisumbuye amagana mu Uganda okuva mu 2012 mu disitulikiti omusinga abalunzi.

Mwana 703x422

Patrick Vudriko ng’annyonnyola engeri gye bagenda okukozesa labalatole okukebera obulwadde mu nsolo.

Bino byayogeddwa minisita w’obulimi, obulunzi n’obuvubi, Vincent Balulangaki Ssempijja ng’agamba nti, ebitundu okuli; Maddu ne Kabulassoke mu disitulikiti y’e Gomba, disitulikitu y’e Lyantonde, Lugusuulu mu Ssembabule, ne ggombolola ya Ruyonza disitulikiti y’e Kyegegwa kyokka ng’endala zonna tezikkirizibwa kuggyibwamu bisolo.

“Abasuubuzi n’abalunzi baddembe okutambuza ebisolo mu bitundu bino kyokka nga balina okugoberera amateeka agalambika entambuza yaabyo mu ggwanga”, Ssempijja bw’agamba.

Yannyonnyodde nti, okusalawo kuno kwatuukiddwaako oluvannyuma lw’okunoonyereza okwakoleddwa ekitongole ekivunaanyizibwa ku bulamu bw’ebisolo okuyita mu kitongole ekikola ku kunoonyereza ku bulwadde mu bisolo ekya National Animal Diseases Diagnostic and Epidemiology Centre e Ntebe ne kizuula nti ebisolo mu bitundu bino tebikyalina bulwadde bwa Kalusu.

Disituliki 57 zeezibadde zassibwako kalantiini era nga Ssempijja agamba nti, bakyagenda mu maaso n’okwekebejja ebisolo mu disitulikiti 53 ezisigaddeyo okulaba oba nga nazo teziriimu bulwadde buno era n’akubiriza abalimisa mu disitulikiti eziggyiddwako kalantiini okuyamba abalunzi okukwataganya embeera n’okukozesa enkola esobola okutangira obulwadde buno okuddamu okuyingira amalundiro gaabwe.

Ssempijja agamba nti, obulwadde buno bukwata n’abantu nga busaasaanyizibwa okuyita mu mazzi g’ennume, amata, ennyama, obusa n’omusulo n’akubiriza abalunzi okusiba enkomera ku faamu zaabwe okwewala buli kisolo okuyingira mu magana gaabwe n’okwawula bisolo erwadde okuva mu nnamu n’okutegeeza omukugu mu bwangu okwewala obulwadde okusaasaana.

Okukebera ente endwadde Mu kiseera ky’ekimu abalunzi abeegattira mu kibiina kya Uganda Meat production cooperative Union nga bayambibwako ekitongole kya Zoetis okuyita mu nteekateeka ya African Livestock productivity and Health Advancement bazimbye labalatole bbiri ez’omulembe e Nabitanga mu Nakaseke n’e Butanga mu Ssembabule nga bakolaganira wamu ne Makerere yunivasite okukebera ebisolo ebirwadde.

Dr. Joshua Waiswa pulezidenti w’ekibiina kino gamba nti, abalunzi babadde bafiirizibwa ssente ze bassa mu kujjanjabisa ensolo zaabwe olw’okuba abasawo babadde baziwa obujjanjabi nga basinziira ku bubonero bwe bazirabyeko ate nga waliwo obulwadde obubeera n’obubonero obufaanagana.

Agamba nti, abalunzi bonna n’abaali bammemba baakuyambibwa nga wano waliso abasawo abatendekeddwa mu kitongole okuyamba abalunzi okuggya omusaayi ku bisolo olwo gutwalibwe mu labalatole okwekebejjebwa okukakasa obulwadde bw’ennyini ng’agamba nti kigenda kutwalanga essaawa mbale okubeera ng’omulunzi amaze okutegeezebwa ekituufu ate ku ssente entono.

Dr. Gabriel Varga akulira ekitongole kya Zoetis mu Afrika agamba nti, kino bakikoze okuyambako abalunzi ababadde bafiirizibwa ssente nga bajjanjabisa ebisolo ne batafunamu n’oluusi n’ebisolo byennyini bituuka okufa.

“Olw’okuba ebisolo ebisinga okulundibwa mu Afrika naddala Uganda bisalibwa kuliibwa nga nnyama, ssinga bikuumibwa nga biramu bulungi kitegeeza nti n’abantu ababirya baakubeera balamu”, Dr. Varga bw’agamba.

Dr. Sylvia Baluka pulezidenti w’abasawo b’ebisolo mu ggwanga ekya Uganda Veterinary Association alaze obwennyamivu olwa ssente entono ezissibwa mu kitongole kino z’agamba nti kimu ku biremesa abasawo okukola emirimu gyabwe.

Basabye gavumenti okwongera ssente mu kitongole ky’abasawo b’ebisolo kuba okujjanjaba ebisolo okutuufu kitangira endwadde nnyingi ezandibadde zisiigibwa mu bantu okuva ku ebisolo nga bulusera, akafuba, kkookolo n’endala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...