TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Abalimi basomeseddwa okukola ekigimusa okuva mu musulo gw’abantu

Abalimi basomeseddwa okukola ekigimusa okuva mu musulo gw’abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2019

Abalimi basomeseddwa okukola ekigimusa okuva mu musulo gw’abantu

Fot2 703x422

Abantu nga basomesebwa enkozesa y’omusulo.

ABALIMI basula batakula mitwe okunoonya engeri gye basobola okwongera ebirungo bya Nitrogen, Phosphorus ne Potassium ekimanyiddwa ennyo nga NPK ebiriisa ebirime okuva mu ttaka okuliisa ebirime bafunemu ekiwera.

Wano ab’ekibiina kya African Science Graduate Organization, we bajjidde n’enkola y’okukozesa omusulo gw’abantu okugimusa ettaka olwo abalimi basobole okufuna mu ffaamu zaabwe n’okwekulaakulanya.

Mesullam Wakobere omu ku badayirekita b’ekitongole agamba nti, omusulo gufumbekeddemu obugagga okuviira ddala mu birungo ebijimusa ettaka okutuuka ku birungo ebirala ebisobola okuvaamu amafuta, ebyuma n’ebirala okusinziira ku tekinologiya gwe mulina. “Mu kiseera kino ffe tutandise n’omusulo okuguggyamu ebijimusa by’amazzi okuyamba abalimi ababadde bafiirizibwa ssente ze bassa mu kulima n’abalala mu kugula ebigimusa by’ebicupuli”, Wakobere bw’agamba.

Bano bagamba nti, baatandika okukuhhaanya omusulo nga mu kiseera kino bali mu disitulikiti 70 nga buli sitoowa esangibwa mu disitulikiti mulimu liita ezisoba mu100. “Omusulo guno tugugula kuva mu bantu nga bano balina okusooka okusomesebwa mu nkola zaffe kuba twagala omusulo omulamu era wano tubawa akuuma ke bassa mu kadomola ka liita emu olwo buli liita ne tugibagulako 32,000/-“, Wakobere bw’agamba.

Ye Hassan Ssembatya agamba nti, baagala okusooka okuweza abantu abasobola okubawa obungi bw’omusulo gwe beetaaga olwo batandike okugussa ku katale wabula nga mu kiseera kino bakyatalaaga eggwanga okusomesa abantu bonna ebirungi n’enkola yaabwe gye bagenda okukola ekigimusa ku musulo. Bano bagamba nti boogerezeganya n’abakulembeze okulaba nga batambulira wamu mu kusomesa abantu n’okulaba nga beegatta ku kibiina beeyongera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo

Sam13 220x290

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e...

Minisita Sam Kuteesa awadde ab'e Mawogola Ambulance n'ebimotoka by'amazzi mu kaweefube w'okutangira COVID-19

Rob12 220x290

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo...

Abavubi ku mwalo gw'e Kawunge bataddewo embeera y'okulwanyisa COVID-19

Dav1 220x290

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa...

Mukyala w'omuyimbi Davido akwatiddwa ekirwadde kya Coronavirus

Thequeeneliabethiienglandcrowntodaynewslatestroyalfamily1180775 220x290

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu...

Kkwiini akkakkanyizza emitima gy'abantu