TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abalimi b'emicungwa bakaaba lwa kirwadde ekigiguddemu

Abalimi b'emicungwa bakaaba lwa kirwadde ekigiguddemu

By Musasi wa Bukedde

Added 18th April 2019

Ekirwadde ekizibu okujjanjaba kigudde mumicungwa abalimi ne basattira

Kusiima11webusekusiimajane 703x422

Jane Kusiima (ku kkono) n'abamu ku bakozi be nga balaga omuti gw'omucungwa ogubaze

Bya Paul Kakande

Emicunga kye kimu ku bibala ebyeyongera akatale buli lukya era abalimi abaalengerera ewala baali baagitandika dda  era bagifunyeemu kuba mu kiseera kino kimuku bibala ebisinze okwettanirwa.

Wabula abagirima boolekedde okufiirwa emisiri olw’ekirwadde ky’ekikaata ekigiyisa obubi.

Mu kiseera kino ensawo y’emicungwa egula wakati wa 60,000/- ne 130,000/- okusinziira ku bulungi bwagyo era abagirima bagamba nti bafuna kye baasuubira, wabula obweraliikirivu babufunye mu ndwadde ezeesomye okubalemesa okugirima.

 usiima nabakozi be nga bakebera ebikoola byemicungwa okulaba nga tebirumbiddwa kawuka Kusiima n'abakozi be nga bakebera ebikoola by'emicungwa okulaba nga tebirumbiddwa kawuka

 

Endwadde ezikosa emicunga

Mu kiseera kino obulwadde obusinga okukosa emicunga kuliko:

  1. Ekikaata nga kino kyonoona  ebibala naddala ku lususu.
  2. Obulwadde  bw’ebikoola obubifunya.
  3. Obulwadde bw’ekigenge
  4. Obuwuka bwa namuginga ne munyeera nga buno bukosa ekikolo n’amatabi ne bukaza omuti gwonna.

Jane Kusiima nga mulimi wa micunga e Kiboga agamba nti, ennimiro ye erumbibwa obusaanyi obulya ebikoola n’ebibala nga bikyali bito ne kimufiiriza amakungula.

Ayongerako nti, n’ekirwade ky’ebikaata buli lukya kyeyongera ku nnimiro ye kyokka ng’akozesa eddagala okukifuuyira naye eddagala liringa eritakola.

Yasin Muyitale, omukugu mu by’ebimera agamba nti omucungwa gwe gumu ku miti egitalina ndwadde nyingi wabula obuzibu bwe gulina nti ate ezo entono ezigulumba zigutawaanya nnyo era tekyewuunyisa omuntu okubeera ne yiika y’emicunga n’eggwaawo mu myezi 2 gyokka.

Kubanga obulwadde obusinga okukosa emicungwa businga kutambuzibwa obuwuka obutono obuyitibwa bakitiriya ate ng’obwo buzibu okujjanjaba mu bimera.

 usiima nomu ku bakozi nga bakungula emivungwa Kusiima n'omu ku bakozi nga bakungula emivungwa

 

Kati obulwadde obulala obulabika ng’obunafu bwe bwo bw’osobola okugoba ng’okozesa eddagala erifuuyirwa.

  • Olw’okuba omulimi tasobola kwawula bulwadde buleeteddwa kawuka ki, kyandibadde kirungi bw’alaba omuti oguwotose aguteme ate agwokye awo aba ajja kulwanyisa obuwuka obutawona.
  • Okukozesa evvu ku micungwa kiyamba okugoba obuwuka omuli ebikennembi ne munyeera nabyo ebikosa emicungwa.
  • Okufuuyira emicungwa emirundi waakiri ebiri buli mwezi kiyambako mu kutta amagi g’ebiwojjolo ge biba bibiise ku bikoola agasobola okuvaamu ebisaanyi ebiyinza okumalawo ennimiro.
  • Okumanya ekika ekigumira endwadde nakyo kikulu, nga tonnasimba micungwa sooka ofune amagezi n’okuwabulwa okuva ku bakugu ku kika ky’osaanidde okusimba.
  • Ensimba oluusi nayo evaako okufa kw’emicungwa. Oluusi emicungwa gikala lwa nsimba mbi. Agenda okusimba emicungwa sima ekinnya kya ffuuti 2 wansi n’obugazi, weeyambise ettaka ly’olusenyusenyu ojjuze  ekinnya oluvannyuma osimbe omucungwa.
  • Ate bw’oba oteekako ebigimusa olekawo ebbanga okuva ku kikolo, naddala ng’okozesa ebigimusa eby’obutonde kubanga bibaamu obuwuka obuyinza okuyingira mu kikolo ate ne weekanga nga bugguse.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Babirye1 220x290

Judith Babirye azadde, kitaawe...

TAATA w’omuyimbi Judith Ba­birye akakasizza nga muwala we bwe yamutumidde okumutegeeza amawulire ag’essanyu nga...

Gd 220x290

Siyinza kuva mu ofiisi ya KCCA...

Kitaka yakedde mu ofiisi ye ku Mmande gye yavudde n’agenda ku mukolo gye yasanze Loodi Meeya Erias Lukwago kyokka...

Mbappe agenda mu Real Madrid

Real Madrid eri mu ssanyu olwa maama wa Kylian Mbappe, okutegeeza nga mutabani we bw’atajja kussa mukono ku ndagaano...

Thumbnailwalesbalecelebration 220x290

Gareth Bale yeerinde obusunga bw'abawagizi...

Nga tafudde ku bya kunyiiza bawagizi ba Real Madrid, essanyu lya Wales okuyitamu okuzannya empaka za Bulaaya (Euro...

Mourinhowasattractedbythequalityofthespurssquad 220x290

Mourinho alangiriddwa ku gw'okutendeka...

Kyaddaaki ssentebe wa Tottenham (Spurs), Daniel Levy yakutte ku mmanduso n’agoba omutendesi Mauricio Pochettino...