TOP

Mu nte emu nafunamu ekiraalo ky’endala mukaaga

By Musasi wa Bukedde

Added 19th August 2019

Mu nte emu nafunamu ekiraalo ky’endala mukaaga

Kp2 703x422

Kazibwe ng’akozesa akuuma okutemaatema omuddo gwe baliisa ente zaabwe.

KKAMPUNI ya Vision Group efulumya ne Bukedde ng’eri wamu n’ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi eya KLM n’ekola emmere y’ensolo eya Koudjis enoonya omulimi n’omulunzi asinga mu Uganda omwaka gwa 2019 wansi w’omulamwa ogugamba nti, Obulimi nga bizinensi.

Okuvuganya oweereza amannya go oba omulimi n’omulunzi gw’omanyi ku kitundu kyo ku 8338, Email, omulimiasinga@ newvision.co.ug. Wandiika amannya g’omulimi, ekyalo kw’abeera, disitulikiti n’ennamba y’essimu.

Leero HERBERT MUSOKE akuleetedde Micheal Kazibwe omulunzi w’ente. OKWETEEKERATEEKERA ekiseera nga tolina mulimu kimu ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu bw’abakozi kuba bangi bakaluubirizibwa obulamu mu kiseera ekyo naddala eky’okuwummula abamu ne batuuka n’okufa amangu.

Lino ly’ekkubo Micheal Kazibwe 54 akulira essomero lya Balawoli SSS e Kamuli ne mukyala we Prossy Kazibwe lye baakwata ne batandikawo eddundiro mu maka gaabwe ku kyalo Namazaala mu ggombolola y’e Lusede mu disitulikiti y’e Jinja kw’alundira ente z’amata n’embizzi.

Bano bagamba nti baasalwo okutandika okulunda kuba baakiraba nga ly’ekkubo omuntu lw’asobola okuggyamu ssente z’ensibo ate ng’ekiseera kigenda kutuuka ng’omulimu guweddewo kuba etteeka bwe liragira. “Ng’oli ku mulimu ogutali gwa kkampuni yo, olina okwetegekera akaseera nga guweddewo kuba tomanya mbeera eyinza kugwawo ate nga n’ennyongereza nayo tebeera ntono kuba ku musaala kubeera kwetaaga okwongerezaako osobole okuyitawo n’okubeera mu bulamu obweyagaza”, Kazibwe bw’agamba.

OKUTANDIKA Kazibwe annyumya nti ffaamu eno yatandika emyaka egiwerako emabega bwe yafuna ente nga muwala we ayanjula bba. yatandika n’ente eno ate mu 2011 n’akyusa okudda ku nte z’amata ennongooseemu. “Mu mwaka gwa 2011 aba NAADS baali bagaba ente ffe ne tubasaba okutuwa ssente ze baali bagenda okukozesa okugula ente 700,000/- ne twongerezaako 400,000/- okwegulira ente y’olulyo era twagifuna ku kakadde kamu n’emitwalo kkumi”, bw’agamba.

Twatunda ente ennansi musanvu okufuna ssente zino n’okuzimba ekiyumba mwe bagissa era bangi baabayita basiru okutunda ente enkulu ne tugulamu ennyana obuwanana kyokka nga bo ekigendererwa kyabwe bakimanyi bulungi era Kazibwe agamba nti tebejjusa. Eno evuddemu ekiraalo kati kya nte mukaaga nga ku zino kuliko ssatu ezizaala nga zivaamu liita 57 z’atunda ku 1,200/- buli emu.

