TOP
  • Home
  • Emboozi
  • Muyigirize abayizi ebyobulimi n’obulunzi

Muyigirize abayizi ebyobulimi n’obulunzi

By Musasi wa Bukedde

Added 14th October 2019

Abazadde muyigirize abaana okulima n'okulunda n'abasomesa bongereze okwo

Omwanaasobolaokulimilamumipiiraemikaddewebuse 703x422

Abayizi basobola okusomesebwa nga balimira mu bipiira

Bya Stella Naigino

Ebiseera ebisinga, abaana bwe bagenda ku masomero, balowooza nti bagenze kusoma bya mu mutwe byokka era bw’obabuuza nti emmere gye balya eva wa, abasinga bajja kuddamu nti eva mu dduuka oba mu katale.

Abaana tebamanyi nti, emmere bagirima ne bagikungula ssaako okugirongoosa nga tennatuuka mu katale oba mu maduuka.

 bayizi nga bagabirira obumyu Abayizi nga bagabirira obumyu

 

Noolwekyo abakugu mu by’okulima n’okulunda bakubiriza abasomesa okusomesa abaana ebintu bino bakule nga babimanyi kuba  ennaku zino bye bisinze okuyimirizaawo abantu mu byenfuna.

Moses Sabika, omulimi era omulunzi agamba nti, abaana balina kutandikira waka okuyigirizibwa obulimi n’obulunzi olwo abasomesa bongerezeeko.

Agamba nti, tekyetaagisa yiika okulima kuba omuntu asobola okulimira mu buveera, obukutiya, emipiira gy’emmotoka, nga kw’otadde n’okulunda.

 ark utebi ngasimba emiti Mark Mutebi ng'asimba emiti

 

Tom Lubuulwa naye mulunzi agamba nti, okulunda ennaku zino omuntu ne bwatabeera na ttaka ddene, asobola okulunda.

Agamba nti, okuyigiriza omwana ng’akyali muto kimuyamba okugezesa by’asoma ate n’okusobola okuyita mu bulamu obw’omu maaso.

Bino babyogeredde ku mwoleso gwa bayizi ogw’ebintu ebisobola okukolebwa awaka mu kulima n’okulunda ssaako ebyemikono ebirala.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nabagereka11 220x290

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula...

Okwanjula kw'omuyimbi Rema Namakula mu bifaananyi

Chile1 220x290

CHILE EGOBYE ABAZANNYI

EKIBIINA ekifuga omupiira mu Chile kigobye abazannyi 20 mu nkambi lwa kuwagira bannansi abeekalakaasa nga baagala...

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...