TOP

Okulima ennyaanya ku musana kunfunira kiralu

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2019

Lima ennyaanya mu kyeya lw’ojja okufunamu. Mu budde nga buno omuntu awaayo obudde bwe n’alima ennyaanya ye yekka asobola okufuna eky’enkizo mu bulimi n’alema kubwevuma.

Julius Mwesigwa omulimi w’ennyaanya ku kyalo kyamanyoli mu bukomero Town council agamba nti, mu budde obw’omusana mw’asimbira ennyaanya ze nga teri mulimi mulala yenna asimbye olw’okuba nti buli omu atya okuteekamu ate n’emirimu emingi egyetaagisa okukola okusobola okukuza ennyaanya y’omusana.

Newankubadde ng’abalimi abasinga tutya omusana naye nakizuula nti wano we wali omukisa okulima n’ofunamu.

Mu budde buno nnina ennyaanya ezitandika okwengera nazisimba buli muntu agamba nti hhenda kufiirwa olw’okuba enkuba yali eweddeyo naye nga nkimanyi nti ndi mu kibalo era kati bookisi egula wakati wa 370,000/- ne 450,000/-.

Bwe nnoga bokisi ssatu mba nnina 1,000,000/- ate nga bansaze ku nnimiro ekintu ky’otasobola kufuna mu biseera by’enkuba.

Ng’oggyeko ezitandika okwengera era nnina n’ennimiro endala bbiri ze nsimbye mu kasana.

Kye nakola nayiwa bbeedi ne nzizimbako ekiyumba ekitakkiriza musana kutuuka ku ndokwa zange olwo ne nfukirira emisana n’olweggulo okutuusa bwe zaakula ne nzisimba.

Okukuza ennyaanya mu musana Okusobola okukuza ennyaanya zino endokwa nzisimba lwaggulo ng’enjuba egudde.

Mu kusimba tusimba bwe tufukirira ate mba nasaze dda endagala nga buli ketusimba tukabikako akalagala ketuba tumenye.

Kino tukikola okuziyiza omusana oguyinza okutta endokwa. ekyo bwe kiggwa ate tukwata essanja ne tubikka bulungi ekitundu ekiwedde okusimba okusobola okukuuma amazzi mu ttaka ennyaanya yaffe esobole okukula.

Ng’ennimiro yonna ewedde okusimba era nga n’okubikka kuwedde buli ku makya nze n’abantu bange tukeera okufukirira ennimiro ate n’olweggulo bwe tutyo.

Ebirungi by’okulima ku musana Newankubadde nga ku bantu abasinga kirabika ng’okulima ku musana kijjudde obuzibu naye nze kye nsinga okwenyumirizaamu.

Ebirime ng’ennyaanya bw’ozirima ku musana we zituukira oba weeramula ng’abasuubuzi bakunoonya bunoonya era bakusanga ku musiri olwo ne weeramula.

Ennyaanya ku musana teyetaaga ddagala era okufuuyira kuba kutono ate n’ekigimusa sikyamaanyi nga by’okozesa ku nkuba kubanga ku nkuba buli lw’etonnya olina okufuuyira eddagala ly’ebiwuka ate n’endwadde endala ziba nnyingi.

Engeri gye weeteekateekamu okulima ennyaanya ku musana

Zimba ekiyumba w’onoosimba nnasale. Olina okubeera n’ekifo w’oyinza okutereka amazzi agawera okumpi n’ennimiro, wano osobola okusima ekinnya oba n’okozesa amapipa agawerako.

Ofuna abakozi abawera abanaakuyamba mu kufukirira.

Olina okutegeka by’onoobikkisa ng’essanja lye lisinga okukola obulungi naye bw’oba tolirina ofuna essubi nalyo likola.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abataka1webuse 220x290

Tetugenda kusirika ng'ebika bisereba...

Bakatikkiro b'ebika balayidde obutaleka bika kusereba ne basalawo okwegatta bakolere wamu okubitumbula

Muzaata 220x290

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni...

Pulezidenti Museveni asisinkanye akakiiko ka poliisi akafuzi n’alagira abaserikale essira balisse ku kulwanyisa...

Lim21webuse 220x290

Engeri gy'olimira mu kkutiya okufuna...

Omusomesa akulaga bw'akozesa ebikutiya okukola ssente mu kulima enva endiirwa

Bebi 220x290

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu...

Aba Ghetto Kids bafunye ku kamwenyumwenyu

Pawa4 220x290

Gav't etongozza enteekateeka ya...

MINISITA w'eby’amasanyalaze n’obugagga bw’omuttaka Eng. Irene Muloni atongoza entekateeka empya gavumenti mwegenda...