“Ente zaffe zonna zirina amannya nga gano ga kirina kuba wamu abaazeesooka okuzebbulamu. Eyasooka ye Pretty ng’eno yazaala Jessica, Doreen, Babra ne Aisha. Ate Doreen yazadde Arthur ne Babra n’azaala Kisakye nga zino ziri mu myezi ebiri”, Kazibwe bw’agamba

. OKULABIRIRA EDDUNDIRO Kazibwe olw’okubeera nti mukulu wa ssomero, tabeerawo naye mukyala we Prossy Kazibwe ye maneja wa ffaamu eno era byonna bitambulira ku ye era nga yava ne ku mulimu gwe ogwa ofiisi gwe yaliko. “Ente zaffe tuziriisa omuddo ebika eby’enjawulo okukakasa nti emibiri gyazo gifuna ebiriisa bye gyetaaga okusobola okuvaamu amata agawera”, Kazibwe bw’agamba.

Wano batema omuddo gwe bakaza ekika kya Hay n’omubisi gwe batemaatema nga bakozesa akuuma akakozesa amasannyalaze n’okuziwa emmere entabula okusinziira ku bbanga lyazo. “Ente zaffe tutandika okuziwa emmere y’ente z’amata nga bukyali.

Eno eziyamba okugejja ekibeere kizisobozesa okuvaamu amata agawera. Okugeza Aisha ya myezi 13 kyokka kati erabika ng’enkulu ddala lwa ndabirira nnungi”, Kazibwe bw’agamba. Bano era ente zaabwe bazitabulira sukaaliggulu mu mazzi ssinga bubeera budde bwa nkuba nga Kazibwe agamba nti kino bakikola kuba sukaaliggulu ayamba ente okufuna amaanyi.

Ate mu biseera by’akasana ng’omuddo gwa bbula we zisinga okuliira omukalu, bamukozesa okuweweeza omuddo guno nga tebannaba kuguwa nte nga bamutabula mu mazzi ge bamansira oba okunnyikamu omuddo guno.

Ate zino era ziweebwa omunnyo gw’ekibulooka nga guno gusibwa olwo ne zitandika okukomba kuba guyamba ente okuguma amagumba n’okufuna ebirungo ebirala mu mubiri gwayo ebigiyamba okubeera ennamu obulungi n’okuvaamu amata. “Ng’oggyeko endiisa, ente z’olulyo zirina okukuumibwa nga nnamu bulungi era wano tu

zijjanjaba n’okuzifuuyira buli luvannyuma lwa wiiki bbiri ate ekiyumba kyozebwa buli lunaku okukakasa nti ente zikuumibwa nga nnyonjo ekiseera kyonna n’okuzitangira okukwatibwa obulwadde bw’ebbanyi obuva ku nywanto okutuula awacafu”, Kazibwe bw’agamba. Ente zino zivaamu amata agasoba mu liita 20 buli lunaku nga Pretty evaamu 20, Doreen 24, Barbra 13 ate endala zaakamiza nga zinaatera kuzaala.

“Njagala kubeera n’ente nnya zokka nga buli emu empa liita 30 olunaku ekitegeeza nti mbeera nfuna liita 120 era byonna by’enkola we bitunudde nga neekakasa hhenda ku kituukiriza”, Kazibwe bw’agamba. Okulabirira ennyana Ennyana ky’ekiraalo era omulunzi yenna ayagala okusigala ng’azimba ekiraalo alina okukakasa nti ennyana zirabirirwa bulungi ne zikula nga zamaanyi okusobola okumuwa ekisinga nga zikuze. “Ennyana zaffe bwe zibeera nga nto ziweebwa liita z’amata 12 olunaku.

Tukama emirundi esatu olunaku kuba ennyana bwe zibeera nto tezisobola kusiiba njagala okuva ku makya nga wano buli lukama tuziwa liita bbiri olwo ne tugenda nga tukendeeza buli lwe zeeyongera okukula nga ku myezi esatu tuziwa liita nnya ate ku myezi ena ne tuziwa liita bbiri nga gano tuzigaweera mu bbaketi”, Kazibwe bw’agamba. Ayongerako nti ku mwezi gumu n’ekitundu batandika okuziwa emmere y’empeke amanyiddwa nga ‘Early weaning pellets’, nga buli kasawo ka kkiro 10 kagula 10,000/-. “Kuno tugattako omuddo nga Mulinga, ddoodo, omululuuza n’omulala”, bwagamba. Okukola Bio-Gas Kazibwe agamba nti, buli lunaku bayonja ekiyumba kyabwe ne baggyamu obusa olwo ne babukozesa okukola Bio-gas ng’ono bamweyambisa mu kufumba. “Ebiva mu kukola Bio-gas tubyeyambisa mu mmere y’embizzi era ne mu nnimiro g’ebigimusa naddala mu bisagazi n’olusuku. Kino kikuuma ennimiro ga njimu.

