TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde ababaka ba Palamenti - Tubeetaaga

Abavubi b'e Nkombe -Buikwe batabukidde ababaka ba Palamenti - Tubeetaaga

By Musasi wa Bukedde

Added 18th March 2019

Abavubi batabukidde ababaka baabwe abataddayo kubategeeza nsonga zibaluma eziteesebwako mu Palamneti ng'ate tebakkaanya nazo.

Fish0webuse 703x422

Abavubi ku mwalo gw'e Nkombwe nga bali mu lukung'aana lw'abalimi

Bya Paddy Bukenya

ABAVUBI mu disitulikiti y’e Buikwe bawanda muliro olw’ababaka baabwe mu Palamenti obutabawa mukisa kuwa ndowooza zaabwe eri eggwanga ku nsonga z’okutongoza tekinologiya wa GMO ne bategeeza nti balina bingi bye batakkaanya nabyo ku nteekateeka eno bye beetaaga eggwanga okusooka okufumiitirizaako kyokka ababaka baabwe babasuuliridde.

Bino byabadde ku mwalo gw’e Nkombwe mu disitulikiti y’e Buikwe ku Lwokuna mu lukiiko lw’okukubaganya ebirowoozo (Palamenti y’abalimi) ku nsonga ezikosa ebyobulimi, obulunzi n’obuvubi ebikosa ekitundu olutegekebwa ekitongole kya Slow Food International buli luvannyuma lwa myezi esatu.

 bavubi ku mwalo gwe kombwe nga bava okuvuba empuuta Abavubi ku mwalo gw'e Nkombwe nga bava okuvuba empuuta

 

Abavubi baategeezezza nti, beeraliikirivu ku tekinologiya ono nti ayinza okuttattana obutonde bw’ebyennyanja mu nnyanja ebibaddewo emyaka n’ebisiibo olwo ennyanja efuuke ekitagasa ne bongerako nti amawulire ge bawulira gagamba nti mu nsi ezaakula yo GMO tebazaagala zittattana obutonde bw’ensi kyokka ate bbo ababaka kino tebakitutte ng’ekikulu.

Omukubiriza wa Palamenti y’abalimi eno, Hussein Ssebadduka yakubidde ababaka b’ekitundu kino mu Palamenti okuli Judith Babirye ne David Mutebi omulanga okuwaayo ekiseera basisinkane abavubi bawulirize ebirowoozo byabwe kuba ensonga eno nkulu ekosa obulamu bw’abantu n’ebintu ebibeetoolodde.

Abavubi bali mu kutya nti, tekinologiya wa GMO ono ayinza okutta ebyennyanja n’ebitonde ebirala bingi mu nnyanja eby’omugaso ne bafiirwa emirimu, obutonde bw’ennyanja n’obuwangwa, kuba bangi ku bo balina emizizo egyekuusa ku nnyanja ng’ebika ebimu ebiva mu nnyanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...