TOP

Enkuba esuubirwa ku nkomerero ya March

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2019

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku nteebereza y’obudde ekya Uganda National Metrological Authority kigumizza Bannayuganda ku nkuba nti egenda kutandika okutonnya mu bwangu.

20159largeimg208sep2015111426600703422 703x422

OkusinziIra ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa akulira ekitongole kino, Dr. Festus Luboyera, omuyaga ogumanyiddwa nga Tropical Cyclone (Ekinywa mpewo) ogwakubye amawanga g’obukiika ddyo bw’Afrika gwagoyezza amawanga ga Mozambique, Malawi ne Zimbabwe gulemesa empewo empeweevu okuva ku guyanja Indian ezandireese enkuba mu Uganda.

“Wabula tulina essuubi nti ku ntandikwa ya wiiki eno ekinywampewo kino kigenda kuba kikendedde olwo enkuba etandike okutonnya”, Dr. Luboyera bw’agamba.

Omukungu mu by’embeera y’obudde okuva mu kitongole kino Yusufu Nsubuga annyonnyola nti ekinywampewo kino oluusi kijja ne kitakosa nnyo kutonnya kwa nkuba naye ku mulundi guno kibadde kya maanyi.

“Ebbanga lyonna tufuna ebinywa mpewo mu guyanja Indian nga bino bitera kujja wakati wa January ne April 15.

Oluusi tebitukosa wabula eky’omulundi guno kyasimba okumpi ne Mozambique ne Madagascar nga kino kye kibadde kinywa empewo ezandituuse wano okutuwa enkuba”, Nsubuga bw’agamba.

Agamba nti, enkuba yali etandise bulungi nga bwe kyatebeerezebwa mu kusooka wabula yeesiba olw’ekinywa mpewo naye y’akutonnya mu bbanga eritali ly’ewala okusinziira ku bubonero bannassaayansi bwe balaba.

Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa aba Network of Climate Journalists of the Greater Horn of Africa kiraga ng’okulwawo kw’enkuba tekukosezza Uganda yokka wabula n’amawanga g’obuvanjuba bw’Afrika gonna.

Kino kitegeeza nti embeera eno yavudde ku kinywampewo ekimanyiddwa nga “IDAI”, ekisimbye mu luwannanda lwa Muzambique ate nga waliwo okuteebereza nti ekinywa mpewo kino kikyeyongera okubeerawo mu Guyanja Indian Ocean nga kino kitegeeza okweyongera kw’akasana.

Mu February, enteebereza y’obudde eraga engeri enkuba gy’esuubirwa okutonnya okuva mu March okutuuka mu May yafulumizibwa era n’etandikako wabula embeera y’akasana yatandika olwo abalimi abasimba ku nkomerero ya February n’entandikwa ya March ne bafiirizibwa.

Olw’embeera eno ne Kenya waliwo ebitundu ebigambibwa okubeeramu okufa olw’enjala evudde ku kyeya. Okusinziira ku James Bataze omukugu mu kitongole ky’enteebereza y’obudde mu Uganda, eyayogedde n’aba Network of Climate Journalists of the Greater Horn of Africa, akasana kano ke tulaba mu March, kaasembayo okubeerawo mu 2017 enkuba lwe yalwawo olw’enkinywa mpewo.

“Ssinga ekinywampewo kijja mangu ne kikoma ng’enkuba tennatandika kutonnya, tekikosa sizoni wabula ku luno kyaluddewo ekyavuddeko okulwawo kwa sozini y’okutonnya kw’enkuba.

Bataze annyonnyola nti, ebifo ebiri wansi empewo efuuwa egenda mu kitundu kino omuli n’empewo eyandi reese enkuba.

Agamba nti, bwe kimala okujjula obulungi olwo ne kigwa ku ttaka nga ky’ekireeta n’okwonoona ebintu nga bwe gwabadde mu Mozambique.

“Ekinywampewo bwe kinaaba kimaze okugwa, empewo yakuddamu okufuuwa nga bw’erina okuba. Abalimi balindeko okutuusa ku nkomerero ya March enkuba wesuubirwa okutonnya. Tusuubira nti enkuba yakutonnya okutuusa mu makkati ga June”, Bataze bw’agamba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...