TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abavubi basabye gavumenti ssente beetandikirewo amakolero g’ebyennyanja

Abavubi basabye gavumenti ssente beetandikirewo amakolero g’ebyennyanja

By Musasi wa Bukedde

Added 19th April 2019

Abavubi bakooye okudondolwa ne basaba Gavumenti ebawe ensimbi beezimbire amakolero

Abamukubavubiababaddebeetabyemulukiikolunowebuse 703x422

Abamu ku bavubi b'e Buvuma abeetabye mu lukiiko

Bya Joanita Nakatte

Abavubi mu disitulikiti y’e Buvuma basabye gavumenti okubadduukirira n’ensimbi ezinaabasobozesa okwetandikirawo amakolero g’ebyennyanja agaabwe basobole n’okubyetundira ebweru w'eggwanga.

Bano baasinzidde mu lukiiko lw’abavubi olwabadde lwetabiddwaamu omukiise w’e Buvuma mu Palamenti, Robert Ndugwa Migadde, omubaka wa Pulezienti owa disitulikiti eno Agnes Nabirye, n’ab’ebyokwerinda abaateekebwayo okulwanyisa envuba embi nga lwategekeddwa ku Mukono Resort Hotel, okusala amagezi ku bwe bayinza okumalawo obutakkaanya obw’abaviiriddeko okussa wansi ebikola.

Bano okwekandagga obutaddamu kukola, kyaddiridde oluvannyuma lw’ebbeeyi y’ebyennyanja okukka okuva ku 15,000/- buli kkiro n’edda ku 5,000/- nga bagamba nti, babeera tebafunamu okusinziira ku nsimbi ze bakozesa okuvuba ebyennyanja ate nga nabo balina okwerabirira nga kw’ogasse ne famire zaabwe.

Baategeezezza nga kati bwe beetaaga okwekwatira mu nsonga y’okusunsula ebyennyanja n’okubyetundira, oluvannyuma lw’okukizuula nti ab’amakolero ababibagulako, babadondola kyokka bbo ne bafunamu ensimbi eziwera nga tebatunuulidde na mbeera gye bayitamu okuva ku musolo gwe basasula ogwongezebwa buli kaseera,nga ne bye bakozesa okubikwata biri ku buseere.

“Tusaba omukulembeze w’eggwanga atunule mu kusaba kwaffe kubanga twakizuula nti ab’amakolero baliwo kutufunamu bufunyi nsimbi bbo bagaggawale nga ffe eno twavuwala.

mubaka wa ulezidenti mu kitundu kye uvuma gnes abirye ngayogerako eri abavubiOmubaka wa Pulezidenti owa disitulikiti y'e Buvuma, Agnes Nabirye ng'ayogerako eri abavubi

 

Twetaaga wateekebwewo n’akakiiko akalondoola bannamakolero abatugulako ebyennyanja banoonyerezebweko ku muwendo gw’ensimbi gwe batunda ebyennyanja ebweru w’amawanga ag’enjawulo ate era wabeewo n’omuwendo gwa ssente ogw’ekkomo ogwa 10,000/- kwe tulina okutandikira okubitunda sso si 5,000/- nga bwe guli kati,” abavubi bwe baategeezezza.

Bano era baatabukidde minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulimi n’obulunzi mu ggwanga, Vincent Ssempijja olw’obutafaayo kumanya kituufu ku nsonga zaabwe ezibaluma ng’abavubi, nga kw’ogasse n’okubasalira amagezi ku bwe bayinza okutebenkeza ebbeeyi y’ebyennyanja baddemu okuddukanya emirimu gyabwe.

“Kya buswavu nti minisita avudde ku bye  yatusuubiza, tamanyi na bigenda mu maaso ku nsonga zino. Ekisinga okutuluma kwe kudda mu Palamenti n’ayogera by’atamanyi ng’ebbeeyi y’ebyennyanja bw’eri ku 10,000/- kyokka nga yakka ku 5,000/-, by’ayogera byonna byongera kutwonoonera mulimu gwaffe,” bwe baategeezezza.

Ababaka okwabadde, Robert Migadde Nduggwa ne Egunyu Nantume baawagidde abavubi bano obutaddamu kukola mirimu gyabwe ne babasaba obutapondooka okutuusa nga gavumenti evuddeyo ku ky’okutereeza ebbeeyi y’ebyennyanja n’embeera gye bakoleramu.

Robert Migadde Ndugwa, yabasuubizza okutuusa ensonga zaabwe eri minisita azivunaanyizibwako ne mu Palamenti ziteesebweko naddala ku ky’okukendeeza ku muwendo gw’ensimbi ogw’ebintu bye bakozesa okuvuba okuli obutimba, amaato n’ebirala nga bino bye bivuddeko okugula obutimba obwa layisi obubalemezza mu nvuba embi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ramos4542051 220x290

Ramos mukoowu mu Real

Ramos yatudde ne pulezidenti Perez ne beegeyaamu ku by'okusigala kwe mu Real Madrid.

Kasirye1 220x290

Batadde kkamera 200 e Namugongo...

ABABADDE beesunga okukola effujjo e Namugongo bubakeeredde, abeebyokwerinda bwe baatadde kkamera ezisboba mu 200...

Vision Group etegese omudaala ttabamiruka...

OLWALEERO kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde etegese olukung'aana lw’okukubaganya ebirowoozo n’okusomesa...

Chelsealampard 220x290

Chelsea eswamye Lampard

Abakulira Chelsea tebaamatidde bukodyo bwa Sarri era banditandika okuyigga omutendesi omulala

Funa1 220x290

Engeri abakola mu bbanka gye babba...

POLIISI mu kubuuliriza kwayo ku mukozi wa Barclays Bank, Nashiba Naiga agambibwa okubba obukadde 190 ku akawunta...