TOP
  • Home
  • Ebyobulimi
  • Mujjumbire obulimi n'obulunzi okukuza essaza ly'e Busujju

Mujjumbire obulimi n'obulunzi okukuza essaza ly'e Busujju

By Lilian Nalubega

Added 24th September 2019

Ab'e Ssaza ly'e Busujju basabiddwa okwenyigira mu mirimu egikulaakulanya ekitundu kyabwe naddala okulima n'okulunda basitule ebyenfuna mu Ssaza ne mu maka gaabwe

Busujju3webuse 703x422

Kasujju Mark Jjingo Kaberenge, wakati, ng'alaga abamu ku bakiise ku lukiiko lw'essaza ebirina okukolebwa.

Bya Lilian Nalubega  

Abantu ba Kabaka mu Ssaza ly'e Busujju basabiddwa okwenyigira mu nteekateeka z'essaza ezigenderera okukulaakulanya essaza kubanga lino ly’ekkubo erigenda okuyitibwamu okusitula embeera z'abantu mu kitundu.

 kimu ku bizimbe ebigenda okumalirizibwa muteesezebwemu Ekimu ku bizimbe ebigenda okumalirizibwa muteesezebwemu

 

Omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Mark Jjingo Kabetenge III yagambye nti okusoomoozebwa n'okuddirira mu nkulaakulana ya Busujju baakubyang’anga nga batandikira ku mbuga y'essaza e Mwera - Nsero era nga pulojekiti ze bataddeko essira okubeera ekyokulabirako eri abantu mulimu okulima ensuku ku ssaza, okulima emmwaanyi, okuzimba embuga y'essaza n'endala nga zino ze zimu zaakukolebwa ne ku mbuga z'amagombolola, ku miruka ate ne mu maka g'abatuuze wonna mu ssaza.

 Olumu ku nsuku ezisimbiddwa ku Ssaza okufunamu ensimbi

 

"Mu kiseera kino twagala kumaliriza ofiisi ya ssaza eyatandikibwa okuzimbibwa mu 2016 nga kati twagala okugisereka. Olw'okuba ng’omulimu twagutandikako dda kati tunoonya obukadde 40, tulabe nga eggwa ate era n'okuddaabirizaako ekisenge ekiteesezebwamu eky'essaza.

Tewali ngeri gye tusobola kukunga bantu mu ggombolola okukola nga ku mbuga enkulu nawo tewawa maanyi," bw’atyo Kasujju Kaberenge bwe yagambye.

 kimu ku bizimbe ebigenda okuzimbibwa ku ssaza Ekimu ku bizimbe ebigenda okuzimbibwa ku ssaza

 

Yayanjudde olukiiko olukulemberwa omubaka omukyala, Judith Nabakooba Nalule ne David Lukyamuzi Kalwanga okukulemberamu okunoonya ensimbi ez'okumaliriza omulimu guno.

Yakubirizza abantu abasibuka mu Busujju kyokka nga bali mu bitundu by'eggwanga wonna okwenyigira mu nteekateeka zino okutumbula essaza.

 Sarah Nannyunja Munani akubiriza Bannabusujju okusitukiramu okukola essaza lyabwe lireme kuswala

 

"Bw'ozaalwa e Busujju ng’okolera Kyaddondo tekikufuula wa ssaza eryo. Okukulaakulanya ebitundu gye tuzaalwa buvunaanyizibwa obwa buli muntu noolwekyo bwe tukolera wamu enkulaakulana tejja kutuleka," Kasujju bwe yakkaatirizza.

 otilda ikomeko Cotilda Kikomeko agamba nti, amasaza si ga bakulembeze bokka wabula n'abantu baago yonna gye bali baveeyo bakwatire wamu okwekulaakulanya

 

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi, ng’ayita mu kitongole kye ekya Gavumenti ez'ebitundu yateekawo enkola ey'okugabira amasaza n'eggombolola ezisinze zinnaazo okukola ebirabo ate n'omuvubuka asinze banne okwerwanako mu bulimi ng’enkola eno eyongedde okukubiriza amasaza okwerwanako.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsonga 220x290

FUFA etongozza kampeyini ya AFCON...

FUFA etongozza kkampeyini ya Uganda okugenda mu Africa Cup of Nations e Cameroon omwaka ogujja ne bateekawo engombo...

Fufaafconprepsoct23bukedde6 220x290

Cranes yaakutambulira mu Bombardier...

Abakungu ba FUFA bagamba nti ennyonyi ya Uganda Airlines y'egenda okubatumbuza nga bagenda okuzannya Burkina Faso...

Capture 220x290

Poliisi ekutte omuwala abba ssente...

Poliisi ekutte omuwala abba ssente ku masimu: Akoppa pin code n'azeesindikira

Buv1 220x290

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku...

Omuliro gusaanyizzaawo ebintu ku kizinga e Buvuma

Kcca1 220x290

Ow'e Swaziland waakulamula ogwa...

Sifiso Nxumalo, Petros Mzikayifani Mbingo (Swaziland) ne Njabulo Dlamini (South Sudan)baakuyambako Thulani Sibandze...