TOP

Bakubiriziddwa ku mmere ey’omu ttaka

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd September 2019

GAVUMENTI ekunze Bannayuganda okwettanira okulima n’okulya emmere ey’obutonde oba emmere ennansi kuba erimu ebirungo ebiyamba okulwanyisa endwadde nga kookolo, sukaali, puleesa, omugejjo, abaana obutakonziba bwongo, n’ebirala ebisusse okutwala ku Gavumenti ssente ennyingi ate n’okukuba abantu obwavu nga babijjanjaba tebiwona.

Laba 703x422

Kaminsona Alex Bambona ng’abalimi bamulaga emu ku mmere ennaansi eya balugu alimibwa mu Kyaggwe bwe baabadde ku Hotel Africana.

Bino byabadde mu musomo eri bannamawulire abasaka ag’ebyobulimi n’obulunzi okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo ogwategekeddwa Minisitule y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi n’ekitongole ky’ensi yonna ekitumbula obulimi bw’emmere ennaansi ekya Hivos okuva e Netherlands ku Hotel Africana ku Lwokuna.

Omugenyi omukulu era kaminsona mu minisitule y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi, Alex Bambona yagambye nti, Bannayuganda okulya emmere embi (Fast Foods) kissa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso mu katyabaga kuba abaana baakonziba obwongo ne batasoma bulungi ssente nnyingi Gavumenti z’eteeka ku byenjigiriza ne zifa, ate abantu abakulu balumbibwa ebirwadderwadde ebitawona ensaasaanya ya Gavumenti ku byobulamu ne yeeyongera mu kifo ky’okuzissa ku mirimu gy’enkulaakulana emirala.

Yagambye nti, Minisitule y’ebyobulimi obulunzi n’obuvubi oluvannyuma lw’okukizuula nti emmere ey’obutonde nnyangu okufuna mu bitundu ebitali bimu ate nga erimu ebirungo ebirwanyisa ebirwadderwadde mu baana n’abakulu batandise kaweefube w’okugitaasa obutasaanawo, okukunga abalimi okugirima mu bungi, okugirya n’okutundako, era n’okukuuma ensigo zaayo mu buli kitundu.

Yagambye nti, ekizibu ky’endya embi mu ggwanga kinene naye bannamawulire tebakoze kimala okulabula abantu n’alagyanira ebitongole by’amawulire byonna mu ggwanga okusitukiramu ku nsonga eno.

Immaculate Daisy omukungu okuva mu kitongole kya Hivos yagambye nti, Hivos ejja kukolaganira wamu ne Gavumenti okutumbula obulimi bw’emmere ennansi mu bitundu by’eggwanga ebitali bimu n’annyonnyola nti emmere eno emanyiddwa mu nsi yonna nti yaamugaso eri obulamu bw’abantu n’ebisolo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...