EMBIZZI Prossy Kazibwe nga ye mukyala wa Kazibwe era y’addukanya ffaamu eno agamba nti, baayingira obulunzi bw’embizzi nga basinga kutunuulira kutunda baana baazo era nga batunda ku 70,000/- buli kamu ku myezi ebiri nga mukyala Kazibwe agamba nti, embizzi zaabwe ziri ku katale kuba za lulyo.

“Mu kiseera kino tulina embizzi 34 nga zino zaava mu mbizzi bbiri ze twagula ku 60,000/- buli emu ekika kya Large White mu 2010. Emizzi zaffe zirabika bulungi kuba tuzirabirira mu ngeri ey’enjawulo nga tuziriisa emmere etabuddwa obulungi n’omuddo”, Muky. Kazibwe bw’agamba. Annyonnyoola nti. okugezaako okukendeeza ku nsaasaanya baziwa ebivudde mu busa obukoleddwamu bio-gas kyokka ssi bye byokka bye bagabirira embizzi zaabwe kuba zirina okuweebwa emmere zikule obulungi. AMAZZI Kazibwe agamba nti okumala ebbanga baalina ekizibu ky’amazzi ng’ekitundu ate ng’ente zaabwe zinywa ebidomola 10-15 olunaku okusobola okubeera obulungi ekyazifuulanga ez’obuseere okugakima okuva ewala 

ENGER GYETULIMAMU OMUDDO GW\'ENTE ZAFFE

Ayagala okulunda ente nga bizinensi alina okubeera n’omuddo ogw’ebika eby’enjawulo ogulimu ebiriisa eby’enjawulo mu nsolo. Agamba nti, tosobola kuliisa nte muddo gwa bulijjo ogutemebwa ku ttale n’oliisa ente olwo n’osuubira nti ogenda kuzifunamu amata kuba emibiri gibeera tegifunye biriisa bye gyetaaga kukola mata nga wano kikwetaagisa okulima omuddo osobole okugabirira ente zo mu ngeri ey’enjawulo.

“Mu kiseera kino tulinawo yiika y’ebisagazi emu wabula tulina enteekateeka z’okusigulawo ebikajjo bye tubadde nabyo ku yiika nnya mu January, olwo tusimbewo omuddo nga mu kiseera kino tugulina mu bulimiro obutono okusobola okwazisa ensigo okukakasa nti we tunaafunira aw’okusimba nga tulina ensigo emala”, Kazibwe bw’annyonnyola. Ebika by’omuddo kuliko; Kasibaniya, Lusina, caliandra, ebisagazi eby’ebika eby’enjawuko, ebijanjaalo, n’omulala nga guno gwonna gubeera n’ebirungo eby’enjawulo ensolo bye yeetaaga nga tesobola ku 

Ffenna mu maka tukolera wamu 

      “Wano twalina okusala amagezi era twasima oluzzi n’amazzi ne tugatambuza ku ffaamu okuyita mu payipu nga byonna byatutwalako obukadde munaana”, Kazibwe bw’agamba.

Embizzi zino bazirundira mu nkola y’obukuta bwe bayiwa mu biyumba olwo obusa ne bwetabulira muli nga bagamba nti eyamba okukuuma ekiyumba nga tekiwunya ate nga kiyonjo. “Buno tubuyoolamu oluvannyuma lw’ekiseera ne tubutwala mu nnimiro ng’ebijimusa era nga n’abalala abaagala okujimusa ennimiro zaabwe tububaweera bwereere”, bw’agamba.

