TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Gav't eweze okugaba eddagala lya FMD eribadde likozesebwa okulwanyisa omusujja gw'enkwa

Gav't eweze okugaba eddagala lya FMD eribadde likozesebwa okulwanyisa omusujja gw'enkwa

By Herbert Musoke

Added 23rd July 2019

MINISITULE y’obulimi, obulunzi n’obuvubi eweze mbagirawo okugaba eddagala eribadde likozesebwa okugema omusujja gw’enkwa n’obulwadde bwa kalusu mu nte oluvannyula lw’okukizuula nti lwatandika okuccupulwa.

Laga 703x422

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa minisitule eno ne kissibwako omukono gwa minisita Vincent Bamulangaki Ssempijja, minisitule eriko kkampuni gye yakwasa omulimu gw’okuleeta kuno ddoozi z’eddagala lino 500,000 era ne lisaasaanyizibwa mu ggwanga ne bagattako ne kalantiini kati ekulungudde okusoba mu mwaka kati mu bitundu ebimu, kyokka obulwadde busigadde bwegiriisa ekyabawaliriza okussaawo okunoonyereza ne bakizuula nti lyali liccupuddwa.

Minisita Ssempijja agamba mu kiwandiiko nti ensonga zaakwasibwa poliisi okwongera onoonyereza n'okukwata bonna abavunaanyizibwa ku nsonga eno bavunaanibwe.

Mu ngeri y'emu gavumenti yeddizza obuvunaanyizibwa bw'okugula eddagala lino okuva mu balikola n'okulituusa ku balunzi era ng'abaaweebwa ery'ebiccupuli beebagenda okusokkerwako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.