TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala ani amuwadde akatebe

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala ani amuwadde akatebe

By Musasi wa Bukedde

Added 21st October 2019

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 703x422

David Ssekandi ng'alaga ebitooke ebyasuuliddwa kibuyaga

Bya Joanita Nakatte

Abatuuze b’oku kyalo Nassaka mu ggombolola y’e Nakisunga mu disitulikiti y’e Mukono beeraliikirivu olw’enjala eboolekedde oluvannyuma lw’enkuba etonnya okuboonoonera emmere.

David Ssekandi, omulimi ku kyalo kino  yategeezezza nti enkuba etonnya ensangi zino ey’amaanyi ng’erimu ne kibuyaga ssaako omuzira esudde ebirime okuli amatooke, muwogo, kasooli n’ebijanjaalo.

Ekibi kasooli n’ebijanjaalo bibadde bitandiikiriza okumulisa naye byonna ebirese ku ttaka.

“Ennimiro yange eri ku yiika bbiri era erimu kasooli, muwogo, amatooke n’ebijanjaalo wabula byonna bisaanyiziddwaawo kibuyaga n’omuzira. Amatooke nago gabadde gatandiikiriza okussa wabula gonna enkuba egalese ku ttaka.

Ndi mweraliikirivu simanyi kye ng’enda kuliisa famire yange ng’enkuba eno eweddeyo,” Ssekandi bwe yagambye.

 rafat amboobi ngannyonnyola ku bweraliikirivu bwe balina ku nkuba etonnya Arafat Namboobi ng'annyonnyola ku bweraliikirivu bwe balina ku nkuba etonnya

 

Ono yayongeddeko ng’abalimi bwe boolekedde akaseera akazibu olw’obutamanya we bagenda kuggya nsigo ya kusiga nga bazzeemu okulima.

Arafat Namboobi, omu ku batuula ku kakiiko akafuga ekyalo kino yawanjagidde gavumenti n’abavunaanyizibwa ku by’obulimi mu Mukono okubadduukirira n’ensigo olw’ensonga nti, abatuuze bo tebalina we basuubira kuggya nsigo za kusiga.

“Tuli beeraliikirivu era tetumanyi ngeri kyalo kyaffe gye kigenda kusimattuka njala mu maaso eyo, wabula ng’oggyeeko eky’okubadduukirira n’ensigo tusaba gavumenti okubajjukira mu maaso n’emmere enkalu eyinza okubayamba okubayisa mu mbeera enzibu gye boolekedde,” Namboobi bwe yannyonnyodde.

Ono era yasabye abazadde okubeera abeegendereza mu nkuba eno okulaba nga mukoka takulukusa baana baabwe olw’engeri gy’etonnya nga mpitirivu n’asaba n’abasomesa obutabakkiriza kuva ku masomero ssinga bagiraba ng’eneetera okutonnya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...