TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Emisomo gya Vision Group egy’obulimi n’obulunzi gikomyewo

Emisomo gya Vision Group egy’obulimi n’obulunzi gikomyewo

By Herbert Musoke

Added 5th August 2019

ABALUNZI abagenda okwetaba mu misomo egitegekeddwa kkampuni ya Vision Group etwala ne Bukedde ne gissibwamu ssente aba Koudjis Nutrition Bv, okusobola okufuna okutendekebwa okutuufu.

Unity1 703x422

Yohan Verhoek owa Koudji ng’asomesa abalimi kw’olabira enkoko etakyabiika mu musomo gw’ebyobulimi ogwaliwo omwaka oguwedde.

Abakugu bagamba nti, omuntu yenna anaagaggawala alina okumanya okukuuma obudde kuba buli ddakiika gy’osuula ekufiiriza kinene.

Noolwekyo abalunzi bonna abaneetaba mu misomo gino basuubirwa okutuuka awasomeserezebwa nga tezinnawera ssaawa 3:00 emisomo kwe gitandikira okusobola okumalayo ebitegekeddwa okusomesebwa mu budde.

Emisomo gino kitundu ku nteekateeka y’empaka z’omulimi asinga nazo ezitegekebwa Vision Group ne zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM ne Koudjis era nga gigenda kutegekebwa mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo era nga gy’akubeera ku ffaamu z’abawanguzi b’empaka zino.

Omusomo ogusooka gwakubeerawo ku Lwokusatu nga August, 07 ku ffaamu ya Aloysious Lubega owa Bulamu Mixed farm e Nabutiti nga guno essira lya kussibwa ku bulunzi bw’embizzi n’ente obukola amagoba.

Mu bugwanjuba bwa Uganda, omusomo gwakubeera ku Awa Mixed farm eya Betty Kasabiti Mbaziira. e Kamuli gwakubeera ku ffaamu ya Julius Bataamye n’omulala gutegekebwa mu bukiika ddyo bw’eggwanga.

Okusinziira ku Francis Baguma, kitunzi wa Kafiika Feeds abatuusa emmere ya Koudjis mu ggwanga agamba nti emisomo gino kirimu amagezi mangi ag’ekikugu eri abalunzi agagenda okubayamba okutumbula ennyingiza okuva mu ffaamu zaabwe.

Okugeza, endiisa y’ente z’amata eyongeza obungi bw’amata, engeri y’okukakasa nti enkoko zo zisobola okubiika okutuuka ku bitundu 90 ku 100, okukuuma obulamu bw’ebirundibwa ku ffaamu n’okuddamu ebibuuzo byo ebikusiiwa”, Baguma bw’agamba. Lubega agamba nti, “abalunzi bagenda kusomesebwa bingi okutandikira ku lulyo, endabirira y’eddundiro n’ensolo ey’omulembe, emmere, okutangira obulwadde, okunoonya akatale n’ebirala.”

“Abakugu okuva e Budaaki bagenda kubeerawo okukuwa endabirira y’omutindo ogusingayo egenda okukufunisa amagoba mu ffaamu yo ate nga nange hhenda kugabana nammwe obukugu bwe nafuna okuva e Budaaki ku lugendo lwe nnaliko nga mpangudde empaka z’omulimi asinga”, Lubega bw’agambye n’ayita buli akola obulunzi nga bizinensi.

Okwewandiisa weereza erinnya lyo ku jkato@ newvision.co.ug; oba weereza obubaka bwa ssimu ku 0789353585/0712841688 oba whatsApp +256789353585.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Det2 220x290

Famire ekyasattira olwa ssemaka...

Famire ekyasattira olwa ssemaka okubula

Lip2 220x290

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala...

Bakutte abadde alimba abantu okubatwala ku kyeyo

Sab 220x290

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa...

adde abba ATM ku bantu akwatiddwa

Fut2 220x290

Akulira kkampuni etwala abantu...

Akulira kkampuni etwala abantu ku kyeyo akwatiddwa lwa kufera

Set1 220x290

Omuyambi wa Museveni bamuloopye...

Omuyambi wa Museveni bamuloopye