FAMIRE Mukyala Kazibwe agamba nti famire yonna yeenyigira mu kuddukanya eddundiro lyabwe nga y’ensonga lwaki balina omukozi omu yekka kuba ye n’abaana bonna bakolera wamu emirimu. “Nze nasalawo okuva ku mulimu gw’obuwandiisi gwe nnaliko ku ssomero erimu kuba nakizuula nga ffaamu eno esasula bulungi okusinga omulimu gwa ofiisi gwe naliko era okuva olwo sejjusa kuba tewali kye njula”, muky. Kazibwe bw’agamba.

Ono agamba, abaana nabo baagala okulunda ng’eno y’ensonga lwaki buli omu yeekwata ennyana ezaaliddwa okugituuma erinnya lye. “Muwala waffe Catherine Nandaula yawangula empaka z’obuyiiya ku ssomero gy’asomera naweebwa bbasale nga kati asomera bwereere”, Muky. Kazibwe bw’agamba.

Ono annyonnyola nti, Nandaula y’abakolera ekirungo ekiyitibwa IMO gye batabula mu bukuta bwe bassa mu mbizzi bw’abeera mu luwummula olwo bbo ne basigala nga bakikozesa era ng’afuba okulaba ng’atabula okumalako oluwummula ate ng’abalala bonna beebabeera mu mirimu omuli; okukola ekiraalo, okukyoza, okugabirira, okutema omuddo n’ebirala.

OKUGASA EKITUNDU Ekizibu ekisinga mu kitundu kino kukyusa ndowooza z’abantu kuba bangi balaba ng’okulunda kwa kubamalira biseera wadde nga tebalina kye bakola wadde ng’azze abayita emirungi mingi okujja abasomese n’okumwebuzaako ku nsonga ez’enjawulo. “Waliwo abamu abazze n’abalala ne basikirizibwa olw’endabira n’engeri gye nfuna mu ffaamu yange era waliwo be ndaba nga batandise nabo okukyusa enkola gye baddukanyaamu ffaamu n’amalundiro gaabwe”, Kazibwe bw’agamba.

OKUKUUMA EBITABO Muky. Kazibwe agamba nti, ebitabo bya ffaamu eno bikuumibwa bulungi era nga bawandiika buli kikolebwa ku ffaamu omuli ensaasaanya, ennyingiza, ennaku z’okugema, ente kwe ziwakidde, kwe zizaalidde n’ebirala. Agamba nti kino kibayamba okulondoola obulungi entabula y’eddundiro lyabwe n’okukola enteekateeka zaabwe nga basinziira kyebyo bye balabye.

OKUSOoMOOZEBWA Kazibwe agamba nti, okusoomoozebwa kwe balina okusinga mu kiseera kino kwa nsowera ezitafa ne bwe bazifuuyira ezitawaanya ente zaabwe. “Okusoomoozebwa okulala kwa ddagala oluusi eribeera effu ate nga lya buseere kyokka kino tukirwanyisa nga tugula mu maduuka agatunda ebikozesebwa mu kulunda agalina amannya g’okukuuma nga gano gafuba okulaba nga gatunda mutindo”, Kazibwe bw’agamba.

ENTEEKATEEKA Z’OMUMAASO Enteekateeka esookera ddala ba Kazibwe gye balina ya kulaba nga basimba omuddo oguwera kuba babadde beesigama ku bisagazi byokka bye bagamba nti okusinziira ku bye baagala okutuukako tebasobola ku byesigamako byokka okufuna ebiriisa ente bye zetaaga. “Twagala okubeera n’ente nnya zokka kyokka nga buli emu etuwa liita z’amata 30 olunaku olwo ne tubeera nga tufuna liita 120. Ssinga tuzitunda ku 1,200/- buli liita kitegeeza tubeera tufuna 144,000/- olunaku olwo omwezi ne tufuna 4,320,000/-“, Kzibwe bw’agamba

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...